Brenda Nabukenya
Brenda Nabukenya yazaalibwa nga 19 Ogwokuna mu 1984, nga munabyabufuzi Omunayuganda era munamateeka atuula ku kakiiko akakola amateeka. Akiikirira abantu ba Disitulikiti ye Luwero nga omubaka omukyala omukyala mu Paalamenti ya Uganda. Ali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Unity Platform, abaamuwa tikiti gweyagira okumulonda okwesimbawo okugenda mu Paalamenti oluvannyuma lw'okulonda kwa bonna okwa 2021. National Unity platform ekulemberwa Robert Kyagulanyi Sentamu gwebasinga okumannya nga Bobi Wine.[1][2]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Nabukenya yaliko mu kibiina kya Democratic Party (DP) nga ku tikiti y'abano kweyawangulira eky'okukulembera bayizi bane ku Yunivasite y'e Kyambogo mu 2005 wamu n'okubeera omubaka wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti ye Luwero wakati wa 2011 okutuuka mu 2016.[1][3][4][5]
Nga tanatuuka ku by'akulondebwa nga eyali akulira bayizi bane omukyala eyali asookse ku Yunivasite y'e Kyambogo, Nabukenya yali akola muterekero lya bitabo erya yunivasite mu Yunivasite ye Kyambogo.
Ng'ali Kyambogo, yasoma Diguli mu sayaansi w'eby'okulya wamu n'okujanjaba enddwa ezisibuka kundya embi.[3]
Oluvannyuma yeeyongerayo okusoma Diguli mu by'amateeka okuva ku Yunivasite ye Makerere.[3]
Mu 2020, yavuganya Nobert Mao, eyali pulezidenti w'ekibiina kya Democratic party ku ky'okubeera pulezidenti w'ekibiina kino.[6][7][8][9][10][11]
Mu kulonda kwabonna okwa Uganda mu 2021, , Nabukenya yawangula nga afunye obululu 76,801 oluvannyuma lw'okuwangula gweyali asinga okuvuganya naye okuva mu kibiina kya National Resistance Movement Mulondo Cissy eyafuna obululu 40,353.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Nabukenya esaawa eno ye minisita ow'ekisikirize avunaanyizibwa ku by'enjigiriza n'eby'emizannyo ku ludda oluvuganya gavumenti.[12]
Ye mu myuka wa ssentebe w'akakiiko akagata abakyala mu Paalamenti ya Uganda.[13][14]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://www.independent.co.ug/luwero-district-dp-executive-committee-members-cross-to-nup/
- ↑ 2.0 2.1 https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nabukenya-brenda-10493/
- ↑ 3.0 3.1 3.2 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/the-enigma-that-is-mp-nabukenya-1574064
- ↑ https://chimpreports.com/dps-nabukenya-dismissed-from-uyd/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2023-03-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://nilepost.co.ug/2020/02/10/mao-not-responsible-for-failed-institutions/
- ↑ https://www.watchdoguganda.com/news/20200204/86873/here-are-the-four-politicians-who-want-to-kick-mao-out-of-dp-leadership.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2024-04-03.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/former-mp-brenda-nabukenya-announces-bid-for-mao-s-seat-1872628
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=MuNjoaORPD0
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/02/he-has-sold-our-soul-to-nrm-dp-strong-lady-nabukenya-vows-to-unseat-mao-in-race-for-dp-presidency.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20220122113209/https://www.ugstandard.com/lop-mpuuga-accounts-for-first-100-days-in-office/
- ↑ http://www.uwopa.or.ug/news/uwopa-elects-new-executive-11th-parliament-uganda
- ↑ https://www.bukedde.co.ug/articledetails/118580