Catherine Lamwaka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Catherine Lamwaka (yazaalibwa nga 25 Ogwekkuminebiri 1983) Munnayuganda munnabyabufuzi era mubaka mu Paalamenti ya Uganda eya 11th ng'akikirira Disitulikiti y'e Omoro.

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Lamwaka Mubaka omukyala mu Paalamenti ya Uganda.[1] Ye Mubaka wa Disitulikiti omukyala akiikirira akiikirira Disitulikiti y'e Omoro[2] era mmba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM). Ekibiina kya NRM kye kiri mu bukulembeze bw'eggwanga lya Uganda[3] nga sentebe w'akyo ye Yoweri Kaguta Museveni, Pulezidenti wa Uganda.[4] Yaweerezaako nga omukiise wa Pulezidenti owa Disitulikiti y'e Gulu[5] neDisitulikiti y'e Pader.[6]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Lamwaka emisomo gye egya Pulayimale yagitandikira ku Gulu Primary School gye yamaliririza ebigezo bye eby'akamalirizo ebya primary-leaving examinations. In 1996, yasomera ku Sacred Heart Secondary School, Gulu, mu misomo gye egya O-levo ne A-levo gye yakolera ebigezo by ebyakamalirizo ebya Uganda Certificate of Education (UCE) mu 2000 n'ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 2002.[7] Oluvanyuma yegatta ku Yunivasite ya Gulu University, mu 2006, gye yatikkira ne Diguli esooka ya Bachelors Degree in Development Studies. Mu 2008, yayongerako Dipulooma eya Diploma in Public Administration and Management okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 2016, Lamwaka abadde mubaka mu Paalamenti ya Uganda, ng'akiikirira abantu ba Disitulikiti y'e Omoro ng'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti.[8] Aweereza ku kakiiko ka Gavumenti akagendera okutereeza obuwereza mu malwaliro mu Paalamenti ya Uganda era memba ate nga mumyuka w'ekitongole kya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).[9] Yaweerezaako wansi wa ofiisi ya Pulezidenti nga omukiise wa Pulezidenti, Disitulikiti y'e Gulu, okuva mu 2014 okutuusa mu 2015[10] era omukiise wa Pulezidenti owa Disitulikiti y'e Pader, okuva mu 2010 okutuusa mu 2014.[11] Lamwaka yakola nga ow'ebyenkulakulana mu Disitulikiti y'e Amuru okuva mu 2007 okutusa mu 2010,[12] era nga kaakano mu mirimu gye ng'omuyambi mu kunoonyereza mu kitongole kya NGO Forum mu Gulu okuva mu 2006 okutuusa mu 2007.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-28. Retrieved 2023-03-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1500279/museveni-commends-omoro-voting-leaders
  3. https://www.monitor.co.ug/News/National/NRMs-Lamwaka-registers-early-lead-in-Omoro-District/688334-3362062-in6n91z/index.html
  4. https://www.theeastafrican.co.ke/news/ea/NRM-to-endorse-yoweri-museveni-for-another-term/4552908-5431318-l5hclwz/index.html
  5. https://ugandaradionetwork.net/story/gulu-rdc-lamwaka-resigns-for-mp-seat-
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1319359/pader-rdc-weds-museveni-couple-cows
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2023-03-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1434001/nrm-lwamaka-wins-omoro-woman-mp-race
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2023-03-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1431284/nominated-omoro-woman-mp-seat
  11. https://www.ugandaradionetwork.net/story/pader-teachers-financial-institutions-investigated-for-forgery
  12. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1295217/masaka-dp-youth-battle-elders-nrm-women-clash-amuru