Betty Nambooze

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Betty Nambooze Bakireke, amanyiddwa nga Betty Nambooze, Munnayuganda, munnamawulire era munnabyabufuzi. Ye mubaka akiikirira ekitundu ky'obukiikakkono bwa disitulikiti y'e Mukono mu lukiiko lw'eggwanga olukulu.[1]

Ebyafaayo n'obuyigirize bwe[kyusa | edit source]

Nambooze yazaalibwa nga 13 Ogwomusanvu, 1969 mu ddisitulikiti y'e Mukono. Yasomera ku Bishop's Senior Secondary School Mukono okutuusa mu mwaka gwa 1986.[2] Oluvannyuma yeegatta ku Law Development Centre gye yasomera ddipulooma mu byamateeka era n'agimaliriza mu mwaka gwa 1998. Mu mwaka gwa 2010, yafuna ddipulooma mu Development Studies okuva mu Uganda Matyrs University [1]

Obukugu bwe[kyusa | edit source]

Nambooze yasooka okulondebwa okugenda mu lukiiko lw'eggwanga olukulu mu mwaka gwa 2010 mu kulonda okwaddibwamu. Yajjira ku kkaada y'ekibiina kya Democratic Party n'awangula Peter Bakaluba Mukasa eyali ajjidde mu kibiina ekiri mu bukulembeze ekya National Resistance Movement.[3] Okusinziira ku bimukwatako mu lukiiko lw'eggwanga, Nambooze yakolako nga omusasi w'amawulire wakati w'omwaka gwa 1993 ne 2000. Okuva mu mwaka gwa 2000 okutuuka mu 2004, yakolako nga akwasisa amateeka. Okuva mu mwaka gwa 2004 okutuuka mu 2005, Nambooze yali akola nga akwasaganya ensonga z'abakozi ku mulimu. Yaweerezaako ku laadiyo wakati w'omwaka gwa 2000 ne 2009 era yali mwogezi w'ekibiina kya Democratic Party mu Uganda okuva mu mwaka gwa 2005 okutuuka mu 2010.[1]

Nga 24 Ogwokubiri, 2016, Nambooze yakwatibwa wamu n'omubaka eyali yaakalondebwa mu lukiiko lw'eggwanga, Moses Kasibante oluvannyuma lw'okwanika ebiwandiiko ebyali binnyonnyola obubbi bw'akalulu obwali bugenda mu maaso mu kolonda okwaliwo mu ggwanga. Nambooze azze akawatibwa emirundi egiwerako ng'ateekebwako emisango egy'enjawulo egyekuusa ku byobufuzi naye n'okutuusa kaakano, tatwalibwangako mu kkooti y'amateeka yonna kusalirwa musango.[4][5][6]

Emirimu gye mu lukiiko lw'eggwanga olukulu[kyusa | edit source]

Nambooze atuula ku kakiiko ka (a) Public Service and Local Government n'akakiiko ka (b) Local Government Accounts.[1]

Ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Mu mwezi gwa Museenene, 2002, Josephine Nambooze yafumbirwa Henry Bakireke gwe yali yasisisinkana mu ssomero nga basoma mu myaka gy'ekinaana (1980s). Bazadde era balina abaana abawerera ddala 26 nga mu bo, mulimu be bazaala n'abo be bayamba obuyambi.[2]

Laba ne[kyusa | edit source]

  • Olukiiko lwa Uganda olukulu

Ebijulizo[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 Empty citation (help) 
  2. 2.0 2.1 Empty citation (help) 
  3. Empty citation (help) 
  4. Empty citation (help) 
  5. Empty citation (help) 
  6. Empty citation (help)