Jump to content

Ben Mary Muwanga

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ben Mary Muwanga
Gyeyazaalibwa
Kibibi, Butambala Uganda
Eggwanga lye Ugandan
Obuyigirize Mitala Maria Primary School

Mount Saint Mary's College Namagunga

Nkozi Teacher Training College.
Emirimu gye Musomesa omutendeke era omutendesi alina ebisaanyizo mu muzannyo gw'okubaka, ''handball', ''basketball'', n'emisinde
Byebasinga okumannkyako Yakulemberamu ttiimu ya Uganda ey'okubaka gyebayita She Cranes okugenda mu mpaka z'okubaka ez'ensi yonna ezaali mu ggwanga lya Trinidad ne Tobago
Abaana 2

Ben Mary Muwanga, ng'ebiseera ebisinga batera kumuyita Benny Muwanga[1] oba Mary Ben Muwanga[2] mutendesi wa muzannyo gw'okubaka okuva mu Uganda, ng'ate basinga kumutegeera ku byekulembera ttiimu ya Uganda ey'okubaka eya ''She Cranes'' mu mwaka gwa 1979 okugenda okwetaba mu mpaka z'okubaka ez'ensi yonna ezaali mu ggwanga lya Trinidad and Tobago. Yaliko era omutendesi wa ttiimu y'eggwanga wakati w'omwaka gwa 1975 okutuuka mu mwaka gwa 1985.[3][4]

Ebimukwatako n'eby'enjigiriza[kyusa | edit source]

Ben Mary Muwanga yazaalibwa mu Kibibi, mussaza ly'e Butambala mu mwaka gwa 1943 omwami Erisa Muwanga n'omukyala Julian Nanyanzi.[5] Ben Mary Muwanga musomesa omutendeke eyasomera ku Mitala Maria Primary School ne Mount Saint Mary's College, e Namagunga nga tanaba kugenda kutendekero ly'abasomesa erya Nkozi Teacher Training College.

Ebimukwatako mu muzannyo gw'okubaka[kyusa | edit source]

Yatandika okwetaba mu by'emizannyo bweyali akyali musomero ku Mount Saint Mary's College, e Namagunga, oluvannyuma n'ateeka omukono okuzannyira kiraabu ya Kampala Women's Club. Nga yeetuteko yekka, yeegata ku ttiimu Uganda ey'okubaka eyitibwa She Cranes ng'omuzannyi mu mwaka gwa 1964, gyeyazannyira owmaka gumu ne ttiimu y'eggwanga.[6] Oluvannyuma lw'okumaliriza koosi z'obutendesi mu mwaka gwa 1969, yaweebwa omulimu gw'okubeera omumyuka w'omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes, nga y'amyuuka Miriam Kibirango.[7]

Nga bamaliriza okuweebwa omulimu gw'okutendeka ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes ng'omutedesi omujuvu mu mwaka gwa 1975, yakulembera ttiimu eno neewangula ebikopo byairundi 3, eby'empaka ezeetabibwamu amawanga okuva mu buvanjuba ne mu mumasekati ga Afrika (CECAFA) mu mwaka gwa 1975, 1981 ne mu 1982.Yawerezaako nng'adukanya ttiimu eno, ssaako n'omumyuka w'omuwandiisi w'ekibiina ekidukanya omuzannya gw'okubaka mu Uganda ekya Uganda Netball Federation. Yawumula okuva mu kifo kino ng'omutendesi wa ttiimu ya Uganda ey'okubaka omujuvu eya She Cranes mu mwaka gwa 198, awo natandika okukola ng'omumyuka w'adukanya eby'emizannyo mu disitulikiti ye Mukono okutuusa mu mwaka gwa 2004.

Emizannyo emirala[kyusa | edit source]

Okwongereza mu kubeera omutendesi w'omuzannyo gw'okubaka n'okuguzannya, Mary Ben mutendesi w'omuzannyo gw'okubaka, handball, basketball wamu n'emisinde eyakakasibwa oba alina ebisaanyizo.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Okutuusa mu mwaka gwa 2013, kyaali kigambibwa nti yalina abaana babiri, okwali omuwala n'omulezi.[8]Abeera mu Kampala mubitundu by'e Kabowa.[9]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230323175648/https://www.observer.ug/sports/44-sports/3012-when-uganda-played-at-the-world-cup
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230323175657/https://observer.ug/sports/44-sports/26875-meet-muwanga-the-she-cranes-greatest-coach
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=uCAKPPVGIjA
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1470538/unf-launches-fast5-netball
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230323175657/https://observer.ug/sports/44-sports/26875-meet-muwanga-the-she-cranes-greatest-coach
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=jChho8DsoBY
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230323175657/https://observer.ug/sports/44-sports/26875-meet-muwanga-the-she-cranes-greatest-coach
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230323175657/https://observer.ug/sports/44-sports/26875-meet-muwanga-the-she-cranes-greatest-coach
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230323175648/https://www.observer.ug/sports/44-sports/3012-when-uganda-played-at-the-world-cup