Cissy Kityo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Cissy Kityo Mutuluuza (née Cissy Kityo), Munnayuganda Musawo, mukugu mu kusoma ku ndwadde eziluma abantu era Musawo akola ku kunoonyereza ku ndwadde. Ye Dayilekita w'ettendekero lya Joint Clinical Research Centre, ettendekero lya Gavumenti ya Uganda eliko ku kunonyereza ku ndwadde, nga bakwasaganya bulwadde bwa Mukenenya n'akawuka akamuleeta ku nzijanjaba n'egeri y'obubukwatamu.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Dr. Kityo azaalibwa mu Disitulikiti y'e Mpigi, mu Masekkati ga Uganda. Yasomera ku masomero ga bulijjo mu Uganda n'emisomo gye egya A-Levo. Yasomera ku Yunivasite y'e Makerere mu ssomero ly'abasawo erya Makerere University School of Medicine, nga yasooka kutikkirwa Diguli mu Busawo n'okulongoosa (MBChB). Yagyonerezaako Diguli ey'okubiri mu Busawo (MMed), nga nayo yagifunira ku Makerere Yunivasite. Oluvanyuma, yafuna Diguli ey'okubiri mu bujanjabi bw'abantu eya Master of Public Health (MPH) okuva ku Johns Hopkins Bloomberg School of Public Health, mu Baltimore, Maryland, mu United States.[2]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Alina obumanyirivu kumpi bwa myaka 20 mu kisaawe ky'okujanjaba obulwadde bwa mukenenya, engeri y'okubujanjabamu, okwetangira n'okubunonyerezaako. Okutandiikira mu myaka gya 1992, y'omu kubakozesa enkola ya Antiretroviral Therapy (ART) eyeyambisibwa mu kujanjaba abalwadde ba mukenya mu Africa. Abadde omu kw'abo abaleeta ekiteeso ky'okutuusa obujanjabi eri abalwadde mu Uganda. Yali kitundu ku tiimu eyateekateeka era n'okuwandiika pulaani ya Uganda eyasooka ku ngeri y'okubunyisaamu n'okutuusa eddagala lya ARVs eri abalwadde.[3][4]

Dr. Kityo yaweereza ng'omukulu mu kunoonyereza Principal Researcher (PR), (Co-RP) oba ow'ebyokunonyereza ku ndwadde, ezibalukawo n'enkola ezigezesebwa mu kujanjaba endwadde ng'akuwuka akaleeta mukenenya aka HIV n'endwadde ezekuusa ku kko omuli Akafuba. Era abadde ku mwanjo nnyo mukwekenenya engeri y'okwekuumamu ensasaanya y'obulwadde bwa mukenenya n'emuteekateeka y'eddagala lya HIV. Essira nga yalissa mu bujjanjabi nga obujjanjabi obuyisibwamu abalwadde b'akawuka ka mukenenya (ART), okuvumbula eddagala elirwanyisa akawuka ka HIV, awaterekebwa eddagala n'enkola z'okunoonyereza.

Aweereza nga mmemba mu "AIDS Task Force (ATF)" mu Uganda era nga Sentebe w'akakiiko k'amalwaliro agabudabuda abalwadde ba mukenenya aka "AIDS Clinical Care Subcommittee" aka ATF. Dr. Kityo afulumiza obutabo okusinga mu bavubuka n'ebitabo ebikwata ku nsonga eyo emu.[5]

Obuvunanyizibwa obulala[kyusa | edit source]

Mu busobozi bwe nga Dayilekita wa JCRC, mmemba ku kakiiko k'aba Dayilekita abaddukanya ettendekero.[6]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

 

Lua error: Invalid configuration file.

  1. https://web.archive.org/web/20190528215722/http://earnest.cineca.org/jcrc.html
  2. https://www.eurekalert.org/pub_releases/2004-07/uoc--ata071304.php
  3. http://www.virology-education.com/cissy-kityo-mutuluuza-md/
  4. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Uganda-s-30-year-long-struggle-with-HIV-AIDS/691232-1633044-qsp6jdz/index.html
  5. https://pubmed.ncbi.nlm.nih.gov/?term=Kityo%20C%5BAuthor%5D&cauthor=true&cauthor_uid=26723018
  6. https://jcrc.org.ug/board-of-directors/