Christine Kitumba

Bisangiddwa ku Wikipedia

Christine Nakaseeta Binayisa Kitumba Munayuganda munamateeka era omulamuzi. Yakola nga Omulamuzi wa kkooti ensukkulumu mu Uganda, okuva mu July 2009. Ekiseera kye kyali kisuubirwa okuggwa mu 2015. Mu July wa 2017, yasabibwa okugenda mu maaso n’okuweereza, okusobola okukendeeza ku bbula ly’abalamuzi ku kkooti esinga obukulu mu ggwanga. We bwazibidde mu September wa 2017, yaweereza ku kkooti eno ku ndagaano eyongezeddwayo. Nga tannalondebwa ku kkooti ensukkulumu, yali mmemba mu kkooti ejulirwamu eya Uganda . [1]

Gyenvuddewe n’Okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu bitundu ebya Buganda mu Uganda. Oluvannyuma lw’okusoma pulayimale ey'omu kitundu, yawandiisibwa mu Trinity College Nabbingo, gye yamalira dipulooma eya High School . Alina diguli esooka mu mateeka gye yafuna okuva mu Yunivaasite eye Dar es Salaam, Tanzania yunivasite ya gavumenti eyatandikibwawo mu 1961. Alina diguli ey'okubiri mu mateeka, okuva mu The Queen’s University Belfast mu 1969.

Ku kkooti ensukkulumu eya Uganda[kyusa | edit source]

Mu August wa 2015, omulamuzi Christine Kitumba yali mu kakiiko akasinga obungi 6-1 akaagamba nti kimenya ssemateeka famire y’omusajja okusaba okuddizibwa ssente z’omugole, okuva mu famire y’omukazi, singa wabaawo okwawukana. Wabula okusaba omuwendo gw’omugole nga tebannaba kufumbiriganwa mu bufumbo obw'obuwangwa kyasalibwawo nga kikwatagana ne ssemateeka.

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 1R

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]