Betty Amongi
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Betty | |
| Erinnya lya famire | Amongi | |
| Yazaalibwa nga | 15 Gwakkuminogumu(Museenene) 1975 | |
| Gy'azaalwa | Oyam | |
| Omwagalwa | Jimmy Akena Obote | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Rangi | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda, Minister of Gender, Labour and Social Development | |
| Disitulikiti mwalondera | Oyam | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere | |
| Gyabeera | Kampala | |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1998 | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Uganda People's Congress | |
Betty Amongi Akena, oba Betty Amongi Ongom, naye nga batera kumuyita Betty Amongi,munabyabufuzi Omunayuganda. Ye Minisita w'ekikula Ky'abantu, emirimu wamu n'ekulakulana y'ebintu[1] mu Kabineeti ya Uganda, okuva nga 9 Ogwomukaaga mu 2021. Mukusooka yali aweereza nga Kabineeti Minisita w'eEkibuga ekikulu ekya Kampala[2] ng'ate tannaba kugenda eyo, okuva nga 6 Ogwomukaaga mu 2016 okutuuka 14 Ogwekumineebiri mu 2019,yali aweereza nga Minisita avunaanyzibwa ku By'ettaka amayumba n'enkulaakulana y'ebibuga mu kabineeti ya Uganda.[3] Ye mubaka wa Paalamenti eyaliko wabula ne baddamu okumulonda okukiikirira Konsitituweensi ya Oyam eya Bukiika Kkono mu Paalamenti eye kkumi n'emu okuva mu (2021 okutuuka mu 2026).
Obulamu bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Betty Amongi yazaalibwa mu Disitulikiti ya Oyam, mu bitundu bya Lango, mu Bukiika Ddyo bwa Uganda, nga 15 Ogwekuminoogumu mu 1975.[4] Mu 1996, yagenda ku Makerere Yunivasite Yunivasite, gyeyatikkirwa ne Diguli mu by'enjigiriza mu by'obufuzi n'okuddukanya embeera z'abantu. Oluvannyumamu 2009, yatikkirwa ne Diguli ey'okubiri mu by'enjigiriza mu bikwata kunsonga z'ensi yonna wamu n'eby'emisomo gy'ekikungu.[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Betty Amongi baasooka okumulonda okugenda mu Paalamenti mu 2001 nga omukyala omubaka owa Disitulikiti ya Oyam, nga baddamu okumulonda mu 2006 nga tebannamulonda nga omukyala omubaka wa Paalamenti owa Oyam Ey'obukiika kkono okuva mu 2011 okutuuka mu 2016.[5] Mu ngeri y'ebyewunyo oluvannyuma lw'akalulu k'obwa Pulezidenti n'ababaka ba Paalamenti nga 20 Ogwokubiri mu 2016, Pulezidenti Pulezidenti Yoweri Museveni ow'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement, kyamuwa ogw'okubeera nga ye Minisita avunaanyizibwa ku By'ettaka, Amayumba wamu n'enkulakulana z'ebitundu by'emubibuga nga wadde yali alina akakwate ku kibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda People's Congress.[6]
Mu kukola enkyuka kyuka mu kabineeti nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019, yaweebwa eky'okubeera kabineeti minisita w'ekibuga ekikulu ekya Kampala n'akyusa ebifo ne Beti Kamya -Turwomwe eyafuulibwa ow'Eby'ettaka, Amayumba wamu N'enkulakulana y'ebitundu by'omubibuga.[2]
Mu Gwomukaaga mu 2021, Amongi yaweebwa ekifo eky'okubeera Minisita avunaanyizibwa ku Kikula ky'abantu, emirimu wamu n'enkulakulana z'ebintu mu kabineeti eyali empya.
Mu Kabineeti ya 2026, teyaliimu.[7]
Era yafiirwa n’ekifo kye eky’obubaka mu Palamenti oluvannyuma lw’okukyusa ekifo kye eky’obuwanguzi n’avuganya ku kifo ky’Omubaka omukyala owa Lira City, naye n’awangulwa Minisita w’ebyobulamu eyaliwo mu kiseera ekyo, Hon. Jene Ruth Aceng, Betty Amongi gwe yavuganya naye mu kalulu ka bonna aka January 2026.[8]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 6 Ogwokuna mu 2013, Betty Amongi yafumbirwa Jimmy Akena, omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira munisipaali y'e Lira, ng'era ye pulezidenti w'ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda People's Congress. Jimmy Akena nga mutabani wa Milton Obote, eyaliko Saabaminista wa Uganda emirundi ebbiri wamu n'okubeera Pulezidenti wa Uganda. Embaga eno eyali ey'obuwangwa yaliwo mu ggombolola ya Minakulu, mu Disitulikiti ya Oyam ng'era yaliko ababaka ba Paalamenti 32. Pulezidenti Yoweri Museveni, nga mukwano w'abaagalana bano bombi, naye yaliyo ku mbaga eno.[9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "NEW CABINET: Museveni drops Kutesa, 10 ministers". The Independent. 9 June 2021. Archived from the original on 9 June 2021.
- 1 2 Monitor (14 December 2019). "Museveni Shuffles Cabinet, Drops Muloni, Appoints Magyezi". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 18 December 2019.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 7 June 2016.
- 1 2 POU (October 2016). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Amongi Betty Ongom". Kampala: Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 21 March 2018. Retrieved 8 November 2016.
- ↑ Jacob, Ocen (19 January 2021). "Uganda's 28 longest serving MPs in eleventh Parliament". Retrieved 11 March 2023.
- ↑ Sadab Kitatta Kaaya (8 June 2016). "Uganda: Cabinet - How Museveni Got the Opposition In". The Observer (Uganda) via AllAfrica.com. Kampala. Retrieved 8 November 2016.
- ↑ Ssejjoba, Eddie (2026-05-26). "Politics: 28 ministers dropped as Museveni appoints new cabinet". New Vision. Retrieved 2026-06-18.
- ↑ "Amongi accuses Aceng, army of interference in Lira City poll". Monitor (in Lungereza). 2026-01-22. Retrieved 2026-08-05.
- ↑ Chris Ocowun, and Bonney Odongo (8 April 2013). "MP Jimmy Akena finds his missing rib in Amongi". New Vision. Kampala. Archived from the original on 16 March 2018. Retrieved 8 November 2016.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Ku mikutu gya yintaneeti egya Paalamenti ya Uganda
- Betty Amongi, Obote’s Maruzi Country Deserves Much Better Yaterekebwa nga 7 Ogwokusatu mu 2019 ku kyuma kya Wayback
- Ebitono ebimukwatako
- Ebimukwatako mubumpi mpi
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- Bannabyabufuzi
- Bannabyabufuzi mu Uganda
- Abaasomera ku Makerere University
- Baminisita ba Uganda
- Abantu abalamu
- Ba minisita ba Uganda aba Kampala
- Abaazaalibwa mu 1975
- Abantu be Lango
- Abakyala be Lango
- Ababaka ba paalamenti ya Uganda abakyala
- Ba memba ba paalamenti ya Uganda eyoomwenda
- Ba memba ba paalamenti ya Uganda eye kkumi n'emui