Clare Byarugaba
Clare Byarugaba MunnaUganda ali mu kibiina kya LGBT mu Kampala. Azze awakanya ekya gavumenti okulwanyisa enkola eyo.[1] Y'akwanyaganya ekibiina ekirwanirira eddembe ly'abantu n'etteeka erikikwatako ekya Civil Society Coalition on Human Rights and Constitutional Law.[2] Mu 2013, Byarugaba yatumibwa okutandikawo ekitongole kya PFLAG mu Kampala nga kyakuyamba abo abalina oluganda ku bantu bano mu ggwanga olwensonga y'omukulembeze weggwanga okuwera omuze gw'ebisiyaga.[1] Oluvannyuma lw'okuguwera, yanoonyezebwa bannamawulire nga baagala kufuna kifaananyi kye basobole okukiteeka mu mpapula ekyali kitiisatiisa obulamu bwe.[3] Mu 2014, Byarugaba yeegatta mu lukungaana Lw'abakyala munsi yonna olw'amawanga okwanjula ensonga ze ezikwata ku kiruubirirwa kye mu kitongole kye eky'okuwa abakyala eddoboozi.[3] Byarugaba era yali ne mu ttendekero lya Oak Institute ng'omukiise mu ssomo erikwata ku Ddembe Ly'abuntu mu nsi yonna eryali mu ssomero eriyitibwa Colby College.
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Byarugaba yazaalibwa era naakulira mu Bukiikaddyo bwa Uganda.[1] Oluvannyuma lwa Ppulezidenti Yoweri Museveni okuwera omuze guno mu Uganda, maama wa Byarugaba yamutiisatiisa okumusibya olw'okubeera nga aganza bakyala banne.[4]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 http://www.essence.com/2016/01/27/pride-prejudice-african-lgbt-activists-risking-lives-bring-tolerance
- ↑ http://www.advocate.com/news/world-news/2013/12/20/ugandan-lgbt-activists-we-have-stay-and-fight
- ↑ 3.0 3.1 http://www.thedailybeast.com/articles/2014/03/15/at-women-in-the-world-the-reality-of-uganda-s-brutal-gay-ban.html
- ↑ http://www.pinknews.co.uk/2014/03/16/ugandan-gay-rights-activist-people-call-daily-basis-say-give-five-reasons-shouldnt-kill/