Beatrice Were

Bisangiddwa ku Wikipedia

Beatrice Were yazaalibwa mu 1966 nga Munayuganda alwanirira eddembe ly'abalwadde basiriimu. Yakizuula nti alina akawuka akaleeta mukeneya mu 1991, oluvannyuma lwomwezi nga bbaawe afudde siriimu.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu 1993, Beatrice Were y'omu kubaatandikawo ekitongole ekitadukanyizibwa gavumenti ekya NACWOLA okugata abakyala abanayuganda wabula nga balina obulwadde bwa siriimu era kibayambe okwongera kumbeera y'obulamu bwabwe. Awereza nga omukwanaganya w'ekitongole kino mu ggwanga, era omukwanaganya ow'okutinko ow'ekibiina ekiyamba abakyala abalina obulwadde bwasiriimu, mu Uganda. Ensagi zino ye mu kwanaganya w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku mukulwanirira abalwadde basiriimu ekya ekya ActionAid mu Uganda.

Okulwanirira eddembe[kyusa | edit source]

Omu ku bakyasinze okubeera nga balwanirira eddembe lw'abalwadde ba siriimu mu Afrika, Beatrice Were afuuse omu kubasinga okumannyikwa olw'ebigambo bye ebivumirira eggwanga lya Amerika kyebaatekawo abantu abalina siriimu kyebalina okugoberera. Alumirira gavumenti ya Amerika olw'okukyusa pulogulaamu abantu abalina akawuka kamukenenya zebalina okugoberera mu Afrika ng'esira basinga kuliteeka ku kyakwekuuma kwokka nga tewenyigira mu bikolwa byakwegata, nga kino kiviriddeko okwongeza obuswaavu wamu n'okuteeka obulamu mumatiga. Byeyayogera ng'ali mulukungaana lwa XVI International AIDS Conference mu Toronto, ng'eno gyeyalumbira aba "ABC" kungeri gyebalwanyisaamu okwewala obulwadde bwa siriimu, kyamuweesa ekitiibwa eky'amaanyi.[1][1]

Ebimuwereddwa[kyusa | edit source]

Were yafuna awaadi eyitibwa InterAction Humanitarian Award mu 2003. Awangudde ne awaadi y'okubeera omu kubasinga okulwanirira eddembe ly'abantu, ekitiibwa ekisinga okubeera ekyawagulu ekigabibwa aba Human Rights Watch.

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]

  1. https://web.archive.org/web/20060928200405/http://www.kaisernetwork.org/health_cast/hcast_index.cfm?display=detail&hc=1811