Christine Amongin Aporu
Christine Hellen Amongin Aporu Munnayuganda, musomesa era munnabyafuzi. Yaweerezaako nga Minisita Omubeezi ow'ensonga za Teso mu Offisi ya Ssabaminisita mu Paalamenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011.[1] Yakiikirira Disitulikti y'e Kumi mu Paalamenti ng'omubaka omukyala.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kumi nga 22 Ogwokutaano 1958. Yasomera ku Nabuyanga Primary School ne Soroti Secondary School. Yasomera ku St. Aloysius Teachers College, mu Disitulikiti y'e Ngora,[3] nga yatikkirwa ne Satifikeeti mu busomesa eya Grade III Certificate in Teaching, mu 1979. Mu 1986, yatikkirwa mu ttendekero ly'abasomessa erya Institute of Teacher Education Kyambogo, kati eri ekitundutundu kya Yunivasite ya Kyambogo, ne Dipuloma mu busomesa eya Diploma in Education. Alina Diguli esooka mu busomesa eya degree of Bachelor of Education, gye yafunira mu Yunivasite y'e Makerere mu 1996. Yayongerako Dipuloma eya Diploma in Management okuva mu Ttendekero lya Uganda Management Institute (UMI), gye yafuna mu 2005. Diguli ye ey'okubiri eya Masters in Human Resources Management yagifuna ku UMI mu 2009.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Amongin Aporu yatandiika emirimu gye ng'omusomesa wa Pulayimale mu 1980, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1984. Oluvanyuma lw'okutikirwa kwe okuva mu ITEK mu 1986, yafuuka omusomesa ku ssomero elitendeka abasomesa nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1996. Yasooka kulondebwa okukiikirira Disitulikiti y'e Kumi mu 1996. Wakati wa 2001 2006, yaweereza nga Minisita omubeezi. Yali mmemba ku kakiiko akakkiriza okuwanika kw'abo ababadde balwanisa Gavumenti, ne dipatimenti ya LRA okuva ku ttaka lya Uganda. Oluvanyuma lw'akalulu k'eggwanga mu 2011, yalondebwa ku bwa Minisita omubeezi ow'ensonga za Teso.[4]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
- ↑ https://web.archive.org/web/20150924064541/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=20&const=Woman+Representative&dist_id=23&distname=Kumi
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=64903
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1170806/-/c0y8sbz/-/index.html