Christine Ntegamahe Mwebesa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Christine Ntegamahe Mwebesa munayuganda omusawo, eyaliko omubaka wa palamenti, nga yali akiikirira disitulikiti y'e Kabale mu palamenti ya Ugandan mu mwaka gwa 1994, mu palamenti ya Uganda eyo 6 wakati w'omwaka gwa 1996 okutuusa mu mwaka gwa 2001. Yadirwa Hope Mwesigye mu bigere mu mwaka gwa 2002 mu kulonda okwali okwabuli omu. Nga yeetegekera okubeera omubaka wa palamenti, Yakiikirira konsitituweensi y'emu, ng'omukungu mu mwaka gwa 1994 mu lukungaana olusengeka amateeka/

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1994, yalondebwa okubeera ku kakiiko ka Uganda akasengeka amateeka akaUgandan Constituent Assembly, Mwebesa yalondebwa okukiikirira disitulikiti y'e Kabale.[1] Oluvannyuma, yaweereza ng'omukyala omubaka owa konsitituweensy'emu mu palamenti ya Uganda eyo, wakati w'omwaka gwa 1996 okutuusa 2001.[2]

Mu mwaka gwa 2016, yomu kubaweebwa omudaali gw'okujaguza emyaka 50 egy'amefuga ga Uganda" mu ngeri y'okusiimibwa olw'obuwereza bwe obwali busukulumye kubalala, n'okubeera omwesiimbu eri ensi ye okuviira ddala ng'enaku z'omwezi 9, mu mwezi ogw'omwenda, mu mwaka gwa 1962, okutuuka mu naku z'omwezi 9, mu mwezi ogw'omwenda mu mwaka gwa 2012".[3][4]

Nga tukyali mu mwaka gwa 2016, yalondebwa, era naakakasibwa ku ky'omumyuka wa ssentebe w'ekibiina ekiweereza 'eby'obulamu mu Uganda, ekifo kya kyalimu n'okutuusa kati.[5]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=f04faa71-866c-462c-b32c-08a58889b5c5%3B1.0
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=5247c525-5e20-4b76-8760-4b4479d77dbf%3B1.0
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=6d2e7301-4d5f-483f-9aa0-a4dca70ed7fb%3B1.0
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1313903
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220626123751/https://www.hsc.go.ug/commission.php