Jump to content

Christine Akello

Bisangiddwa ku Wikipedia
Christine Akello

Christine Akello yazaalibwa nga Akello Christine Ogwang Gwok Adako Munnabyabufuzi wa Uganda nga Mubaka mu Paalamenti ow'omu Bukiikakkono bwa Erute, Disitulikiti y'e Lira wansi w'ekibiina kya National Resistance Movement mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu.[1][2][3]

Ebikwata ku mirimu gye

[kyusa | edit source]

Christine aweereza ku kakiiko k'ebyobulimi,amakolero g'ebisolo n'eby'enyanja mu Paalamenti ya Uganda.[4]

Mu Erute ey'Obukiikakkono, mu kakuyege w'ebyobufuzi, yawangula Charles Angiro Gutumoi eyali ku kaadi y'ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) nga yafuna obululu 8,625 ng'ate ye yafuna obululu 13,948.[5][6] Charles Angiro Gutumoi, eyali akiikirira Erute ey'obukiikakkono mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi yafiirra mu kabenje ddeka busa n'abalala basatu akaali mu kuumiro ly'ebisolo erya Murchison Game Park mu 2023.[7] Kino ky'aggwawo mu kaseera bwe yali ava e Lira okugenda mu Disitilikiti y'e Nebbi okwetaba ku mukolo gw'okwanjula.[7] Mu Gwokutaano 2018, era yagwa ku kabenje okumpi ne Karuma nga kano kamumenya okugulu. Charles y'awanagulwa memba w'ekibiina kya National Resistance Movement's (NRM) Christine Akello.[7]

Obukuubagano

[kyusa | edit source]

Mu 2023, yavunaanibwa olw'okukuma omuliro mu bantu okuwakanya kuggulawo oluguudo olw'ali luzimbiddwa aba Gulsan Construction Company nga y'eli mu mitambo gy'okuzimba oluguudo lwa Apac nga luyita mu Lira okutuuka mu Puranga ng'egimu ku mirimu gyabwe. ayayogera ku bubenje obwali bweyongedde mu Kampala kubanga abantu bavuga bakooye n'abalala nga b'enyiyiddwa.[8]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]