Jump to content

Charity Bainababo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bainababo Charity

Charity Bainababo Munnamagye era omubaka wa palamenti Munnayuganda akiikirira eggye lya Uganda erya Uganda people's defense forces (UPDF) mu Palamenti ya Uganda ey'Ekkumineemu(2021-2026).[1][2]Bainababo yaliko omumyuuka w'omuduumizi w'eggye erikuuma omukulembeze w'eggwanga n'abantu abalala ab'enkizo mu Uganda li SFC. Ku kifo kino yasikirwa Asaph Nyakikuru Mweteise[3]

Obuto n'emisomo

[kyusa | kolera mu edit source]

Bainababo Munnayuganda eyazaalibwa mu 1975. Yasomera ku Kako Primary School mu disitulikiti y'e Masaka oluvannyuma n'agenda ku St. Charles Lwanga Girls Secondary School mu disitulikiti ye Kalungu okusoma omutendera gwa siniya. Emisomo gya haaya yagisomera ku Progressive Secondary School.[4]

Ayina diguli mu nzirukanya ya bizinensi n'ebyobusuubuzi nga essira alissa kubwa kitunzi eya Bachelor of Business Administration in marketing, okuva mu Nkumba University. Ku Uganda Management Institute yasomerayo era nattikirirwayo Postgraduate Diploma mu Information Systems Management wamu ne diguli ey'okubiri mu ssomo ly'erimu erya Information Systems Management. Eby'okwerinda n'ensonga z'ekijaasi yabisoma era abirinamu diguli ey'okubiri eyitibwa Master's in Defence and Security Studies gyeyasomera ku Yunivasite e Makerere.[5]

Okutendekebwa mu nsonga z'ekijaasi

[kyusa | kolera mu edit source]

Bainababo yegatta ku ggye lya Uganda mu 1998 era naagenda mu kutendekebwa ku ttendekero ly'amagye e Kabamba mu disituikiti ye Mubende. Yaliko ne mu ttendekero lyabajaasi abakuuma omukulembeze wa Uganda erisangibwa e Kaweweta mu Nakaseke. Yaliko mu ttendekero lya Uganda Military Academy. Oluvannyuma natendekebwa mu ttendekero lyabamaje abali ku madaala agawaggulu li Uganda Senior Command and Staff College e Kimaka natikkirwa mu 2017.[6]

Mu Gwomukaaga 2024, Bainababo ku ddaala Brigadier General yeeyongerayo ku Uganda National Defence College e Njeru mu Buikwe okwongera okutendekebwa.

Bainababo yaliko omuyambi omukulu era nga akukulira abakuumi b'omukyala w'omukulembezo wa Uganda era Minisita w'ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni.[2][7]

Ye Buligediya w'eggye lya Uganda erya Uganda People's Defense Forces (UPDF) era omumyuka w'omuduumizi wa SFC.[8][9][10][11]

Bainababo y'akkikirira Eggye kya Uganda mu Paalamenti era aweereza nga omukwasi w'empisa mu babaka ba Paalamenti ab'eggye lya Uganda people's Defense Forces (UPDF) MPs in parliament.[12][13][14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://nilepost.co.ug/2021/04/26/ppg-commander-charity-bainababo-1300-updf-officers-promoted/
  2. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2024-11-27. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.kampalapost.com/content/brig-nyakikuru-replaces-brig-charity-bainababo-deputy-sfc-commander
  4. https://softpower.ug/profile-brig-gen-charity-bainababo-becomes-first-woman-to-command-sfc/
  5. https://www.watchdoguganda.com/news/20220416/134377/brig-gen-charity-bainababo-here-are-interesting-facts-you-didnt-know-about-the-new-sfc-deputy-commander.html
  6. https://observer.ug/news/headlines/72643-how-president-museveni-planned-his-succession
  7. https://kampalapost.com/content/gen-kainerugaba-praises-ppg-trainees-high-level-training
  8. https://observer.ug/news/headlines/72643-how-president-museveni-planned-his-succession
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://ugandaradionetwork.net/story/20-nominated-for-10-updf-slots-in-parliament
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-16. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/you-re-listening-posts-in-parliament-museveni-tells-new-updf-mps-3274554
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)