Christine Nyangoma
Major Christine Nyangoma, Munnayuganda offiisa w'amajje mu Uganda People's Defence Forces (UPDF). Ye Commander wa UPDF Unit y'Abakyaala mu Somalia, nga ekitundu ku African Unions force, AMISOM.[1]
Eby'emabega
[kyusa | edit source]Yazaalibwa nga 1 Ogusooka 1967, mu Disitulikitti y'e Kabarole, mu Bitundi by'omu Bugwanjuba mu Uganda. Yasomera emisomo gye egisooka mu Kazingo Primary School. Yakyuusa okudda ku Mpanga Secondary School mu Fort Portal okusoma emisomo gya siniya. Nga ali eyo, yayingizibwa mu [./National_Resistance_Armyhttps://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Army National Resistance Army] (NRA), neyegatta ku Ugandan Bush War, okuteebereza mu mwaaka gwa 1982. Okuva olwo yayita mu kutendekebwa kwomu majje n'ebyobufuzi mu mattendekero gomajje, ag'obufuzi n'agaduumira mu gwanga ne munsi z'ebweeru.
Emirimu gy'amajje
[kyusa | edit source]Mu Gwokuttaano 2008, Nyangoma, rank ya Captain, yalondebwa nga Staff Officer, mu Directorate of Women Services Personnel, mu majje ga Uganda People's Defence Force (UPDF), eyali Chief of Defence Force (CDF), omugenzi General Aronda Nyakairima (7 Ogwomusanvu 1959 okutuusa 12 Ogwomwenda 2015).[2]
Yali omu ku ba UPDF contingent abaalwanisa abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF) mu Rwenzori sub-region, n'ebikolwa ebyeyongelayo mu balilwaana ba Democratic Republic of the Congo (DRC), mu bissera bya Operation Iron Fist. Yali omu ku Operation Safe Haven eyategeka okulumba eri abayeekera ba Lord’s Resistance Army (LRA) mu Bitundu by'Omumambuka ga Uganda, n'ebikolwa nga byeyongelayo mu balilwaana ab'omu Maselengetta ga Sudan.[1]
Okulambula kwe okwasooka mu Somalia kwaali mu 2010, ku rank y'obwa captain, nga mmemba wa logistics unit. Okulambula kwaakoma mu 2012. Yadamu nayitibwa mu kulambula Okwokubbiri, nga 31 Ogwekkumi 2016, nga Offiisa Avunaanyizibwa ku Nsonga Z'abakyaala, UPDF's entire contingent to AMISOM. Okulambula okwo kwali kukyagenda mu maaso mu Gwekkumi 2017.
Obulamu
[kyusa | edit source]Major Christine Nyangoma maama w'omulenzi omu.
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/On-duty-Somalia-still-mother-home/689842-4138216-11lvouhz/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-15. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)