Catherine Namono

Bisangiddwa ku Wikipedia


  Catherine Namono Munnayuganda omukugu mu omukugu mu kunoonyereza n'okuyiikula ebintu ebyebyafaayo abiri mu ttaka era anonyereza ku byafaayo ku bisiige ebyenjawulo nga ye yakuguka mu kusoma ku bisiige ebyefanaanyiriza omuntu nga by'akubibwa ku njazi. Ye Munnayuganda asoose okutuukirira mu kuyiikula ebyafaayo ebiri mu ttaka.[1]

Obuto bwe[kyusa | edit source]

Catherine Namono yazaalibwa mu Uganda eri omugenzi Joyce Apaku (RIP) ne Engineer Martin Wambwa. Yasomera ku Fairway Primary School mu Mbale. Oluvanyuma yatwalibwa ku Mount Saint Mary's College Namagunga, mu Disitulikiti y'e Mukono, mu misomo gye egya O-Levo. Oluvanyuma yagenda ku Trinity College, essomero ery'abawala bokka elisangibwa e Nabbingo, Disitulikiti y'e Wakiso, ng'eno gye yamaliririza emisomo gye egya A-Levo, nga yatikkirwa ne Dipuloma eya High School Diploma.

Okweyongerayo mu misomo gye[kyusa | edit source]

Namono yakkirizibwa mu Settendekero wa Makerere University, Yunivasite ya Gavumenti esinga obunene n'obukulu, nga yatikkirwa Ddiguli esooka mu byafaayo ku bisiige eya Bachelor of Arts degree mu Art history. Ye yongerayo nafuna Diguli mu ssomo ly'elimu eya post-graduate, nga yatikkirwa Diguli ey'okubiri eya Master of Arts degree in Art history, nga n'ayo yagifunira ku Yunivasite y'e Makerere.

Oluvanyuma yagenda mu South Africa. Olw'okwagala kwe okuvumbula naddala mu ssomo lye erya ebyafaayo ku bisiinge ebiringa eby'abantu ebikubibwa ku njazi n'enjazi, empuku ez'asiigibwa abantu ab'edda, Yegata ku Yunivasite ya University of the Witwatersrand mu Johannesburg, nga yatikkirwa Diguli ey'okubiri eya Master of Arts degree in Rock art. Bweyali asoma Diguli ye y'okusatu, y'ekennenya jjinja ery'enjawulo ery'akozesebwanga abantu ab'edda abaali bamanyikiddwa nga Bantu speakers. Namono yakizuula nti ejjinja lino ly'ali lyakolebwa ba Bantu era na';akizuula nti ly'aliko engoombo eyali ekkiriza abaana abalenzi n'abawala. Namono bweyagenda okusoma ku bisiige by'abalenzi, yakizuula nti by'ali byakolebbwako abavumbuzi abasooka ra n'olwkyo, yasalawo okusoma ku bawala, mu kitundu ekimanyikiddwa nga Limpopo mu South Africa. Okwongerako kwe ku Diguli ye ey'okubiri kwakyusa okusoma kwe okuva ku byafaayo ku bisiige n'adda ku kuyiikula n'okuvumbula ebyafaayo n'ebyobugagga eby'omuttaka.

Namono yeyongerayo okwongra ku misomo ggye era natikkirwa mu 2010 ne Diguli eya Doctor of Philosophy degree in archaeology ku Yunivasite ya University of the Witwatersrand. N'obumanyirivu buno, yafuuka Munnayuganda eyasooka okukuguka mu kunonyereza n'okuyiikula ebyafaayo n'ebyobugagga eby'omuttaka. Era ye Munnayuganda ow'okubiri okufuna Diguli ey'okusatu eya PhD in archaeology, oluvanyuma lw'omugenzi Pulofeesa David Mulindwa Kiyaga.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Namono y'akuguka mu kunonyereze ku bifaananyi byakubibwa ku njazi, empuku, naddala ebifaanyi bya Uganda ebyakubibwa ku njazi n'empuku.[2] Era Munnayuganda omukugu mu bisiige by'okunjazi n'empuku nga akola n'ettendekero lya Rock Art Research Institute ku Yunivasite ya University of the Witwatersrand mu Johannesburg.[3] Era akola ku ssomo eddala ku buwangwa obwakubibwa ku njazi z'abakimpijigini n'ebya Kondowa mu Tanzania. Okwewaayo kwe kuno kwongedde ebyafaayo ku byafaayo by'ennyanja Nnalubaale era n'okwongera okutangaaza n'okutegeera okusinziira ku kunyonyla kwe.

Ebyafaayo ku bisiige ebiri ku njazi n'empuku za Uganda tebyekennenyezeddwa bulungi olw'ensonga nti amazima n'ennaku z'omwezi z'ebisigalira bino bisigadde tebitegereddwa olw'obubonero obutali bulambulukufu.[4]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.