Christine Ondoa

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Christine Joyce Dradidi Ondoa alina diguli mu by'okujanjaba, n'okudukanya ebifo gyebajanjabira, ng'era atwalibwa okubeera omu kubanayuganda abakulembezze nadala mu kulaba ng'eby'obulamu ebituuka mu bantu bibeera ku mitundo, empisa, neneeyisa y'abakozi nga abavunaanyzibwa ku by'obulamu bw'abantu nga egobererwa. Y'omu kubanayugada abalina obuyigirize mu kujanjaba abaana n'enddwadde, wamu n'okubeera omukulembezze w'abakiriza. Esaawa eno, akola ng'akulira ekitongole ekivunaanyizbwa ku by'akawuka kasiriimu.Yateekebwa mu kifo ekyo pulezidneti wa Uganda mu mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2014. Nga tanaba kugengda mu kifo ekyo, yakolako ng'omuwi w'amagezi owa pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ku by'obulamu bw'abantu. Yali omu kubaaali ku kakiiko akagata amawanga ag'enjawulo ak'ensi yonna akavunaanyizibwa ku by'okugema.[1] Yaliko minista w'eby'obulamu mu kabineeti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2011, okutuuka mu gwa 2013.Yatekebwa mu kifo ekyo ng'enaku z'omwezi 27, mu mwezi ogw'okutaano, ogw'omwaka gwa 2011,[2] naye oluvannyuma yadirwa Ruhakana Rugunda mu bigere ng'enaku z'omwezi 23, mu mwezi ogw'okutaano, ogw'omwaka gwa 2013.[3] Ng'ogasaako eky'okubeera minista mu kabineti, yaliko omukiise mu palamenti ya Uganda, wabula nga teyalondebwa oba kuteekebwa mu kifo kino, naye ng;akozesa ofiisi ye n'obuyinza okuwabula oba okuwa amagezi. Ng'ogyeko ekyo, yeeyali akulira eddwaliro lye Mbarara erya Mbarara Regional Referral Hospital, agamu ku malwaliro e 14 gyebakusinzidka mu Uganda singa meera ebeera egaanye, oba ekalubye.

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Moyto ng'enaku z'mwezi 21, mu mwezi ogw'ekumi, mu mwa ka gwa 1968.

Eby'enjigiriza[kyusa | edit source]

Christine Ondoa yasomera ku Mount Saint Mary's College, e Namagunga gyeyasomera siniya ye, wabula nga diguli ye mu by'edagala, ne diguli my by'okulongoosa yagifuna mu mwaka gwa 1994, okuva kutendekero ly'e Makerere eriyigiriza eby'obusawo, nga ly'esomero erisinga obukadde mu buvanjuba bwa Afrika. Alina ne diguli ey'okubiri mu by'okujanjaba abaana n'eddwadde zaabwe, gyeyafuna mu mwaka gwa 2000, nga nayo yagifunira kutendekero ly'e Makerere eriyigiriza eby'obusawo. Mu mwezi ogw'okusatu, mu mwaka gwa 2011, yatikirwa okuva kutendekero lya Uganda Management Institute eriyigiriza ebikwatagana n'okudukanya ku bya bizineensi, ng'eno gyeyatikirwa ne dipulooma mu kuweereza abantu n'okudukanya emirimu. Mu mwaka gwa 2012, yatikirwa mutendekero lyerimu ne diguli ey'okubiri mu by'okudukanya eby'emirimu. Asomeddeko kutendekero eriyamba ku by'enkyuka kyuka gyeyafunira diguli ye ey'okusatu. Yafuna okutendekebwa ku by'eyasoma okuva mu ddwaliro ly'e Nsambya erya St. Francis okuva mu mwaka gwa 1994 okutuuka mu mwaka gwa 1995. Yasigala ku ddwaliro lino ery'e Nsambya okuva mu mwaka gwa 1995, okutuusa mu 1997, bweyadayo ku somero eriyigiriza obusawo erisingaanibwa ku setendekero ly'e Makerere, okufuna diguli edirira gyeyasooka ey'okujanjanba abaana n'enddwadde zaabwe, ng'eno yeeyadirira gyeyasooka okufuna. Wakati w'omwaka gwa 2000 ne 2009, yakolerako mu ddwaliro gyebakusindika oluvannyuma gy'oba oseese nga bibalemeredde erisinaanibwa mu Arua, ng'eno gyeyali ng'omusawo eyali yeebuzibwako ku by'abaana, n'enddwadde ezibeera zibaluma. Wakati w'omwaka gwa 2009 ne 2010, yakolako mu ddwaliro ly'e Jinja gyebakusindika nga gyewasoose balemereddwa, ng'eno yaliyo ng'eyali yeebuzibwako ku by'abaana, ng'eddwadde zaabwe ezitera okubaluma, ng'oluvannyuma yakuzibwa nebamufuula eyali akulira eddwaliro, era nga y'akulira abeebuzibwako ku by'abaana n'eddwadde zaabwe. Yawerezaako nga ssentebe ow'akakiiko akadukanya etendekero erisomesa abasawo nadala banaansi, wamu n'abazaalisa.[4] Okuva mu mwezi ogusooka mu mwaka gwa 2011, okutuusa mu mwezi ogw'okutaano mu mwaka gwa 2011, yakolako ng'eyali akulira eddwaliro ly'e Mbarara ewasindikirwa abalwadde singa gyebabeera basoose okufuna obujanjabi balemererwa, eddwaliro erisomesa ery'etendekero ly'e Mbarara erya saayaansi ne tekinologiya. Okuva mu mwezi ogw'okutaano mu mwaka gwa 2011, okutuuka mu mwezi ogw'okutaano mu mwaka ogwa 2013, yeeyali minista wa Uganda avunaanyizibwa ku by'eby'obulamu.[5][6]

Ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Dr. Ondoa yemaama w'omwaka omu omulenzi ayitibwa Reuben Azi, eyazaalibwa mu mwaka gwa 1996. Mulokelo,ng'era ng'enaku z'omwezi 23, mu mwezi ogw'okuna, mu mwaka gwa 2011, omulabirizi Julius Peter Oyet yamutikira n'amufuula omusumba mu kanisa ya LifeLine Ministries esingaanibwa e Mbuya mu divizoni y'e Nakawa, mu Kampala, ekibuga kua Uganda ekikulu, ate ekisinga obunene mu ggwanga lyonna.[7] Ng'enaku z'omwezi 28, mu mwezi ogusooka ogw'omwaka gwa 2012, Dr. Christine Ondoa yafumbirwa omwami Thomas Udong P'ongona mu kanisa ya Church of the Resurrection, esinganibwa e Bugolobi, nebasembeza abagenyi baabwe ku kifo ekisanyukirwamu e Munyonyo, gyebategekera n'enkungaana ekya Speke Resort.

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)http://allafrica.com/stories/201403050068.html
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.facebook.com/notes/the-new-vision/comprehensive-list-of-new-cabinet-appointments-dropped-ministers/10150208384704078
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20140328010754/https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&id=25477&catid=75
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)http://dfcublog.wordpress.com/page/2
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150923195459/http://www.busiweek.com/index1.php?Ctp=2&pI=734&pLv=3&srI=68&spI=107&cI=10
  6. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.european-times.com/sector/healthcare/minister-christine-ondoa/
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20180708220805/http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1171058/-/view/printVersion/-/68g8ofz/-/index.html