Jump to content

Cathy Patra

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Catherine Mbabazi nga amanyikiddwa nga Cathy Patra muzinnyi era Munnayuganda, muyiiya w'amazina, mwolesi w'angoye era mukya munnabizinensi. Yawangula awaadi y'omuyiiya era omuteeseteesi w'amazina asinze mu Africa award era ekibiina kye ekya RVC kye kyawangula mu bibiina by'abazinyi mu Africa mu awaadi ez'ategekebwa mu 2021 eza Zikomo Awards mu Zambia.[1][2]

Obulamu bwe n'emirimu gye

[kyusa | edit source]

Cathy Patra yazaalibwa mu ddwaliro ly'e Nsambya eri Omwami Mwesigwa Emmanuel n'omukyala Mwesigwa Rose. Ye mwana ow'okuna mu baana omukaaga mu famire y'abwe. Yasomera ku Old Kampala Primary School, Mbarara Army Boarding Secondary School(MABSS) mu msomo gye egya O Levo, n'oluvanyuma Bombo Secondary School mu A Levo. Oluvanyuma yegatta ku Ndejje University era n'akola Satifikeeti mu bubalirizi bw'ensimbi eya Certificate in Accounting and Finance oluvanyuma n'ayongerako Diguli mu kukwasaganya bizinensi eya Bachelor of Business Administration. Yatandiika eby'okubiibya mu myaka gye egy'obuvubuka mu nkungaana z'a famire ne ku ssomero nga tannaba kwegatta ku kibiina ky'ekkanisa eky'abazinnyiekyali kiyitibwa Miracle Teens ku Miracle Centre Church mu 2004. Mu 2014, yatandiikawo ekibiina kye kyeyatuuma RVC. Oluvanyuma yafuna edduuka erya The Fix Cosmetics mu Kampala nga yalitandika ne Georgine Komuhendo, ne Red Events Ltd nga yali ne Sheebah Karungi ne bizinensi endala ez'enjawulo mu Kampala.[3][4][5]

Yakozesa nga mazina okwolesa abakyala byebayitamu mu bitundu gye tuwangalira okugeza okukkirizibwa okusoma, okunyomebwa ku mirimu, okutulugunyizibwa mu maka, obukodyo n'amagezi eri abakyala, okukabasanyizibwa mu kisaawe ky'okuyimba ku Nation Theatre Uganda mu mazina g'eyatuuma I am Female. Ayiiyiriza amazina abayimbi ab'enjawulo omuli Sheebah, Rema ne Spice Diana.[6][7][8][9]

Empaka z'eyetabamu ne Awaadi zeyawangula

[kyusa | edit source]

Patra yawangula awaadi y'omuyiiya wa mazina asinze mu Africa mu Awaadi za Africa award era n'ekibiina kye akyabazinnyi ekya RVC n'ekiwangula eky'ekibiina kya bazinnyi ekisinze mu Africa ku Zikomo Awards mu Zambia mu 2021. Omukyala asinze okwambala mu awaadi z'okwolesa eza East Africa Fashion Awards Blue Carpet 2020, Awaadi y'omuzinyi omukyala eza Best Female Dancer Sweet Heart Awards 2016.[10][11]

Ennyimba ze yaziniramu

[kyusa | edit source]
Omwaka Akatambi/ ekivvuli Omuyimbi
2014 Go Down Low Sheebah Karungi ne Pallaso
2016 By the way Sheebah Karungi
2017 Enjala Sheebah Karungi

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. Josh, Ruby.
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-13. Retrieved 2023-03-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://satisfashionug.com/dancer-cathy-patra-and-georgine-have-launched-a-luxury-lash-line/
  4. Josh, Ruby.
  5. Kaggwa, Andrew.
  6. Solomon Businge.
  7. https://www.galaxyfm.co.ug/2021/04/21/cathy-patra-thrilled-with-major-double-win-at-zikomo-awards-in-zambia/
  8. https://www.galaxyfm.co.ug/2021/04/21/cathy-patra-thrilled-with-major-double-win-at-zikomo-awards-in-zambia/
  9. "Females fighting back with dance".
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-28. Retrieved 2023-03-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://mbu.ug/2020/05/03/quarantine-fashion-cathy-patra-the-stylish-and-fashionable-dance-enthusiast/