Bugema University

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox university Bugema University (BMU) ssettendekero ya ngattikantondwa mu Uganda addukanyizibwa ku nnono n'empisa z'ekkanisa y'Abaadiventi. Bugema University ye emu ku matendekero agatambulira ku nnono n'enjigiriza y'Abaadiventi, enjigiriza y'ekikulisitaayo ekwata ekifo eky'okubiri mu mu nsi yonna.

Obusange[kyusa | edit source]

Ssettendekero eno eri ku ttaka eriweza yiika 640 (1.00 sq mi), mu Kalagala sub-county, Bamunanika county, mu ddisitulikiti ya Luweeroesangibwa mu kitundu eky'omu masekkati ga Uganda. Ettabi ekkulu liri ku bugazi bwa kkiromita 33 (21 mi) bw'ogoberera oluguudo era nga lisangibwa mu bukiikakkono-vvanjuba bw'ekibuga kya Uganda ekikulu, Kampala. Liri ku bugazi bwa kkiromita nga 18.2 ku luguudo oluli mu bukiikaddyo bw'akabuga k'e Ziroobwe, ku luguudo oluva e Gayaza ne ludda e Ziroobwe (Gayaza–Ziroobwe Road). Obugazi bw'ettabi lino buli 0°34'10.48"N, 32°38'30.55"E (Latitude: 0.57; Longitude: 32.6418).

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Ettendekero lino lyatandikibwawo mu mwaka gwa 1948 ng'ettendekero ly'abasomesa n'abasumba b'ekkanisa y'abaadiventi mu buvanjuba bwa Africa. Mu kiseera ekyo lyali liyitibwa Bugema Missionary Training School. Oluvannyuma ennyo, erinnya eryo lyakyusibwa ne lifuuka Bugema Missionary College ate nalyo ne likyusibwa okufuuka Bugema Adventist College.

Mu mwaka gwa 1976, ekitongole ky'ebyenjigiriza mu Uganda n'ekibiina ekitwala ekkanisa y'Abaadiventi byawa Bugema Adventist College olukusa okusomesa ddiguli mu busumba n'obuweereza (Bachelor of Theology). Ebbanguliro lino lyali lyasaba dda olukusa olulikkiriza okusomesa ddiguli y'obusumba naye ekitongole ky'ebyenjigiriza ne kikomba ku erima kubanga mu kiseera ekyo, Makerere University ye ssettendekero yokka eyali ekkirizibwa okusomesa amasomo ga ddiguli mu ggwanga. Abayizi 35 be baasobola okwewandiisa era ne batandika okubangulwa mu buweereza n'obusumba. Musumba ne muky. Villagomez wamu ne musumba Gary Fordham be baali abayigisa b'abayizi abo mu kiseera ekyo. Idi Amin, eyali omukulembeze w'eggwanga mu kiseera ekyo bwe yawera ekkanisa y'Abaseveniside mu Uganda mu mwaka gwa 1977, okutendeka abayizi mu ssomo lino kwajjululwa ne kuzzibwa e Nairobi okumala akaseera akatonotono era mu mwaka gwa 1978 ne wabaawo abayizi abaasooka okutikkirwa era ne baweebwa ddiguli mu busumba n'obuweereza (BTh). Nga wayiseewo akaseera, ebbanguliro lino lyazzibwa mu lusiisira lw'ekkanisa olw'abavubuka mu kifo ekiyitibwa Watamu ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Mombasa okutuusa Amin bwe yava mu Uganda. Reuben Mugerwa yamaliriza ddiguli ye ey'okubiri ku Andrews University n'oluvannyuma n'afuuka omu ku bayigisa b'essomo lino. Ebbanguliro lino oluvannyuma lyazzibwa ku ttabi ly'e Bugema.

Ebbanguliro lino lyatandika okugaziwa. Ku nkomerero y'emyaka gy'ekinaana (1980s), amasomo g'ebyenfuna n'ago ag'ebyobusomesa gaatandikibwa okusomesebwa. Mu 1994, Bugema Adventist College yakyuka okuva ku ddaala ly'ettendekero n'efuuka ssettendekero. Mu 1997, Bugema University yaweebwa ebbaluwa okuva mu kitongole ky'ebyenjigiriza n'ebyamizannyo egikkiriza okuweereza ng'ettendekero erya waggulu.

Amabanguliro[kyusa | edit source]

Bugema University erimu amabanguliro gano wammanga:

School of Business[kyusa | edit source]

  • Department of Accounting and Finance
  • Department of Management and Marketing
  • Department of Information Technology
  • Department of Engineering

School of Social Sciences[kyusa | edit source]

  • Department of Developmental Studies
  • Department of Social Work
  • Department of Theology and Religious Studies

Ebbanguliro ly'Abasomesa[kyusa | edit source]

  • Department of Arts
  • Department of Science
  • Department of Languages

Ebbanguliro ly'abasoma ddiguli ey'okubiri/ey'okusatu[kyusa | edit source]

Ebbanguliro ly'abo abasoma ddiguli ey'okubiri/ey'okusatu ku Bugema University likolagana ne University of Eastern Africa, Baraton mu Kenya okusomesa amasomo agamu. Ebbanguliro lino era likolagana ne Central Luzon State University mu kusomesa amasomo agamu ate era nga y'entabiro y'ensomesa-nnamutimbagano ey'amasomo agamu agasomesebwa abayizi abasoma ddiguli ey'okusatu ku Central Luzon State University mu Philippines.

Amasomo agatendekebwa[kyusa | edit source]

Gano wammanga ge masomo agatendekebwa ku Bugema University:

Amasomo ga ddiguli esooka[kyusa | edit source]

  • Bachelor of Business Administration in Accounting
  • Bachelor of Business Administration in Finance
  • Bachelor of Business Administration in Marketing
  • Bachelor of Business Administration in Management
  • Bachelor of Business Administration in Office Administration
  • Bachelor of Business Administration in Economics
  • Bachelor of Business Administration in Business Information Systems
  • Bachelor of Business Administration in International Trade
  • Bachelor of Business Administration in Entrepreneurship
  • Bachelor of Arts with Education
  • Bachelor of Science with Education
  • Bachelor of Arts in Development Studies
  • Bachelor of Science in Counseling
  • Bachelor of Social Work and Social Administration
  • Bachelor of Theology
  • Bachelor of Arts in Religious Studies

Postgraduate degree programs[kyusa | edit source]

  • Master of Business Administration
  • Master of Science in Counseling
  • Master of Arts in Education Management
  • Master of Arts in Development Studies
  • Master of Arts in English Literature
  • Master of Science in Education
  • Master of Professional Studies in Education
  • Master of Science in Rural Development
  • Master of Professional Studies in Rural Development
  • Master in Local Government Management
  • Doctor of Philosophy in Developmental Education
  • Doctor of Philosophy in Rural Development
  • Doctor of Philosophy in Developmental Communication

Amasomo ga ddipulooma[kyusa | edit source]

  • Diploma in Accounting
  • Diploma in Marketing
  • Diploma in Office Administration
  • Diploma in Information Technology
  • Diploma in Education

Amasomo ga ssatifikeeti[kyusa | edit source]

  • Certificate in Small Business Computer Networks
  • Certificate in Office Automation and Data management
  • Certificate in Computer Repair and Maintenance

Laba ne[kyusa | edit source]

 

  • List of Seventh-day Adventist colleges and universities
  • Seventh-day Adventist education
  • Seventh-day Adventist theology
  • History of the Seventh-day Adventist Church
  • Adventist Colleges and Universities
  • Adventist University of Africa
  • Education in Uganda
  • List of universities in Uganda

Ebijulizo[kyusa | edit source]

External links[kyusa | edit source]