Catherine Odora Hoppers

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Catherine A. Odora Hoppers yazaalibwa mu mwezi ogw'omusanvu, ng'enaku z'omwezi 3, mu mwaka 1957, nga mukenkufu enzaalwa za Uganda munkulakulana y'eby'enjigiriza mu South Afrika. Akoleddeko mu ggwanga lya Sweden, nga kati mu mwaka gwa 2020 asinziira mu ggwanga lya South Afrika.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Odora Hoppers yazaalibwa mu ggwanga lya Uganda.[1] Yasomera mu Uganda, Zambia ne Sweden. Alina diguli eyawagulu omu by'enjigiriza oba giyite ''doctorate in international pedagogy'' okuva mutendekero lya Stockholm University. Yakolako ng'omuwi w'amagezi mu kitongole kya UNESCO ne mu kitongole kya ''World Intellectual Property Organization'' (WIPO)[2] ne mu gavumenti ya South Afrika[1] ne Uganda.

Mu mwaka gwa 2008 yali muwi w'amagezi ow'eby'ekikugu kunsibuko y'amagezi mu kakiiko ka ''Parliamentary Portfolio Committee'' ku by'ebifannanyi, eby'obuwangwa, saayansi ne tekinologiya. Bweyafuuka omukenkufu ng'omunoonyereza w'enkulakulana mu by'enjigiriza mu South Afrika. Kino kyali kifo kya ggwanga nga kyatandikibwawo ekitongole ky'e South Afrika ekivunaanyizibwa ku bya saayaansi ne tekinologiya mu Pretoria.[3]

Ensangi zino mu mwaka gwa 2021, abeera mu disitulikiti y'e Gulu mu Uganda.

Engule z'awangudde[kyusa | edit source]

Kuteesa ku Afrika munsonga n'okuwangana amagezi ku by'enfuna mu mwaka gwa 2015. Okuva ku kkono okudda ku ddyo: ye Kingsley Moghalu, Martial De-Paul Ikounga, munamawulire t Nozipho Mbanjwa, Oluwatoyin Sanni, Julius Akinyemi, Francis Gurry, Odora-Hoppers, Mactar Silla ne Snowy Khoza

Odora Hoppers yaweebwa ekitiibwa kya diguli eyawagulu okuva mutendekero lya Örebro University mu by'enkukula ky'amagezi oba kiyite ''Philosophy'' mu mwaka gwa 2008, n'endala okuva mutendekero lya Nelson Mandela Metropolitan University mu South Afrika mu mwaka gwa 2012.[1] Mu mwaka ogwaddako yafuna engule okuva ew'omukulembezze w Uganda mu mwaka gwa 2013webaali bajaguza Uganda okuweza emyaka 50 egy'obwetwazze.[2] Yafuna engule ya ''The National Pioneers Award mu mwaka gwa 2014, okuva mu bakulu oba " The Elders " olw'okutumbuula sisitiimu y'amagezi g'omu Afrika okumala emyaka 20 egyali giyise, okuva eggwanga lya South Afrika bweyafuna obuyinza bw'okwetwala okuva mu bafuzi b'amatwale.

Mu mwezi ogw'omusanvu, ng'enaku z'omwezi 3, mu mwaka gwa 2015, engule ya ''Nelson Mandela Distinguished Africanist Award'' yaweebwa Odora Hoppers ng'emukwasibwa HE Thabo Mbeki kutendekero lya University of South Africa mu kibuga Pretoria eky'eggwanga lya South Afrika, nga mu mwaka ogwo, yatuumibwa omukyala w'omwaka [2] , n'eyali ekulembedde abayigiriza kutendekero lya University of South Africa.

Mu mwaka gwa 2017, yafuuka ow'ekitiibwa mu kitongole kya UNESCO okubeera ow'eby'enjigiriza ebiwaanvu .[2]

Ebitabo ne byafulumiza ng'ebitontome n'ebiwaandiiko ebirala (ebirondeddwamu)[kyusa | edit source]

  • "Indigenous Knowledge and the Integration of Knowledge Systems: Towards a Conceptual and Methodological Framework, pages 2-22. Chapter in Indigenous Knowledge and the Integration of Knowledge Systems. Towards a Philosophy of Articulation . Odora Hoppers CA ed. Cape Town. New Africa Books. 2002.  
  • "Evolution / Creationism Debate: Insights and Implications from the Indigenous Knowledge Systems Perspective", p. 74-88. Chapter in The Architect and the Scaffold: Evolution and Education in South Africa . James W. & Wilson L. Cape Town, Human Sciences Research Council Publishers & New Africa Books. 2002.  ISBN 07969-2003-6
  • Indigenous Knowledge and the Integration of Knowledge Systems: Towards a Philosophy of Articulation. Editor. 2002.  ISBN 1-919876-58-8
  • "The Development Gulag, Sustainable Human Development, and Their Implications for Africa's Self Image and Renewal", p. 157-174. Chapter in Chasing Futures. Africa in the 21st Century - Problems and Prospects. Prah KK & Teka T. Cape Town. CASAS & OSSREA. 2003.  ISBN 1-919932-03-8
  • "African Renaissance, Indigenous Knowledge, and the Challenge of Integrating Knowledge Systems", p. 412-428. Chapter in Globalizing Africa. Smith M. ed. Trenton NJ. Africa World Press. 2003.  ISBN 0-86543-870-6
  • "Eco-Social Wisdom of Billions and the Philosophy of its Articulation: Ethical and Strategic Imperatives", p. 14-38. Chapter in Multiple Languages, Literacies and Technologies. Slide PV ed. New Delhi & Frankfurt. 81-89164-11-2. 2004  
  • "Culture, Indigenous Knowledge and Development: The Role of the University", p. 42, Johannesburg. Center for Education Policy Development. 2005.  ISBN 0-9584749-2-3
  • "Between 'Mainstreaming' and 'Transformation': Lessons and Challenges for Institutional Change", p. 55-74. Chapter in Gender Equity in South African Education 1994-2004 . Chisholm L. & September J. Cape Town. HSRC Press. 2005.  ISBN 0-7969-2094-X
  • "Constructing a Conceptual Framework for Historically Black Universities (HBUs) in a Developmental Paradigm", p. 47-64. Chapter in Within the Realms of Possibility. From Disadvantage to Development at the University of Fort Hare and the University of the North. Nkomo M; Swartz D; Maja B. Human Sciences Research Council Press. 2006.  ISBN 0-7969-2155-5
  • "Establishing a Systems Dialogue between South Africa and Sweden", p. 1-14. Chapter of Odora Hoppers; Gustavsson B; Motala E; Pampallis J. Democracy and Human Rights in Education and Society: Explorations from South Africa and Sweden. Örebro University. Örebro University Press. 2007.  ISBN 978-91-7668-543-3
  • "Towards a Systems Dialogue: Exploring Issues in Educational Reform in Sweden and South Africa", p. 15-35. Chapter of Odora Hoppers; Lundgren UP Pampallis J.; Motala E; Nihlfors E., Dilemmas of Implementing Education Reforms. Explorations from South Africa and Sweden. Uppsala University. STEP. 2007.  ISBN 9789189444270
  1. 1.0 1.1 1.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230324155301/https://www.aasciences.africa/fellow/odora-hoppers-catherine-alum
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 https://web.archive.org/web/20230324155315/https://uil.unesco.org/alumni/honorary-fellows-2017, {{cite web}}: Empty citation (help)
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)http://pascalobservatory.org/users/catherine-odora-hoppers