Caroline Kamya
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Caroline | |
| Erinnya lya famire | Kamya | |
| Yazaalibwa nga | Gwakubiri (Mukutulansanja) 1974 | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | film director | |
| IMDb ID | nm3970084 | |
Caroline Kamya (yazaalibwa 1974) munnayuganda muteesiteesi era akola ffirimu.
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kamya yazaalibwa Uganda wabula yakulira Kenya mpozi ne Bungereza[1][2].
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kamya yafuna diguli eyasooka mu misomo gya Architecture ne Urban Design okuva mu ttendekero lya Bartletts e Bungereza. Okwo yayongerezaako emisomo gya Masters mu pulogulaamu za ttivvi eza documentary okuva mu Goldsmiths College[1].
Mu kusoma n'okukuguka mu bya firimu, Kamya yasomerako mu matendekero gano : Maisha Film Lab e Kampala,Berlinale Talent Campus e bugiriimani, DOX Lab, Durban Talent Campus e South Africa mpozi ne Binger[2].
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kamya awangudde engule ezisukka mu 10 nga kwotadde okukolera mu mikutu egyenjawulo egya ttivvi e London n'addala BBC.Bweyakomawo e Uganda, natandikawo kampuni esunsula era etekateka empereza y'oku ttivi emanyikiddwa nga IVAD International[3].
Mu mwaka 2010, firimu ya Kamya eyasooka eyali eyitibwa Imani baagiraga ku mwoleso gwa Berlin Film Festival, era neerangiribwa mu ttuluba lya 'Best First Feature'.Neera mu mwaka gwe gumu yazaako firimu ya Chips and Liver Girls, nga yakolagana ne dayirekita munne omu Danish ayitibwa Boris Bertram. Firimu eno yali eraga embeera eriwo wakati wa bawala abato mu Uganda n'abasajja ababasasulira ebisale by'okusoma. Mu mwaka 2011, yazaaki firimu enyimpimpi gyeyatuuma Fire Fly (2011) era nga eno yagikolera China[3]
Firimu zaze akola
[kyusa | kolera mu edit source]- Chips and Liver Girls (short), 2011
- Imani, 2010
- Fire Fly (short), 2011
- The Peace Between 2019