Caroline Adoch
Caroline Adoch
| |
---|---|
Nationality | Ugandan |
Citizenship | Ugandan |
Education | St. Agnes Catholic Girl's Primary Boarding School Naggalama, St. Mary's Namagunga, University of Dar es Salaam, University of Cambridge, Makerere University |
Occupation | Lawyer And Human Rights Advocate |
Caroline Adoch Munnayuganda ow'ebyamateeka era omulwanirize w'eddembe ly'abantu. Ye mukyaala eyasooka okufuna diguli ya Doctorate of Law (LL.D) okuva mu Yunivasitte ye Makerere eyamuweebwa nga 23rd Ogwokuttaano 2022.[1][2][3]
Emisomo
[kyusa | edit source]Adoch yasomera ku St. Agnes Catholic Girl's Primary Boarding School Naggalama, gye yafunira satifikeeti ya Primary Leaving Examination Certificate. O-level ne A-level ye yagisomera ku Mount St. Mary's Namagunga.[1][2] Yasoma diguli y'ebyamateeka ku University of Dar es Salaam okuva mu mwaka gwa 2004 okutuusa mu mwaka gwa 2007,[1][2] era nafuna diguli ye eya Master's degree of Laws (LL.M) mu 2010 okuva mu University of Cambridge mu United Kingdom nga amaze okuweebwa Commonwealth Scholarship.[2][3][4] Yafuna diguli ya Doctor of Laws (LL.D) okuva ku Yunivasitte ye Makerere nga 23 Ogwokuttaano 2022, ekyamufuula omukyala eyasooka okufuna diguli ya Doctor of Laws (LL.D) okuva ku Yunivasitte.[5]
Doctoral thesis ye yatuumibwa "Access to Gender Justice in Uganda: Enetegereza y'omulwanirizi w'eddembe ku mbeera y'abakabanyisibwa gyebayitamu mu kuwaabila emisango n'okugisala" eyakulemberwa Professor Sylvia Tamale.[2][3][6]
Emirimu
[kyusa | edit source]Mu mwaka gwa 2012, Adoch yegatta ku ttendekoro ly'byamateeka mu Yunivasitte ye Makerere nga omusomesa. Oluvanyuma yafuuka assistant lecturer ku Yunivasitte yemu jyeyasomesa course omwali eddembe ly'abantu, public internal law, administrative law and constitutional law.[1] Mu Gwokussattu 2019, Yafuuka Siniya associate ku CivSource.[7]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 https://news.mak.ac.ug/2022/05/ms-caroline-adoch-first-female-doctor-of-laws-ll-d-of-makerere-university-recipient/
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-10. Retrieved 2024-04-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 3.0 3.1 3.2 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/adoch-believes-political-will-checks-impunity-and-lawlessness-3845266
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/73808-trailblazing-dr-adoch-provides-legal-ray-of-hope-for-rape-victims
- ↑ https://www.africa-press.net/uganda/all-news/we-will-use-research-to-serve-our-country
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/we-will-use-research-to-serve-our-country-3825606
- ↑ https://civsource.squarespace.com/s/CivSource-Africa-2019-Report.pdf