Catherine Nakalembe
Catherine Nakalembe munayuganda akola nga munasaayaansi eyeekaanya n'okulondoola ebugumu ly'ekitundu nalimannya okuva mu kabanga ak'ewala , ng'ate mukenkufu akola okunoonyereza kutendekero lya University of Maryland (UMD) mu kitongole ekikwasaganya eby'embeera y'omubwengula ekiyitibwa ''Department of Geographical Sciences and the NASA Harvest Africa program Director.[1][2] Okunoonyereza kwe kulimu ekyeeya, eby'obulimu neby'okwerinda ku mere.
Mu mwaka gwa 2020, Nakalembe baamuwa engule ya Africa Food Prize.
Obulamu bwe n'eby'enjigiriza
[kyusa | edit source]Nakalembe yakulira mu kibuga Kampala ekya Uganda, nga kitaawe yali makanika wa mmotoka eyeeyigiriza, ngate nnyina yalina ng'ate yadukanya kwoteeri y'emere mu Makindye.[3]
Nakalembe mu kisaawe okumannya saayaansi w'eby'etolodde nakakisa, kuba yasubwa koosi ye yelai esooka mu bya sayaansi akwatagana ku by'emizannyo bweyali asoma disguli ye edirira gyeyasooka ku setendekero ly'e Makerere muntandikwa y'omwaka gwa 2002.[4] Mu mwaka gwa 2007, yafuna diguli ye edirira eyasooka mu bya saayaansi w'eby'etoloode okuva mu setendekero ly'e University.[4][2]
Oluvannyuma lwa diguli zze ezaali zidirira eyasooka, yafuna basale ey'okusomera ku bweereere mu diguli ey'okubiri mu by'enkula y'ensi n'okudukanya ebimwetolodde gyebayita ''master’s program in geography and environmental engineering'' okuva mutendekero lya Johns Hopkins University. Yatikirwa diguli ye ey'okubiri mu mwaka gwa 2009.[5][4][6]
Nakalembe yatikirwa diguli ye ey'okusatu mu bya saayaansi w'eby'etoloode oba kiyite Geographical Science okuva kutendekero lya University of Maryland wansi w'eyali Chris Justice eyali amulinako obuvunaanyizibwa. Obusawo bwe ku kunoonyereza kwalina ekirubirirwa eky'okulaga ebiyinza okuva mu kyeeya ku ttaka erikozesebwa, n'obulamu bw'abantu omu bukiika ddyo bw'omubuvanjuba bwa Uganda. Lyeryaali edaala eryali lisooka ery'okuteekawo elry'okumannya nokulondoola ebugumu ly'ekitundu okuva mu kabanga akawanvu mu pulojekiti y'ebigwa tebiraze eya ''disaster risk financing project'' eyakayamba amaka kumpi 75,000 mu kitundu kino okuviira ddala wekwalinya mu mwaka gwa 2017, n'okuwereza gavumenti ya Uganda, n'okutaaka ebikozesebwa bya gavumenti ya Uganda, ebyandibadde bigenda okuyamba abeetaga obuyambi munambiro.[2][6][7]
Y'akulira eby'emirimu mu pulogulaamu ya Afrika esinganibwa mu kitongole ekidukanya NASA Harvest Program, ng'era bamannyikiddwa ku lw'emirimu gyabwe egy'okumannya n'okulondoola ebugumu ly'ekifo mu kabanga akawanvu, okuyiga tekinologiya w'ebyuma eyeeyambisibwa mu kukulakulanya eby'obulimu n'eby'obukuumi ku mere okwetooloola semazinga wa Afrika. Yatandikawo eby'okumannya n'okulondoola ebugumu ly'ekifo mu kabanga akawanvu,ng'akozesa obummotoka obutabeerramu bantu, mu kunoonyereza abanoonyi boobubuddamu gyebabeera, n'okuzuula n'okuzuula ettaka gyeriyinza okuyikuuka mu Uganda. Akoze okunoonyereza mu by'okumannya n'okulondoola ebugumu ly'ekifo mu kabanga akawanvu nga yekaanya ekyeeya, eby'obulimi n'obulunzi, n'okuteeka munkola eokwekaanya kw'ensi ku byobulunzi n'eobulimi n'okwekaanya abalina eby'obulimi n'omuluuzi ebitontono mu manwaga ag'enjawulo.[3]
Nakalembe ategeka n'okukulmeberamu ababeera bagenda okukozesa ebyuma n'ebikungaaziziddwa mu kutendekebwa ku kumannya n'okulondoola ebugumu ly'ekifo mu kabanga akawanvu, ne minisitule y'eggwanga ku by'okusalawo kungeri gyebagenda okutambuzaamu eby'obulimi n'obulunzi, n'okulembera ebibiina ebirwana okutngira okusaana wo kw'ebimera .
Ebitiibwa n'engule
[kyusa | edit source]Yafuna engule y'ekibiina ekiroondoola ensi ekya Group on Earth Observations okumusiima olw'emirimu gye eyali eya first Individual Excellence Award mu mwaka gwa 2019.
Mu mwaka gwa 2020, yagabana engule ya Africa Food Prize (AFP) n'eyali omusawo Dr.André Bationo okuva mu ggwanga lya Burkina Faso. Olusegun Obasanjo, ssentebe w'akakiiko ka AFP, yagamba "tweetaaga abantu okuva mu Afrika nga bayiiya ngaDr. Bationo ne Dr. Nakalembe okutulaga ebiyinza okuva mu magezi amapya ne tekinologiya, wamu n'okugezesa tekinologiya ayogera okulakulanya abalimi. Ababiri bano bombi bafirika abenjawulo."[8][9][10]
Mu mwaka gwa 2020 yafuna engule ya UMD Research Excellence Honoree.[11] Mu mwaka gwa 2022, yafuna omudaali gwa ''Ugandan Golden Jubilee medal'' ey'omuntu wa bulijjo. Yaweebwa bazadde bbe pulezidenti Yoweri Museveni.[12][13]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Nakalembe yafumbirwa Sebastian Deffner,[14] omukenkufu eyayamba ngako ab'ekitongole ky'etendekero lya University of Maryland, Baltimore County (UMBC) [15]ekivunaanyizbwa ku by'okumannya ebibeera bitwetolodde n'engeri gyebitambulamu oba kiyite Theoretical Physics.[16] Balina abaana babiri.[3]
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230324150951/https://nasaharvest.org/index.php/partner/catherine-nakalembe - ↑ 2.0 2.1 2.2
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://geog.umd.edu/facultyprofile/nakalembe/catherine - ↑ 3.0 3.1 3.2
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.nasa.gov/feature/goddard/2020/an-innovator-in-international-food-security - ↑ 4.0 4.1 4.2
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/dr-catherine-nakalembe-donates-usd-100000-joint-food-prize-for-library/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20200927181646/https://bsos.umd.edu/featured-content/professor-nakalembe-named-2020 - ↑ 6.0 6.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20200613074540/https://geog.umd.edu/feature/dr.-catherine-nakalembe-receives-inaugural-geo-individual-excellence-award - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20200916034529/https://geog.umd.edu/feature/dr.-catherine-nakalembe-named-2020-africa-food-prize-laureate - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://africafoodprize.org/dr-andre-bationo-and-dr-catherine-nakalembe-awarded-the-2020-africa-food-prize-afp/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.vanguardngr.com/2020/09/africa-needs-productive-policy-push-to-transform-agric-obasanjo/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.devex.com/news/sponsored/remote-sensing-specialist-and-soil-scientist-win-africa-food-prize-98067 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210715150033/https://geog.umd.edu/feature/drs.-feng-loboda-nakalembe-honored-2020-maryland-research-excellence-celebration - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/125701 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220202025258/https://geog.umd.edu/feature/dr.-nakalembe-honored-highest-civilian-award-(golden-jubilee-medal-civilians)-uganda. - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/my-work-helps-improve-people-s-livelihoods-2483160 - ↑ https://physics.umbc.edu/people/faculty/deffner/
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://physics.umbc.edu/people/faculty/deffner/