Jump to content

Catherine Webombesa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Catherine Webombesa (yazaalibwa nga 19, Ogwokutaano 1983) Munnayuganda, muddusi wa misinde ng'amanyikiddwa olw'ebyo byeyakola nga yafuna omudaali gwa Zaabu ogw'ensi yonna ng'omuddusi w'emisinde gya middle-distance running.[1] [2] Yetaba mu mpaka z'abakirimaanyi ez'emisinde gya East Africa Senior Athletic Championships ezayindira mu Kisaawe kye Nambole 2007 nga mwezo yawangula omudaali gwa zaabu ne feeza nga kino kyateeka Uganda k maapu ng'Eggwanga ery'okubiri.[3]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Omuddusi w'emisinde mu Uganda avuganyiza mu mpaka ez'enjawulo era nga wammanga bwe bumu ku bubonero bweyafuna mu misinde:

National Champion: Mu kudduka kwe, Webombesa yafuna ekitiibwa ky'omuddusi w'eggwanga nnantameggwa.

Personal Bests: Mu budde bwa 2:08.21 mu misinde gya mita 800, esaawa 4:21.0 mu misinde gya mita 1500, n'esaawa 9:29.941 mu misinde gya mita 3000, abadde nantameggwa mu mpaka ezo.

Empaka z'okuvuganya kw'ensi yonna: Mu mizanyo gy'abavubuka egya 1998 World Youth Games ezaali mu Moscow, yawangula omudaali gwa zaabu mu miside gya mita 3000.[4] Era alekayo obudde obw'okuwandiikako mu misinde gy'okuluguudo nga obudde bwa 33:09 mu mpaka za kilomita 10 n'esaawa 1:13:391 mu misinde mubuna byalo.

National Road Running Champion: Ngayita mu kwolesa amaanyi ge mu mpaka z'emisinde emiwanvu, Webombesa yawangula ekitiibwa ky'abwannantameggwa wa Uganda mu misinde gya national road running champion.[5]

Bye yafuna

[kyusa | edit source]

Catherine Webombesa yafuna ekitiibwa ky'obwannantameggwa wa Uganda, ekintu ekimulabisa ng'asinga mu misinde. Yetaba mu mpaka z'okuvuganya mu nsi nga France ne Russia, nga yonna yakuuma ekitiibwa kye ng'omuwanguzi mu misinde gyonna gyeyadduka.[2]

Esaawa z'awanguliddeko

[kyusa | edit source]

Mu mikolo egisinga, awangulidde mu budde obwenjawulo okugeza, mita 800 mu saawa 2:08.21 e Kampala (2007), the emisinde gya mita 1500 mu saawa 4:21.0 mu Kampala (2007),[6] mita 3000 mu saawa 9:29.94 mu Moscow (1998),[4][7] Kilomita 10 mu Ddakiika 33:09 mu Caen, France (2010), n'emisinde mubuna byalo mu saawa 1:13:39 mu Reims, France (2008).[2]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  2. 2.0 2.1 2.2 https://worldathletics.org/athletes/uganda/catherine-webombesa-14303403
  3. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  4. 4.0 4.1 http://www.gbrathletics.com/ic/wyg.htm Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content
  5. https://worldathletics.org/news/news/ayeko-webombesa-claim-uganda-road-running-tit?urlSlug=ayeko-webombesa-claim-uganda-road-running-tit
  6. https://worldathletics.org/news/news/webombesa-headlines-at-akii-bua-memorial-in-k?urlSlug=webombesa-headlines-at-akii-bua-memorial-in-k&urlSlug=webombesa-headlines-at-akii-bua-memorial-in-k&urlSlug=webombesa-headlines-at-akii-bua-memorial-in-k
  7. https://web.archive.org/web/20120502155633/http://www.wjah.co.uk/wojc/WYG/WYG1998.html