Catherine Amusugut
Catherine Amusugut Munnayuganda asomma ensi n'ebigirimu, era ng'aweereza nga Geoscience Maneja ku Kampuni ya Uganda ey'amafuta eya Uganda National Oil Company (UNOC), okuva mu Gwomunaana 2017.[1] Ng'ebyo tebinnabaawo, okuva mu Gusooka 2007 okutuusa mu Gwomunaana 2017, yaweereza ng'omukugu ku bisangibwa m nsi mu dipaatimenti y'amafuta eya Petroleum Exploration and Production Department (PEPD), mu Minisitule y'ebyammasanyalaze n'enkulakulana y'ebyobugaga eby'omuttaka eya Uganda Ministry of Energy and Mineral Development.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Yasomera ku Ssetendekero wa Makerere, Yunvasite ya Gavumenti ya Uganda esinga obukulu n'obunene gyeyatikkirwa Diguli mu byafaayo by'ensi eya Bachelor of Science in Geology and Chemistry. Oluvanyuma mu 2010, Diguli ey'okubiri mu Saayasi ebyafaayo by'ensi n'amafuta eya Master of Science in Petroleum Geoscience, fokuva mu University of Aberdeen, mu Scotland.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Amusugut yegatta ku PEPD mu Gusooka 2007, nga yatandiika nga omuyizi atendekebwa mu byafaayo by'ensi bwe yali akyasoma Diguli mu ssomo eddala mu Yunivasite y'e Makerere. Oluvanyuma lw'okutikkirwa kwe mu Diguli mu byafaayo by'ensi eya BSc degree in geology, yaweebwa omulimu nga omukugu mu byafaayo by'ensi ajudde. Obuvunaanyizibwa bwe mwalimu enkola y'emirimu eweebwayo kampuni z'amafuta okukakasa nti pulaani zituukiridde era tezikosa butonde bwa nsi era z'ankizo mu ku linyisa eby'ensimbi bweziba ng'enkola zituukiddwako, okukkirizibwa okweyongerayo n'emirimu, okukkirizibwa okusima. Mu busobozi buno, ayogerezeganya n'abakulu ab'okuntikko ab'amakolero g'amafuta ag'ebulaaya ku nteekateeka ez'okukolerako.[3]
Mu 2017, yaweebwa omulimu nga Maneja ku nsonga z'ebyafaayo by'ensi mu Kampuni y'amafuta eya Uganda National Oil Company (UNOC).[4]
Byawandiise ku Sayansi
[kyusa | edit source]Amusugut awandiise empapula z'obwa sayansi eziwerako mu bifo byalinamu obumanyrivu nga byanjuliddwa mu Ttabamuluka w'amawanga g'ebulaaya era bifulumiziddwa mu bitabo by'abavubuka.[5][6]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Website of the Uganda Ministry of Energy and Minerals Archived 27 September 2007 at the Wayback Machine
- Enhancing National Participation in the Oil and Gas Industry in Uganda
- ↑ https://www.linkedin.com/in/cathy-amusugut-833a6440/?originalSubdomain=ug
- ↑ 2.0 2.1 "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-09. Retrieved 2024-04-29.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.linkedin.com/in/cathy-amusugut-833a6440/
- ↑ https://www.abdn.ac.uk/alumni/our-alumni/subsurface-leader.php
- ↑ http://www.searchanddiscovery.com/abstracts/html/2011/ice/abstracts/abstracts026.html
- ↑ https://www.researchgate.net/publication/311853440