Jump to content

Christine Tubo Nakwang

Bisangiddwa ku Wikipedia

 


Christine Nakwang Tubo n'era amanyiddwa nga Christine Tubo Nakwang munnayuganda, munnabyabufuzi nga mu kiseera kino ye mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Kaabong . Christine yali omu ku bakiise b’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu kulonda okwaddibwamu okwa 2021 okwaliwo kubanga Rose Lily Akello eyali omukyala akiikirira disitulikiti y’e Kaabong yasalawo okukiikirira disitulikiti y’e Karenga eyakutulwa ku disitulikiti y’e Kaabong. Yasunsulwa okuva ku Fadouta Ahmed ne Agnes Napio nga nabo baali wansi wa ttiketi ya NRM [1] . Nakwang yali avuaganya ne Judith Adyak Nalibe eyava mu lwokaano ku bigambibwa nti yafuna obuwagizi butono okuva mu kibiina kye . Obwetaavu bw’okutumbula obuweereza bw'ebyenjigiriza n’ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kaabong bwateekebwa ku lukalala ng’ebigendererwa ebikulu eby'omubaka wa palamenti omupya omulonde Christine Tubo Nakwang .

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Christine yazaalibwa nga 7 Omwezi ogwekkuminoogumu 1967 mu disitulikiti y’e Kaabong . Mubazi wa bitabo omutendeke. [2] Olugendo lwe olw'ebyenjigiriza yalutandikira ku ssomero lya Komukuny Girls, ku mutendera gwa pulayimale gye yafunira satifikeeti ey'ebibuuzo ebimaliriza omutendera gwa pulayimale mu 1982, olwo n’agenda mu ssomero lya siniya erya Kangole Girls Secondary School gye yafunira satifikeeti ey'ebibuuzo ebimaliriza omutendera gwa siniya eyokuna U.C.E mu 1986. Oluvannyuma, yeegatta ku ssomero lya siniya erya Moroto High school okusomerera satifikeeti emaliriza siniya eyomukaaga U.A.C.E mu 1989.Yeegatta ku yunivasite y'e Nkumba okufuna dipuloma eya waggulu mu kubala ebitabo mu 1992.Ku nkomerero yagenda ku yunivasite ya Kampala International University gye yafunira ddiguli esooka mu nzirukanya ya zi bbisinensi (BBA) mu 2006. [3]

Christine yatandika emirimu gye ng'omusomesa ku ssomero lya Komukuny boys primary School nga kwotadde ne n'erya siniya erya Kaabong senior Secondary School.Yafuuka akola ng’omumyuka w’omukulu w’essomero mu Kangole Girls SS mu 1990, okuva mu 1993 okutuuka mu 1994 yali mukwasi wa sente ku kitongole ky'obukatuliki ekigula ebintu eky'e Moroto . Mu 1995, yafuuka omukuumi wa sitoowa mu ofiisi ya Oxfam GB Kotido Field, olwo n’afuuka omuwanika ku kitongole kya Dodoth Agro-pastoralist development Organization, yagenda mu maasoneyeegatta ku kkampuni enzimbi eya Terra Firma Construction Company ng'addukanya emirimu [4] mu kiseera kye kimu ng'aweereza nga kansala wa LC5 owa disitulikiti y’e Kaabong okuva mu 1996 okutuuka mu 2000. Yafuuka omubaka wa palamenti owa disitulikiti y'e Kabong okuva mu 2001 okutuuka mu 2011. [5] Yafuuka mmemba ku kakiiko k’obuweereza aka disitulikiti y’e Kaabong mu 2012–2015 era n’addamu okufuuka omubaka wa paalamenti okuva mu Mwezi ogwomenda 2019 okutuusa 2021 [3]

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Christine yatandika olugendo lwe olw'ebyobufuzi nga kansala wa LC5 mu disitulikiti y'e Kaabong okuva mu 1996 okutuuka mu 2000. [3] Yawangula okulonda kwa 2006 okw'omubaka omukyala akiika owa palamenti kweyali avuganyizaamu ku bwa namunigina . Mu kulonda kwa 2006, Akello Lucy yawaabira Christine mu kkooti engeri gy'atali mumativu n’ebyava mu kulonda kwa 2006. Kino kyaleetera Christine okuteekebwa ebbali ku ky'okukubeera omubaka wa palamenti omukyala era ukuddamu okulonda ne kukolebwa okusinziira ku tteeka era Akello Lucy n’afuuka omubaka omukyala owa Palamenti owa disitulikiti y’e Kaabong mu 2017. Akello Lucy bwe yasalawo okukiikirira disitulikiti y'e Karenga, yaleka ekifo kyereere era kino kyavaako okutegeke okuddamu okulonda mu 2019 [6] Christine gye yasunsulibwa n'afuuka omubaka omukyala owa paalamenti. Yayongera okuvuganya ku kifo kye kimu mu kulonda okwakaggwa mu 2021 ng’omukwasi wa bendera ya NRM kweyavaamu ng’omuwanguzi. Mu kiseera kino aweereza ng'omubaka wa paalamwenti omukyala akiikirira disitulikiti y'e Kaabong .

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Race for Kaabong Woman Mp takes shape as FDC, NRM lock horns". VanguardNews. Retrieved 11 March 2021.
  2. "Nakwanga Christine Tubo". Nettech Reliable Media. Archived from the original on 31 July 2021. Retrieved 11 March 2021.
  3. "parliament of uganda Members of the 10th Parliament". parliament. Archived from the original on 29 April 2021. Retrieved 10 March 2021.
  4. "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-03-31.
  5. "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-03-31.
  6. "Kaabong District Woman MP crosses to newly created Karenga District". Daily Monitor. 20 July 2019. Retrieved 14 March 2021.
  7. cwelikhe (30 September 2019). "District Woman Member of Parliament, Kaabong". Electoral Commission (in Lungereza). Retrieved 14 March 2021.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0
  2. "Nakwanga Christine Tubo". Nettech Reliable Media. Archived from the original on 31 July 2021. Retrieved 11 March 2021.
  3. 1 2 3 "parliament of uganda Members of the 10th Parliament". parliament. Archived from the original on 29 April 2021. Retrieved 10 March 2021.
  4. "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-03-31.
  5. "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 14 March 2021.
  6. cwelikhe (30 September 2019). "District Woman Member of Parliament, Kaabong". Electoral Commission (in Lungereza). Retrieved 14 March 2021.