Beatrice Wabudeya
Beatrice Mukaye Wabudeya Munnayuganda omusawo w'ebisolo ng'ate munnabyabufuzi. Yaliko minista w'ekitongole ekiddukanya e kibuga kya Kampala, mu kabineeti ya Uganda, okuva nga17 OGwokusatu, mu 2011 okutuuka nga 27 Ogwokutaano mu 2011.[1]Okwongerezaako ku bino, yawerezaako nga minisita w'ensonga za Pulezidenti okuva mu 2006 okutuuka mu Gwokutaano 2011.Mu kyukakyuka ezaakolebwa nga 27 Ogwokutaano, 2011, yasikizibwa Kabakumba Masiko mu kifo kya minisita w'ensonga za Pulezidenti.[2] Yawerezaako ng'omubaka wa Paalamenti omukyala eyali akiikirira konsitituweensi ya Disitulikiti y'e Sironko okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka mu 2011.[3]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti ye Sironko ng'enaku z'omwezi 12 Ogwekumineebiri, 1956. Beatrice Wabudeya yafuna diguli mu by'okujanjaba ebisolo (BVM) okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 1979.Yagenda n'afuna diguli ey'okubiri mu saayaansi, ng'esira asinze kuliteeka mu byakugaziya eby'obulimu, nga nayo yagifunira ku Ssetendekero wa Makerere mu mwaka gwa 1996.[4]
Obumannyirivu bw'alina mu mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1979 okutuuka mu 1988, Beatrice Wabudeya yali akola ng'omusawo ajanjaba ebisolo mu disitulikiti y'e Mbale. Okuva mu 1988, okutuuka mu1993, nga yali akola ng'eyali akulira abasawo abajanjaba ebisolo mu disitulikiti y'e Mbale. Okuva mu 1993 okutuuka mu 1996, era yawerezaako ng'eyali kalabalaba eyali akulira abalondoola 'ebikolebwa mu makolero k'omu disitulikiti y'e Mbale. Mu mwaka gwa 1996, baayingira eby'eby'obufuzi, neyeesimbawo ku ky'omubaka wa palamenti eyali agenda okukiikirira disitulikiti y'e Mbale ng'ali ku bendera ya National Resistance Movement. Yawangula ekifo kino, gyeyawereza okutuuka mu mwaka gwa 2001.[5]
Okuva mu 1998 okutuuka1999, yawerezaako nga minisita omubeezi ow'ekikula ky'abantu n'ensonga z'eby'obuwangwa. Mu 1999, yawerezaako nga minista omubeezi ow'eby'obulamu ebitandikirwako, ekitiibwa kyeyaliko okutuusa mu 2001. Mu 2001, Yeesimbaawo ku kifo ky'omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti y'e Sironko. Yawangula ekifo kino, nga yaddamu n'alondebwa mu 2006. Yaweebwa omulimu gw'okubeera minisita w'ensonga za pulezidenti mu 2006[6] n'awereza mu buyinza bwe, naye nga yasuulibwa okuva mu kakiiko mu Gwokutaano mu 2011. Okumala emyezi ebbiri okuva nga 17 Ogwokusatu, 2011[7] okutuusa nga 28 Ogwokutaano, 2011, yawereza nga minisita w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'emirimu mu kibuga kua Kampala.[8]
Mu biseera eby'emabega, yawerezaako ng'omubaka wa Paalamenti omukyala omulonde eyali akiikirira konsititiwensi ya Disitulikiti y'e Sironko. Mu Gwokusatu, mu 2011, yavuganya Nandala Mafabi ow'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) mu "Ssaza ly'e Budadiri ey'eBuggwanjuba" mu Disitulikiti y'e Sironko.[9] Mafabi yawangula bulungi nnyo.[10] Mu 2014, yaweebwa omulimu gw'okubeera ssentebe w'akiiko ak'abantu munaana aka Presidential Awards Committee okumala emyaka etaano egyaddako[11]
Obuvunaanyizibwa bwe obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kwongerako ku buvunaanyizibwa bwe, munkalala ez'asooka, yaweerezaako nga ssentebe w'akakiiko oba boodi y'abakulira kampuni ya National Enterprise Corporation, okuviira ddala nga 20, Ogwokusatu mu 2014.[12]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20110822082112/http://mobile.monitor.co.ug/News/-/691252/1139054/-/format/xhtml/-/kido39z/-/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/688334-1051172-b7drnmz/index.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/200708130316.html
- ↑ https://m.facebook.com/thenewvision/posts/10152279892246215
- ↑ https://web.archive.org/web/20161028085957/http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1133137/cabinet-shuffled
- ↑ https://web.archive.org/web/20110822082112/http://mobile.monitor.co.ug/News/-/691252/1139054/-/format/xhtml/-/kido39z/-/index.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/201105310168.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20161028154058/http://www.observer.ug/component/content/article?id=12728:sironko-district-where-fdc-rules&showall=1
- ↑ https://web.archive.org/web/20150211211940/http://mobile.monitor.co.ug/News/-/691252/1115552/-/format/xhtml/-/g4a9o1z/-/index.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/653737-wabudeya-new-presidential-awards-committee-boss.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20161028154143/http://www.observer.ug/news-headlines/33892--mps-probe-40-boards