Catherine Kyobutungi
Catherine Kyobutungi (yazaalibwa nga 1972) Munnayuganda musawo omukugu mu kulwanyisa n'okulwanyisa okusaasanya kw'enddwadde mu kaseera kano y'akulira African Population and Health Research Center[1][2] era sentebe wa Joep Lange.[3] Yalondebwa mu African Academy of Sciences mu 2018.[4]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Kyobutungi yazaalibwa mu 1972 mu Gulu mu Uganda.[5] Yatandiika emisomo gye egy'obusawo ku ssettendekro wa Makerere University mu 1990.[6] Oluvanyuma lw'okuttikirwa mu 1996 yakola ng'omusawo ku ddwaliro lya Rushere Community Hospital.[7] Kyobutungi y'ava mu ddwaliro ettono n'adda mu ddwaliro lya Gavumenti oluvanyuma lw'okulekulira ng'alwanirira okutereeza embeera y'ebyobulamu bwa Africa.[8] Yafuna Diguli y'esooka mu by'obulamu bw'abantu eya master's degree mu community health ne Diguli mu kulwanyisa ensaasanya y'obulwadde eya doctoral degree mu epidemiology okuva mu Yunivasite ya Ruprecht Karl University of Heidelberg mu 2002.[6] Okunoonyerezaakwe kw'asinzira ku dipaatimenti ey'ensaaasanya y'obulwadde ne by'obulamu eby'abantu bonna era nga yagobererwa omukugu Prof. Dr. rer. nat. Heiko Becher.[5][9] Mu 2006 Kyobutungi yegatta ku African Population and Health Research Center n'ekigenderwa eky'okwongera ku kunonyerezaakwe mu misomo gye, era yalondebwa okukulembera okunoonyereza ku bisoomoza.[7][10] Oluvanyuma lw'okuttikirwa Kyobutungi yatandiika okusomesa ku Yuivasite ya Mbarara University of Science and Technology.[7]
Okunoonyereza kwe n'emirimu gye
[kyusa | edit source]Mu Gwekkumi 2017, Kyobutungi yafuulibwa Dayilekita wa Research at the African Population and Health Research Center (APHRC).[11][12] Mu busobozi buno, yasobola okwekennenya eby'obulamu bw'abakyala abazaala n'ebisoomooza eby'enjawulo mu bibuga bya Africa.[13] Kyobutungi yatunuulira nnyo okwongera amaanyi mu bukulembeze bwa malwaliro aga bulijjo, saako okutendeka n'okubawa ebikozesebwa.[14] Mu masekkati g'abanoonyereza mu Africa okuva mu malwaliro ag'abulijjo basobola okukungaanya ebikwata ku by'obulamu naye tebalin busobozi kuby'ekennenya n'okubimalaawo.[15] Kyobutungi ageregeranyiza ebifunibwa mu kunonyereza n'ebitakozesebwa ku nvubu, "mu kaseera kano tulaba era tufuna ebikwata ku by'obulamu bitono nnyo nga amatu g'envubu ng'eri mu mazzi - naye tukimanyi nti bingi eby'etobese mu kyo".[15]
Yafuulibwa Dayilekita omukulu mu APHRC mu 2017.[16] Mu kifo kino, emirimu gye essira yalissa mu kulwanisa ensaasanya y'enddwadde z'omutima, n'enddwadde ya sukaali mu bantu b'omubyalo n'engeri y'okutangiramu enddwadde z'omutima mu migoteko gye Nairobi.[17] Mu kaseera kano ye yali ssentebe w'ekibiina ekirwanyisa okusaasana kw'enddwadde mu Kenya ekya Kenya Epidemiological Association. Kyobutungi akoze n'amanyi okolongosa mu by'enjigiriza by'abaana ab'obuwala, omuli okukulakulanya ebitundu mwe bawangalira n'okutendeka abasomesa.[18]
Mu 2019 Kyobutungi yalangirirwa ku bwa ssentebe wa Joep Lange, ekifo kyeyakozesa okwekennenya enddwadde ezitasiigibwa mu mawanga ga Africa. Enddwadde ezitasiigibwa z'eyongedde okulinnya mu mawanga ga Africa nga eby'obulamu mu kaseera kano tebirina bikozesebwa n'abyetagisa mu kujjanjaba abantu mu bitundu ebikoseddwa enddwadde zino.[6] Essira ku nsimbi eziva ebulaaya n'okutendeka abantu okutuusa kakaano bibadde ku bulwadde bwa mukenenya, omusujja gw'ensiri n'obulwadde bw'akafuba, kino kitegeeza nti okukeberebwa kw'enddwadde nga puleesa bibusibwa amaaso.[6] Kyobutungi yawagira abasawo okutuukira ddala mu bantu mu byalo gyebawangalira naddala abawambibwa puleesa n'okubekennenya entunnunsi.[19] Ykizuula nti okwongera ku nkolagana wakati w'abalwadde n'abasawo yalina okugunjaawo enkola erimu ensimbi nga buli mulwadde eyagyanga ku ddwaliro okukeberebwa yaweebwanga ennusu kikumi (100 shillings).[19] Wamu n'okutandikawo pulogulaamu ey'okunonyereza ku nddwadde ez'olukunguba n'engeri y'okunywezaamu obujjanjabi, Kyobutungi avumbudde omulimu gwa tkinologiya mu kukwasaganya abalwadde eri obujjanjabi bw'abwe.[6] yasoma ku mulimu gy'ekitongole kya WHO Framework Convention on Tobacco Control ku tteeka lya taaba mu kitundu kya Sub-Saharan Africa.[20]
Kyobutungi aweereza ku kakiiko ka United States International University Africa.[21] era akola nga Dayilekita w'ekitongole ekinonyereza ekya Consortium for Advanced Research Training in Africa (CARTA), ekitongole ekitunulidde okuzimba n'okunweza obusobozi bwa Yunivasite za Africa.[22][23] Yalondebwa mu African Academy of Sciences mu 2018.[24]
Okuva mu 2019, Kyobutungi abadde memba Lancet–SIGHT Commission on Peaceful Societies Through Health and Gender Equality, kikulemberwa Tarja Halonen.[25]
Ebirala by'eyakola
[kyusa | edit source]- Partnership for Maternal, Newborn & Child Health (PMNCH), Memba ku kakiiko akakulembera[26]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://aphrc.org/
- ↑ http://indepth-network.org/aphrcs-new-executive-director-%E2%80%93-dr-catherine-kyobutungi
- ↑ Institute, Joep Lange.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-07. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 5.0 5.1 "Archive copy". Archived from the original on 2020-03-31. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 "Archive copy". Archived from the original on 2020-03-31. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 7.0 7.1 7.2 "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-06. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://elifesciences.org/inside-elife/8304ca3b/webinar-report-building-connections-and-developing-research-in-sub-saharan-africa
- ↑ http://indepth-network.org/dr-catherine-kyobutungi
- ↑ https://audioboom.com/posts/2479560-aphrc-s-dr-catherine-kyobutungi-speaks-to-national-public-radio
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-03-31. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://indepth-network.org/aphrcs-new-executive-director-%E2%80%93-dr-catherine-kyobutungi
- ↑ https://urbanage.lsecities.net/talks/well-being-in-african-cities#slides
- ↑ Kyobutungi, Catherine.
- ↑ 15.0 15.1 https://www.who.int/tdr/news/2015/research-data-share/en/
- ↑ Berman, Philippa (2017-10-28).
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=eP0W3SHkuMI
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-10-02. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 19.0 19.1 Gregory Warner (September 14, 2014).
- ↑ Wisdom, Jennifer P.; Juma, Pamela; Mwagomba, Beatrice; Ndinda, Catherine; Mapa-Tassou, Clarisse; Assah, Felix; Nkhata, Misheck; Mohamed, Shukri F.; Oladimeji, Oladepo; Oladunni, Opeyemi; Oluwasanu, Mojisola (2018-08-15).
- ↑ Website, USIU-Africa.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-10-16. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20191002205827/http://cartafrica.org/carta-hosts-dfid-deputy-director-research-evidence-division/
- ↑ https://news.yale.edu/2018/03/20/yale-african-academy-sciences-host-symposium-university-research
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-11. Retrieved 2023-03-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Partnership_for_Maternal,_Newborn_&_Child_Health
Lua error: Invalid configuration file.