Boban Zirintusa

Bisangiddwa ku Wikipedia

   

Boban Zirintusa
colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Ebimukwatako
Amannya gge mu bujuvu

Boban Zirintusa Bogere

Enaku z'omwezi zebamuzaaliramu Nga 2 Ogwokubiri mu 1992 (emyaka 31)
Ekifo gyebaamuzaalira Disitulikiti y'e Jinja, Uganda
Obuwanvu bwe

1.82 m (5 ft 11+12 in)

Ekifo ky'azannyamu Muwuwuttanyi
colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Ekikwata ku kiraabu z'azannyiddemu
Ttiimu gy'alimu kati

Mtibwa

Namba

7

colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Gy'azannyidde
Emyaka Ttiimu Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo z'ateebye
2006–2007

Vipers S.C.

26

(14)

2016

SC Villa

28

(10)

2008–2009

Simba S.C.

28

(8)

2009–2013

Mtibwa

44

(16)

2013–2014

Highfield

24

(9)

2013–2014

Dynamos

22

(10)

2014–2015

Polokwane City

31

(13)

2017

Buildcon F.C

6

(0)

2018

Mohun Bagan

0

(0)

2019–

KJSS FC

10

(6)

2020-

Mtibwa

colspan="4" class="infobox-header" style="background-color:
  1. b0c4de; line-height: 1.5em" |Ku ttiimu y'eggwanga
2010–2012 Ttiimu ya Uganda ey'abatasusa myaka 20

9

(1)

2012–2014 Uganda y'abatasusa myaka 23

6

(0)

2013–2014

Uganda

2

(0)

Emirundi gy'azannyidde kiraabu zze mu liigi y'ewaka ne ggoolo z'ateebye, byatereebwa okuva nga 16, Ogwomusanvu mu 2017.

Emirundi gy'azannyidde ttiimu y'eggwanga ne ggoolo z'ateebye, byatereebwa okuva nga 16, Ogwomusanvu mu 2017.

Boban Zirintusa Bogere yazalibwa nga 2 Ogwokubiri mu 1992 nga munayuganda azannya omupiira gw'ensiimbi ng'omuwuwuttanyi[1] mu Mtibwa mu liigi y'e Tanzania eya babinywera ttiimu ya Uganda ey'eggwanga.[2]

Boban azannyiddeko Vipers ne Simba mu Tanzania, Mtibwa Sugar mu Tanzania, Dynamos ne Highfield mu Zimbabwe, Polokwane City mu South Africa, Buildcon mu Zambia ne Ethiopian Coffee mu Ethiopia.[3]

Emirimu gye mu kiraabu[kyusa | edit source]

Vipers[kyusa | edit source]

Boban yatuuka mu kiraabu eno mu makati ga sizoni ya 2006 mu mbeera etaali nyangu, kuba yaleetebwa omutendesi Charles Ayiekoh okwongera amaanyi mu ttiimu mukaseera k'okulwanyisa obutasalwako mu sizoni yabwe etaali nyangu mu liigi yababinywera. Era y'omu kubaali ku ttiimu eyakola ebyafaayo neewona okusalibwako ng'ekubye Kampala United olukunkumuli lwa ggoolo 4-1 mu mupiira ogwali gudirira ogusembayo mu liigi ya 2006 nga tanayabulira Vipers mu 2008.[4]

Dynamos[kyusa | edit source]

Yeegata ku Dynamos ng'ava mu Highfield F.C. mu 2013 Ogwolubereberye.[5] Boban Zirintusa yateeba mu mupiira gwe ogwali gusooka mu Dynamos, ng'aba Harare giants bawangula omupiira gw'okusunsula abagenda mu mpaka z'ekikopo kya ttiimu empanguzi ku lukalo lwa Afrika nga bakuba Lesotho Correctional Services F.C ku kisaawe kya Rufaro stadium. Boban yava ku katebe nga bagyayo Tichaona Mabvura mu ddakiika eye 68.[6]

Polokwane City[kyusa | edit source]

Boban yeegata ku Polokwane city F.C mu 2014 Ogwekumi ng'ava mu Dynamos. Boban eyava ku katebe mu kitundu eky'okubiri yateeba ku mulundi gwe yasooka okukoona ng'azannyira Polokwane ng'ayambibwako Esau Kanyenda eyamuteerawo omupiira ddakiika eya 47 okuyamba Polokwane City okuyimiriza Bidvest Wits 2–0 mu liigi ya ABSA.[7]

Buildcon[kyusa | edit source]

Nga 24 Ogwomusanvu mu 2017, Zirintusa yategeregana ne kiraabu y'e Zambia eyitibwa Buildcon Football club gyeyeegatako.[8]

Ethiopian Coffee Sports Club[kyusa | edit source]

Mu 2018 Ogwolubereberye, Boban yeegata ku Ethiopian Coffee Sports Club.[9]

Kirinya–Jinja Senior Secondary School[kyusa | edit source]

Mu 2019 Ogwomwenda, yeegata ku Kirinya–Jinja Senior Secondary School FC, ng'omupiira gwe ogwasooka baali bazannya Bul FC.[10][11]

Mtibwa[kyusa | edit source]

Mu 2000 Ogwolubereberye, Boban yeegata ku Mtibwa.[12]

Ebyafaayo mu gy'ensi[kyusa | edit source]

Boban yayita mu mitendera gy'otandikirako okutuuka ku ttiimu y'eggwanga, kuba yazannyira Uganda eyabali wansi w'emyaka 20, eyabatasusa 23 okutuuka ku ttiimu enkulu, naye ng'okuzannyira ttiimu enkulu gwali mupiira ogwali ogw'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu mpaka z'ekikopo kyensi yonna ekyali kigenda okubeera e Brazil mu 2014 Uganda bweyali ettunka ne Liberia,[13] nga 24 Ogwokusatu mu 2013 ku kisaawe kya Samuel K.Doe Sports Stadium mu Monrovia.[14][15]

By'awangudde[kyusa | edit source]

Dynamos

Uganda

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. http://www.galaxyfm.co.ug/2020/01/23/awonye-ebikomando-bye-jinja-busoga-united-midfield-general-boban-zirintusa-bogere-joins-mtibwa-sugar-of-tanzania/
  2. http://www.galaxyfm.co.ug/2020/01/23/awonye-ebikomando-bye-jinja-busoga-united-midfield-general-boban-zirintusa-bogere-joins-mtibwa-sugar-of-tanzania/
  3. https://www.kawowo.com/2018/01/17/midfielder-zirintusa-joins-ethiopia-premier-league-club/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2017-07-30. Retrieved 2022-11-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://nehandaradio.com/2013/01/12/dynamos-welcome-new-players-at-luncheon/
  6. http://nehandaradio.com/2013/02/18/dynamos-new-boy-scores-in-3-0-victory/
  7. https://web.archive.org/web/20170730212403/https://mtnfootball.com/news/471552/Bogere-glad-to-score-for-Polokwane-City
  8. https://web.archive.org/web/20170730212403/https://mtnfootball.com/news/471552/Bogere-glad-to-score-for-Polokwane-City
  9. https://www.kawowo.com/2018/01/17/midfielder-zirintusa-joins-ethiopia-premier-league-club/
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2019-10-01. Retrieved 2023-06-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://kawowo.com/2019/09/12/joel-muyita-match-day-four-best-xi/
  12. https://kawowo.com/2020/01/20/busoga-united-football-club-loses-second-player-in-january-transfer-window/
  13. https://www.kawowo.com/2013/09/09/cranes-stats-from-2014-wcq-campaign/
  14. https://www.kawowo.com/2013/09/09/cranes-stats-from-2014-wcq-campaign/
  15. https://web.archive.org/web/20170731193001/https://mtnfootball.com/match/centre/15253/Liberia-vs-Uganda
  16. http://www.rsssf.com/tablesz/zimbchamp.html

Ebiralala by'olina okugoberera[kyusa | edit source]