Cherif Mohamed Aly Aidara

Bisangiddwa ku Wikipedia
Cherif Mohamed Aly Aidara

Cherif Mohamed Aly Aidara alimu omusaayi omusenegal nomumauritaniya era nga mukulembeze mu diini lya Shi'i amanyikidwa olwemirimugye egyenkulakulana mu nsi zomubugwanjuba bwa Africa. Amanyikidwa nga omukubakulembeze abaamanyi mu diini lya Shi'i mu Senegal ne mubugwanjuba bwa Africa.[1]

Gyenvude ne Abengaandaze[kyusa | edit source]

Musaayi mutabike era nga alimu omusaayi gwegwanga lya Mauritaniya ne lya Fulani, Cherif Mohamed Aly Aidara yazalibwa mu 1959 mu Darou Hidjiratou akaalo akasangibwa mu Bonconto Commune, ekitundu kya Kolda mu maselengeta ga Senegal akatandikibwawo kitaawe. Taata we ayitibwa Cherif Al-Hassane Aidara nga musajja nzalwa ye Mauritaniya okuva mu ttabi lya Al Lakhal mu gwanga lya Laghal elisangibwa mu Mauritaniya eyagamba nti muzukulu wa Cherif Moulaye Idriss owenyumba ya Idrisid. Wabula nga ye maama we ayitibwa Maimouna Diao enzalwa ye Senegal mu gwanga lya Peula (Fulani) okuva mu kika kya Diao. Nga Sharif omu Senegal, Aidara agamba nti aviladala mu lulyo lwa Nabbi Muhammad.

Bweyamala okusoma ediini lyobuyisilamu mu Senegal, nga ebisinga kubyo kitaawe yeyabimusomesa, Aidara yeyongerayo nemisomogye ku Alliance Française mu Pari France. Amanyi enimi omuli oluwarabu, oluzungu, olufaransa, olupaar (olufulfulde) noluwolof.[2]

Mwanyoko ayitibwa Cherif Habib Aidara mukulembeze wa Bonconto Commune.

Emirimugye[kyusa | edit source]

Munkumi biri (2000) Cherif Mohamed Aly Aidara yatandikawo ekitongole kyobwananyini ekiyitibwa Mozdahir International Institute mu Senegal. Aidara yakulembeza nyo ebyengyigirisa nenkulakulana omuli okola emirimu gyenkulakulana, okukubiriza enkola yobuyisilamu eya microfinance nokutumbula ediini lyobuyisilamu elya Shi'i mu Senegal.

Bweyali yakatandika emirimugye, Aidara yakulembeza nyo emirimu gyenkulakulana ne ebyengyigirisa okusingiradala mu bitundu bya Casamance (Fouladou) mu maselengeta ga Senegal naye yamala nagaziya emirimugye wabweru wa Senegal okutuuka mubitundu ebilala mubugwanjuba bwa Africa omuli Mali, Guinea Bissau, Burkina Faso, Ivory Coast nensi endala mu Africa. Atambula okwetolola ensi akolagana nebitongole byobwananyini ebyamanyi omuli World Food Programme.

Azimbye kwotade nokugaziya Mozdahir okwetolola Senegal mu bibuga nga Dakar, Dahra, Djoloff, Kolda, Ziguinchor, Saloum ne Vélingara. Yatandikawo nakaaalo ka Mozdahir mu Nadjaf Al Ashraf nayamba mukukulakulanya ebyalo nga Teyel ne Foulamori nga yazimba amasomero nemizikiti mwebyo ebyaalo.

Aidara dayirekta ku mukutu gwa redio eyitibwa Mozdahir FM mu Dakar ne redio eyitibwa Zahara FM mu Kolda. Byakoze

Obutabo mu Lufaransa[kyusa | edit source]

Obutabo mu Lufaransa:[2]

  • Les Vérités de La Succession du Prophète
  • Sayyidda Zaynab (pslf) l’héroïne de Karbala
  • La prière du Prophète Mouhammad (pslf) selon les membres de sa famille
  • Ghadir Khoum : Qui relate l’évènement de Ghadir et le fameux discours du prophète (pslf) ce jour-là.
  • Achoura jour de deuil ou jour de fête ?
  • Principes de la finance islamique

References[kyusa | edit source]

  1. Leichtman, Mara A. and Mamadou Diouf. (2009). New Perspectives on Islam in Senegal: Conversion, Migration, Wealth, Power and Femininity. New York: Palgrave Macmillan.
  2. 2.0 2.1 Portrait de Cherif Mohamad Aly Aïdara. Institut International Mozdahir.