Jump to content

Bukedde

Bisangiddwa ku Wikipedia

Bukedde lwe lupapula lw'olulimi Oluganda olusinga okutunda mu nsi yonna. Lwatandikibwawo mu Uganda mu 1994 mu kitongole ky'ebyamawulire ekya New Vision kati ekimanyiddwa nga Vision Group. Lwe lupapula mu lulimi Oluganda olutunda kkopi ezikunukkiriza mu 40,000 buli lunaku. Bukedde lwe lupapula lw'omuntu waabulijjo, oluvumu, oluwa amawulire amanyuvu agayigiriza ate nga geesigika.