Bebe Cool

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bebe Cool with the Artist of the Year Award (2014)

  Bebe Cool (ng'amannya ge ye Moses Ssali; yazaalibwa nga 1 Ogwomwenda 1977) Muyimbi wa Africa ow'ennyimba za reggae ne ragga musician okuva mu Uganda. Yatandika emirimu gye mu mwaka gwa 1997 mu Nairobi, Kenya, naye oluvanyuma lw'emyaka emitonotono yakomawo mu ggwanga lye. Bebe Cool was y'omu ku bayimbi abasooka okukolagana ne situdiyo ekola n'okufulumya ennyimba eya Ogopa DJs mu Kenya.

Obulamu bwe obw'omu buto[kyusa | edit source]

Bebe Cool yasomera ku masomero omuli Aga Khan Primary School, mu Kampala, Kitante Hill School, ne Makerere College School. wabula yava mu ssomero ng'awabulayo omwaka gumu okumaliriza emisomo gye. Mu Ssekendule, yasoma amasomo ga Physics, Chemistry, Biology, ne Mathematics (PCB/M). Bebe Cool (nga yayitibwako Bebe Bunton) yatandikirawo obuyimbi ng'akyali mu ssomero nga yali akola nga omukulembeze w'ebyokuyimba n'okubiibya.[1]

Emirimu gye egy'okuyimba[kyusa | edit source]

Bebe Cool muwanguzi wa Awaadi ssatu ez'omuyimbi w'omwaka okuva mu HiPipo Music Awards[2] era yawangula ne Awaadi ey'ekitiibwa eya Pearl of Africa Music Awards (PAM Awards).[3] Yalondebwa mu Awaadi za Kora All-African Awards mu 2003 ne 2005. Ayimbye mu mawanga omuli Bungereza ne Amerika.[4] Bbiri kunnyimba ze ez'ettutumu zili "Fitina" ne "Mambo Mingi".[5]

Era ya yimba ennyiba ne Halima Namakula, omukyala omuyimbi munnayuganda n'azirwanako, ku luyimba lw'abwe olw'akwatayo "Sambagala". yafulumya alubaamu ze bbiri eza, Maisha ne Senta. Ennyimba ze aziyimba mu nnimi omuli Oluganda, Oluswayili, n'Olungereza. Wamu n'omuyimbi wa Kenya Necessary Noize, Bebe Cool akoze ekibiina ky'abayimbu abayimba ennyimba kika kya reggae ng'ekibinja kiyitibwa East African Bashment Crew. bafulumya alubaamu emu eya Fire, n'ennyimba ez'amaanyi bbiri, "Africa Unite" ne "Fire". Ekibiina kino ky'alondebwa mu mpaka za MTV Africa Music Awards 2008.[6]

Mu 2013, Bebe Cool yalina olutalo mu kuyimba wakati we n'abayimbi ab'amaanyi okuva mu Nigeria D'banj,ng'empaka zino bazikolera mu Glamis Arena Harare Zimbabwe.[7] Olulaga luno lw'ategekebwa n'omulamwa gwa "Battle for Africa". Bebe Cool yakola olulaga olw'amaanyi mu mpaka zino.[7]

Mu 2014, oluyimba lwa Bebe Cool lw'eyaddamu olwa Born in Africa olw'omugenzi Philly Lutaaya lwalondebwa ng'oluyimba olw'asinga mu nnyimba zonna ez'omu Afrika.[8]

Oluyimba luno lw'akwata kya 15 ku nnyimba amakumi ataano azalondebwa ku lukalu lwa Africa. Abawuliriza ba BBC World Service be balonda ennyimba zonna ez'akozesebwa mu mpaka okuva ku lukalu lwa Africa[8] Empaka zino zaali z'akukuza ebijaguzo by'emyaka 50 egy'ekitongole ekigatta amawanga ga Africa ekya African Union – mu kusooka ekyayitibwanga African Unity, okuva mu kusaba kwa DJ Edu owa BBC, omuweereza wa pulogulaamu y'ennyimba za Africa eya buli wiiki ku ladiyo ya BBC, yazigatta wamu mu kintabuli eky'eddakiika taano nga ky'alimu ennyimba 50 okuva mu mawanga 50.[8]

Bebe Cool ayimbye mu muzannyo gwa Big Brother house emirundi ebiri. Okuva mu 2016 okutuusa mu 2018, waaliwo ebitakwatagana eby'abalukawo ku Bebe Cool okubeera omutegesi omukulu owa Yoweri Kaguta Museveni, eyali Pulezidenti wa Uganda mu kaseera ako eyali ayitibwa omufuzi nakyemalira okuva mu bannaawulire b'amawanga g'ebweru. Bannayuganda bamugobako ku siteegi mu luaga olumu nga tannaba n'akuyimba. 

Bebe Cool yawangula Awaadi y'omuyimbi omusajja asinze mu East Afrika eya Afrima award mu 2018.

Ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Mu Gusooka 2010, yafuna obuvune omusirikale wa poliisi bweyamukuba amasasi mu kugulu.[9][10]

Nga 11 Ogwomusanvu 2010, Bebe Cool yali ayimba mu Kyadondo Rugby Club bbomu y'abayeekera Abayisilaamu okuva mu Somalia aba al-Shabaab weyabalukira (July 2010 Kampala attacks). Okusinziira ku Cool, "Abantu abasinga okuva baali mu maaso gange. Okubaluka kw'ali kw'amaanyi era ekyaddirira kw'ali kulaba bitundu by'emibiri gy'abantu nga bisaasanye wonna."[11]

Ebikolwa bye eby'okuyamba[kyusa | edit source]

Mu 2008, Bebe Cool yayimba ku mazaalibwa ga Nelson Mandela ag'emyaka 90 mu Hyde Park, London. Era yatuumibwa Nelson Mandela ng'omu kuba Ambasada ba Afrika 46664. 46664 yali kakuyege ow'okumanyisa abantu ku kawuka ka HIV/AIDS eyali yatandikibwawo omugenzi Nelson Mandela.[12]

Nga 3 Ogwomunaana 2018, mu kivvulu eky'atuumibwa The Golden Heart, Bebe Cool yakuŋŋanya sente okuyamba abaana bataano abaalina obulwadde bw'omutima okusobola okufuna obujjanjabi mu India.[13][14]

Obulamu bwe mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Bebe Cool yawagira Pulezidenti Museveni mu kalulu k'obwa Pulezidenti aka 2021 mu Uganda.

Awaadi z'eyafuna[kyusa | edit source]

z'eyawangula:

  • 2003 Kora Awards – Omuyimbi asinga mu East Africa[27]
  • 2007 MOBO Awards
  • 2011 Tanzania Music Awards – Oluyimba lwa East Africa olusinze ('Kasepiki')[28]
  • 2013 HiPipo Music Awards – oluyimba lwa Reggae olusinze (Ntuyo Zange), oluyimba lw'ekiddandali olusinze (No Body Move), omuyimbi asinze ku mikutu migatta bantu[29]
  • Yalondebwa mu mpaka za Afrimma Awards 2014
  • Australia Radio Afro Oluyimba lw'omwaka 2015
  • Yalondebwa mu mpaka za Afrimma Awards 2018 " omuyimbi omusajja owa East Africa asinze ne Best African Rock categories" .[30]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.newtimes.co.rw/section/read/81488/
  2. http://www.hipipo.com/
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
  4. https://archive.today/20120905020736/http://www.musicuganda.com/Bebe%20cool.html
  5. https://web.archive.org/web/20070928110302/http://www.mtvbase.com/mtvbaseafrica.com/music/article.jhtml%3Bjsessionid%3DAMTFCT1IDES1TQFIAIICFE4AVABBCIV0?backLink=profiles&id=30119486
  6. https://web.archive.org/web/20110714134121/http://www.museke.com/node/2230
  7. 7.0 7.1 https://en.wikipedia.org/wiki/NewsDay_(Zimbabwean_newspaper)
  8. 8.0 8.1 8.2 "Archive copy". Archived from the original on 2015-05-18. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.monitor.co.ug/News/National/688334-852442-ca1pydz/index.html
  10. https://www.monitor.co.ug/News/National/688334-852442-ca1pydz/index.html
  11. https://www.wsj.com/articles/SB10001424052748704288204575362400675683926?mod=WSJ_hps_LEFTTopStories#articleTabs%3Darticle
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-06. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://bigeye.ug/bebe-cool-sees-off-kids-with-heart-problems-to-india-for-surgery-photo/
  14. https://trumpetnews.co.ug/golden-heart-concert-bebe-becomes-first-ugandan-artiste-to-perform-under-dome-at-kololo/
  15. https://web.archive.org/web/20050204005728/http://pamawards.com/index.php?option=com_frontpage
  16. https://web.archive.org/web/20070702053829/http://pamawards.com/pages/2005.php
  17. https://archive.today/20121204190055/http://www.ugandaonline.net/2006
  18. https://archive.today/20121204190055/http://www.ugandaonline.net/2006
  19. https://web.archive.org/web/20160304190544/http://www.museke.com/node/1617
  20. http://www.ugpulse.com/articles/daily/Entertainment.asp?about=2007+PAM+Awards%3A+The+Winners&ID=748
  21. https://web.archive.org/web/20150709045050/http://www.museke.com/en/node/1534
  22. https://web.archive.org/web/20110106012820/http://videos.2shyentertainment.com/articles/read-bebe-cool-triumphs-at-the-2010-pam-awards_105.html
  23. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-06. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  24. 24.0 24.1 https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
  25. 25.0 25.1 25.2 25.3 25.4 25.5 25.6 25.7 https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
  26. 26.0 26.1 26.2 26.3 https://web.archive.org/web/20150404132229/http://hma.hipipo.com/08/02/2015/winners-of-the-3rd-hipipo-music-awards/
  27. https://web.archive.org/web/20040302070738/http://www.koraawards.co.za/english/musicawards_finalists_res03.asp?Category_en=Best+Artist+-+East+Africa
  28. http://allafrica.com/stories/201102220178.html
  29. https://web.archive.org/web/20150626104220/http://www.hipipo.com/hma/news/481/List-Of-Nominees-For-The-1st-Hipipo-Music-Awards--hma--Released-
  30. https://bigeye.ug/bebe-cool-nominated-in-prestigious-afrima-ghana-awards/

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]