Bevis Mugabi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Bevis Kristofer Kizito Mugabi (eyazaalibwa nga 1 Ogwokutaano1995) muzannyi wa mupiira omutendeke azannya ng'omuzibizi ku ttiimu ya Motherwell ezannyira mu ggwanga lya Scotland. Yazannyirako e Bungereza mu ttiimu ya Yeovil Town mu English Football League. Yazaalibwa mu Bungereza naye akiikirira Uganda ku ttiimu y'eggwanga.

Obuto bwe[kyusa | edit source]

Mugabi yazaalibwa mu Harrow, London, mu maka g'abazadde ababeera e Kampala, Uganda.

Olugendo lw'omupiira[kyusa | edit source]

Ng'agutandika[kyusa | edit source]

Mugabi yatandika yatandika okuzannya omupiira ng'azannyira Fulham nga tannagenda mu ttiimu ya Southampton's ey'abato mu Gwomusanvu 2011, era n'ateeka omukono ku ndagaano empya ya myaka ebiri n'ekitundu mu Gwokubiri 2015.

Yeovil Town[kyusa | edit source]

Yassa omukono ku ndagaano ne ttiimu ya Yeovil Town eguzannyira mu Liigi ey'okubiri nga 5 Ogwomunaana 2016 ku ndagaano ya mwaka gumu. Yazannya omupiira gwe ogusooka nga 9 Ogwomunaana 2016, ng'ava ku katebe mu ddakiika eya 54 mu mpaka za EFL Cup nga bazannya ne Walsall. Mugabi yateeba ggoolo ye esooka mu lmupiira nga bazannya ne Portsmouth mu EFL Trophy nga 30 Ogwomunaana 2016. Yassa omukono ku ndagaano empya ya myaka ebiri ne ttimu mu Gwokutaano 2017.

Ku nkomerero ya sizoni ya 2018-19, Mugabi yateebwa ttiimu ya Yeovil oluvannyuma lw'okusalibwako okuva mu League Two.

Motherwell[kyusa | edit source]

Nga 12 Ogwomwenda 2019, Mugabi yassa omukono ku ndagaano ne ttiimu ya Motherwell okutuuka mu Gwolubereberye 2020. Oluvannyuma lwa muzannyi munne ku ttiimu ya Motherwell Charles Dunne okufuna obuvune, Mugabi yeetegeka okuzannya omupiira gwe ogusooka mu bwangu bwe yali tasuubira. Nga 22 Ogwekkuminoogumu 2019, Motherwell yalangirira nga bwe yali eyongezzaayo endagaano yaayo ne Mugabi okutuuka mu 2021.

Nga 18 Ogwokubiri 2022, Mugabi yassa omukono ku ndagaano empya ne Motherwell, okutuusa mu 2024.

Omupiira gw'eggwanga[kyusa | edit source]

Mugabi yali asobola okukiikirira Bungereza oba Uganda bwe kituuka ku ttiimu y'eggwanga.

Mu Gwomunaana 2016, Mugabi yayitibwa omulundi gwe ogusooka ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda mu mupiira gwabwe ogw'omukwano gwe baali bagenda okuzannya ne Kenya awamu n'omupiira gwabwe ogw'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za Afirika eza 2017 nga bazannya ne Comoros, naye Mugabi ttiimu ye eya Yeovil yamuggya ku lulkalala lw'abazannyi abayitiddwa ng'egamba nti okuyitibwa kwali kwa mangungu. Mu Gwokusatu 2018, Mugabi yayitibwa omulundi ogw'okubiri mu ttiimu y'eggwanga lya Uganda mu mipiira ebiri egy'omukwano. Mugabi yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu y'eggwanga ng'azannyira Uganda nga 24 Ogwokusatu 2018 mu mupiira gw'omukwano nga bawangula São Tomé ne Príncipe ku ggoolo 3-1 . Mugabi yakomawo ku ttiimu y'eggwanga oluvannyuma lw'okumala omwaka mulamba nga tayitiddwa, bwe yateekebwa mu lukalala lw'abazannyi abaneetaba mu mpaka z'ekikopo kya Afirika ekya 2019.

Ebibalo bye eby'omupiira[kyusa | edit source]

Ttiimu[kyusa | edit source]

Template:Updated

Okulabika n'ebiruubirirwa by'omupiira, omwaka n'omupiiro
Ttiimu Sizoni Liigi National Cup Ekikopo kya Liigi Ebirala Omgatte
Ekibinja Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo
Yeovil Town 201617 <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/EFL_League_Two" rel="mw:ExtLink" title="EFL League Two" class="cx-link" data-linkid="195">League Two</a> 31 1 1 0 2 0 5 1 39 2
2017-18 League Two 22 2 2 0 0 0 4 0 28 2
2018-19 League Two 32 1 1 0 0 0 2 0 35 1
Omugatte 85 4 4 0 2 0 11 1 102 5
Motherwell 2019-20 <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/Scottish_Premiership" rel="mw:ExtLink" title="Scottish Premiership" class="cx-link" data-linkid="245">Scottish Premiership</a> 10 0 1 0 0 0 0 0 11 0
2020-21 Scottish Premiership 23 2 1 0 1 0 2 0 27 2
2021-22 Scottish Premiership 31 2 2 0 0 0 0 0 33 2
2022-23 Scottish Premiership 7 0 0 0 1 0 2 0 10 0
Omugatte 71 4 4 0 2 0 4 0 81 4
Omugatte ogw'awamu 156 8 8 0 4 0 15 1 183 9

Ttiimu y'eggwanga[kyusa | edit source]

Template:Updated[1]

Okuzannyira n'ebiruubirirwa by'ekibinja ky'eggwanga n'omwaka
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Emipiira Ggoolo
Uganda 2018 2 0
2019 8 0
2021 2 0
2022 3 0
Omugatte 15 0

Ebikopo[kyusa | edit source]

Southampton

  • Ekikopo kya U21 Premier League: 201415

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Obulandira obulala[kyusa | edit source]

  • Bevis Mugabi ku Soccerbase

Template:Uganda squad 2019 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2019 Africa Cup of Nations