Charity Basaza Mulenga
Charity Basaza Mulenga Munnayuganda, mukugu mu by'amasanyalaze era mukulembeze w'essomero. Ye yali omumyuka akulira ssetendekero wa St. Augustine International University (SAIU) okuva (2011 okutuusa mu 2016) , era nga ttendekero ly'emisomo gya wagguli erya Uganda National Council for Higher Education nga ly'akkirizi bwa mu 2011.[1]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Yazalibwa mu kitundu kye circa 1979 mu Disitulikiti y'e Kisoro mu Buggwanjuba njuba bwa Uganda.
Mulenga yasoma aby'amasannyalaze okuva ku Yunivasite ya Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obunene n'obukulu nga yatikkirwa Diguli esooka eya Bachelor of Science degree mu 2001. Diguli ye ey'okubiri eya mu by'empuliziganya eya Master of Science degree in digital communication systems yamuwebwa okuva mu Yunivasite ya University of Loughborough mu 2004.[2] Era alina Diguli ey'okusatu mu kukanika amasanyalaze n'ebintu ebikozesa amasanyalaze eya Doctor of Philosophy degree in electrical and electronic engineering, nga yamuweebwa mu 2010 okuva ku Loughborough University.[3]
Emirimu gy'akoze
[kyusa | edit source]Mu 2001 Mulenga yegatta ku Kkampuni ya MTN Uganda omuzimbi w'emilongoti. Mu 2003, yalekulira okukweyongerayo ne Diguli eya Master of Science degree mu Bungereza ku sikaala ya Bungereza eya British Council scholarship. Yakomawo mu Uganda mu 2005 ne yegatta ssomero elisomesa ku byuma bikalimagezi n'ebyempuliziganya ku Ssettendekero wa Makerere ng'akwasaganya eby'okunonyereza. Ng'ali eyo, era yafuna sikaala okweyongerayo mu misomo gye. Okunonyeereza kwe kw'ali ku milongooti n'okugikwataganya n'ebintu by'abulijjo ebitwetolodde. Mu kaseera kano, yalondebwa nga omuyambi w'omusomesa mu ssomero ly'elimu e Makerere. Mu 2009, yalondebwa ng'omuyuka w'omukulembeze wa Yunivasite ya SAIU. Wakati wa 2011 ne 2016, yaweereza nga omukulembeze ow'okubiri owa SAIU. Mmemba ku kakiiko akatwala Yunivasite ya SAIU.[4]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20150621064601/http://www.unche.or.ug/institutions/private-universities/page/3
- ↑ https://web.archive.org/web/20140821041411/http://cscuk.dfid.gov.uk/wp-content/uploads/2011/03/annual-report-2003-2004.pdf
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/641315-st-augustine-international-university.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20160304031830/http://www.saiu.ac.ug/documents/saiu-prospectus-2013.pdf
Ebijuliziddwa ebiri w'abweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- "The Application of Periodic Structures to Conical Antenna Design": PhD Thesis By Charity Basaza Mulenga at Loughborough University In 2009
- Makerere University, School of Computing and Informatics Technology: List of Supervisors for The Graduate Programme In The Academic Year 2010/2011
- Omweso Computer Game - Thesis In Partial Fulfillment of the Degree of Bachelor of Science In Computer Science at Makerere University Kampala: Lead Developer: Abdul Semakula; Supervisor: Charity Basaza Mulenga. Date: June 2006