Bonna basome
Appearance
Enkola ya bonna basome mu Uganda
[kyusa | edit source]Mu mwaka gwa 1997 govumenti ya Uganda ekulemberwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lwe yatandika enkola ya "Bonna Basome" mu pulayimale. Okuva mu mwaka ogwo abaana abasoma mu pulayimale beeyongedde era nga we twogerera baava ku bukadde busatu nga kati batuuse ku bukaddemusanvu n'emitwalo nkaaga. Omwana omuwala, abaana abalina obulemu ku mibiri gyabwe wamu n'abo ababeera mu bitundu awataali masomero kati bonna bagabana kyankanyi mu "Bonna Basome".