Catheline Ndamira
Catheline Ndamira mukyala munnabyabizinensi era munnabyabufuzi wa Uganda nga abadde mubaka akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Kabale[1] ekifo kino ekibaddemu okuva mu 2016.
Ebimukwatako n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Yazaalibwa nga 13 Ogwomunaana 1977. Catheline Ndamira emisomo gye egya ssekendule yagisomera ku Rubirizi S.S.S. Yasoma ebya bizinensi ku ssettendekero wa Makerere University Business School, nga yafuna Satifiketi eya business administration mu 2008, Era yafuna ne Dipulooma okuva ku Makerere University Business School, mu Kampala mu 2010. Mu 2014, yafuna Diguli esooka mu kukwasanganya bizinensi eya Bachelor of Business Administration and Management okuva mu Uganda Martyrs University.
Emirimu gy'akoze
[kyusa | edit source]Wakati wa 2010 ne 2015 yakola ng'omukwanaganya w'ebyenfuna mu Kampuni ya VIDAS ENGINEERING SERVICES CO. LTD
Oluvanyuma lw'okulonda okwabonna okw'ali mu Gwokubiri 2016, Catheline Ndamira Atwakiire yalondebwa ku kifo ky'omubaka akiikirira abakyalA MU Disitulikiti y'e Kabale mu 2016.
Emirimu gye mu Paalamenti
[kyusa | edit source]Okuggyako obuvunanyizibwa bwalina mu Paalamenti, buno bw'ebukiiko bwatuulako mu Paalamenti:
- Mmemba ku kakiiko akakwasaganya esimbi z'abakozi ba Gavumenti
- Akakiiko akakwasaganya eby'obulamuPatliament of Uganda retrieved 15 April 2020
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2023-03-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)