CBS FM Buganda
CBS FM Buganda Mukutu gwa Ladiyo okuweereza mu lulimu Oluganda mu kibuga kya Kampala, Uganda.[1]
Enkuuka Y’Omwaka
[kyusa | edit source]Kino kivvulu ekimalako omwaka nga kitegekebwa aba CBS FM, mu bikujjuko by'omwaka omugya.[2] Enkuka yo Mwaka etikkira omwanguzi w'empaka z'ebibuuzo ebikwata ku Bwakabaka n'ennono za Buganda ezimala ebbanga ery'emyezi mukaaga era ng'ono atuumibwa Omuzira wa Bazira, kileeta wamu abayimbi ba Buganda abasinga mu kisaawe ky'okuyimba. Kigendererwamu okuleeta okunyumirwa, okwesiima wamu n'okusanyuka nga Omutanda tannaba kukulemberamu abagoberezi be mu mwaka omugya mu butongole nga kino kikolebwa n'akabonero ak'ekisumuluzo. Mu kifo kyokugenda mu bifo eby'ebbeeyi ne wooteri ennene mu Uganda, Kabaka agya n'alaba ebiriroriro ebikolebwa saako n'okusanyusibwa kw'abayimbi ng'ali n'abantube ekikolwa ekitwalibwa nga eky'obuntu n'okukwasaganya abantu awamu era nga y'emu ku nsonga lw'aki nnamungi w'omuntu y'eyiwa mu kivvulu kino.[3][4]
Entanda ya buganda
[kyusa | edit source]Entanda ya Buganda pulogulaamu ya ladiyo ey'ebibuuzo ebigendererwamu okutumbula obuwangwa saako n'ennono za Buganda. Okuvuganya kuno kugezesa abakontanyi ku nsonga eziwerako okuva mu Buganda, nga muno mwemuli ebisoko n'engero eby'olulimi Oluganda, eby'obuwangwa, Eby'emizannyo, Eby'obufuzi, n'ebirala bingi, kino kisikiriza abakontanyi abasuuka mu 500 okwetabamu. Omuwangu w'empaka zino aweebwa engule nga 31 Ogwekkuminebiri mu kivvulu ekitegekebwa Kabaka mu lubiri lwe olw'eMengo. Abawanguzi baddayo ewaka n'ebyapa by'ettaka okwo kw'ossa n'ebirabo by'ensimbi. Mukiibi annyonyola nti, “Twatandikawo entanda ya masomero mu masomero era nga eno evugirirwa offiisi ya Nnabagereka. Ffe nga Buganda tukitwala okuba eky'omuwendo, twagala abantu okwenyumiriza n'okuyiga lulimi lw'abwe Oluganda n'obuwangwa okutwaliza awamu. Tulina okukkiriza nti enteekateeka zino zigyakutuyambako mu kukuuma eby'obuwangwa n'obwakabaka.”.[3] Omuwanguzi w'empaka zino aweebwa engule nga 31 Ogwekkuminebiri ku mukolo ogutegekebwa Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II mu lubiri lwe olw'e Mengo. Abawanguzi abafuna ettaka bazimbyeko amasomero n'abalala bakozeeko ebintu eby'enjawulo eby'enkulakulana.[4][5][6]
CBS PEWOSA Uganda
[kyusa | edit source]Okuggyibwa ku mpewo n'okuggulwawo kwa ladiyo ya CBS
[kyusa | edit source]Nga 10 Ogwomwenda 2009, CBS yagyibwa ku mpeewo olw'okukuma omulliro mu bantu. Kino ky'ava pulogulaamu ez'akolebwa omwali okukyaza abantu abaali bavumilira Gavumentisted. Ensonga z'atabuka oluvanyuma lwa Kabaka okuganibwa okugenda eKayunga era kino ky'aviirako okwekalakaasa.[7] Ba kakensa bagezaako okuteekako ebyuma bya situdiyo n'essubi nti CBS enazibwaako ko mpewo, era balekeraawo okuggulawo situdiyo. Olw'olumu, abakozi ba CBS bakungaananga okunyumyamu, okuseka okwegyako ennaku n'okugabana akasente akatono k'ebalina.[8][9] Emirimu gya ladiyo egisinga gyasazibwamu nga ebivvulu eby'ali bitegekeddwa saako n'obulango. Mu 2010, sitasoni yaggulwawo n'ate oluvanyuma lw'okuggalwawo okumala omwaka gumu.[10]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.bbc.com/news/world-africa-14112301
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Enkuuka-draws-mammoth-crowds/-/691232/2579454/-/5jpvs1z/-/index.html
- ↑ 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-03. Retrieved 2022-11-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2015-03-15. Retrieved 2022-11-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://kampalatoday.wordpress.com/2009/11/11/entanda-ya-buganda-is-on/
- ↑ https://kawalyafred.wordpress.com/2013/04/20/entanda-2011/
- ↑ http://www.newvision.co.ug/D/8/459/710052
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-05. Retrieved 2022-11-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://cpj.org/blog/2010/10/ugandan-station-still-closed-an-ill-omen-for-elect.php
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2011-08-09. Retrieved 2022-11-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)