Cleopatra Koheirwe
Cleopatra Koheirwe Munnayuganda, muzannyi wa filimu, muwandiisi, muyimbi era munnamawulire. Azannye ebifo by'anjawulo mu filimu ez'enjawulo ku telefayina z'abulijjo n'ez'ensi yonna.[1][2][3]
Cleopatra azannya Ebony mu kazannyo akapya ak'obutundu akawandiikibwa Nana Kagga nga katuumibwa Reflections[4] wamu ne banne abatutumufu mu Uganda nga Malaika Nnyanzi, Housen Mushema, Andrew Kyamagero, Prynce Joel Okuyo ne Gladys Oyenbot.[5]
Koheirwe yegatta ku StarTimes Uganda mu Gwomukaaga 2019 ng'akwasaganya eby'obulango.[6][7][8]
Emiimu gye
[kyusa | edit source]Ng'omuyimbi (okuva mu 2001)
[kyusa | edit source]Mu 2001, yegatta ku kibiina ky'abayimbi era nga bazinyi ekimanyikiddwa nga Obsessions[9] (nga y'akyusibwa n'efuuka Obsessions Africa) okutuusa mu Gwokusatu 2007 lwe yalekulira ekibiina olw'ebigendererwa bye.[10]
Mu 2010, yatandiika okukola ku ky'okuyimba yekka. Oluyimba lwe olw'asooka y'alutuuma Ngamba (nga mu lungereza luyitibwa "Tell me") oluyimba olw'ali lunyumya ku bulimba obuli mu mukwano. Oluyimba lwa yagalwa era lw'azanyibwa ku mikutu gya lediyo mu Uganda.[11]
Ng'omuweereza wa Lediyo(okuva mu 2003)
[kyusa | edit source]Mu 2013, ng'akyaweereza ku Radiocity 97Fm,[12] yafuuka muweereza ku pulogulaamu ya U-Request show. Yagenda mu kuwummulako olw'okuzaala mu Gwekkuminebiri 2013 n'agenda e Kenya.[13] Mu Gwekkumi 2016, Yaddamu obuweereza ku Radiocity ng'omu ku baweereza ba pulogulaamu ya Mid-Morning Magazine ne Peace Menya okutuuka ku nkomerero y'Ogwokutaano 2019 bwe yegatta ku StarTimes.
Telefayina
[kyusa | edit source]Ng'omulamzi wa Telefayina (2011–2013)
[kyusa | edit source]Mu Gwomwenda 2013, Cleopatra yegatta ku Flavia Tumusiime n'abalamuzi ba Tusker Project Fame judge ne Juliana Kanyomozi mu mpaka z'okusunsulamu eza Tusker Project Fame 6 mu Kampala.[14][15][16]
Muzannyi wa filimu
[kyusa | edit source]Filimu ne telefayina
[kyusa | edit source]Mu 2006 Cleopatra yali omu kubagezesebwa mu kuzannya mu The Last King of Scotland mu 2006 nga y'azannya nga Joy. Alabikidde mu filimu eziwera ne telefayina ez'abulijjo n'ezebulaaya nga bwawangula empaka ezimu. Azannye mu mizannyo nga M-Net TV series mu sizoni 1 ne 2 ng'omuyambi eri Nanziri Mayanja okuva mu 2008 okutuusa 2010, Be the Judge, akazannyo k'obutundu akazanyibwa ku TV za Kenya nga Lucy Mango mu 2010, Yogera (2011) ng'azannya mu bifo bibiri State Research Bureau (S.R.B) (2011) ng'azannya nga Faith Katushabe.[17]
Era yakolera ne mu firimu ey'obutundu Kona, eya M-Net TV series ng'azannya nga Jakki, omukubi w'ebikonde ayagala okuddamu okukwatagana ne kitaawe omutendeesi w'ebikonde. Yalabikira ne mu Sense8, firimu y'obutundu elagibwa ku Netflix Original Series nga yali azannya nga Maama.[18] Cleopatra ategekebwa okulabikirako mu filimu y'obutundu e dayilekitingibwa Nana Kagga Reflections as Ebony, ng'omu ku bazannyi abazannyanyira ku ludda olulungi.
Emirimu gye egy'okukubiriza abalala
[kyusa | edit source]Era mu 2012, yalondebwa aba Reach a Hand Uganda (RAHU), ekitongole ky'obwannakyewa ekigendererwa okutumbula omuvubuka, okwogera eri abavubuka mu masomero ag'enjawulo. Oluvanyuma lw'okumalirirza olutabalo mu masomero, RAHU y'amusiima nga 'omukubiriza wa wiiki'.[19] Cleopatra yali omu kubantu abamaanyi mu Reach a Hand Uganda (RAHU) era yakola nnyo okutuusa mu 2014[20] bwe yali alina okuwummulamu okusobola okukuza omwana.
Okutendekebwa
[kyusa | edit source]Mu 2010 bwe yali mu nteekateeka okukwata firimu ya CHANGES sizoni 2, Cleopatra n'abazannyi omwali Nick Mutuma, Pierra Makena, Nini Wacera, Patricia Kihoro[21] bayita mu kutendekebwa mu kuzannya mu kakoddyo ka Rob Mello, omukugu mu kutendeka abazannyi okuva mu situdiyo ya Rob Mello Studios Atlanta, USA.
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | edit source]Cleopatra ye mwana yekka eyazaalibwa Jocelyn Twinesanyu "Sanyu" Rwekikiga ne Anthony Abamwikirize Bateyo mu 1982. Taatawe yafa ng'atannazalibwa. Maamawe yafa ng'alina emyaka 15. Cleopatra alina omwana gwe yazaala mu 2014 ye ne muganziwe Lwanda Jawar, omuzannyi wa filimu mu Kenya, modo.[22] Yazaala omwanawe omuwala gwe yatuuma Aviana Twine Jawar nga 22 Ogusooka 2014.[23] Omwanawe y'amutuuma Twine nga yamubbula mu nnyina eyali Twinesanyu.[24]
Filimu ze y'azannya
[kyusa | edit source]Omwaka | Filimu/obuzannyo bw'obutundu obulagibwa ku TV | Ekifo kye y'azannya | Ebiwandiiko |
---|---|---|---|
2021 | Prestige | Eunice Samula Kintu | akazannyo k'obutundu akalagibwa ku Pearl Magic Prime |
Juniors Drama Club (JDC) | Teacher Gabriella | akazannyo k'obutundu akalagibwa ku TV series nga y'adayilekitingibwa Allan Manzi | |
2019 | Kyaddala | Rahu Counselor | A Reach a Hand Uganda and Emmanuel Ikubese Films elagibwa ku NBS |
2018 | #Family | Leah | Nabwiso Films TV series. |
Mela | Naava Katende | Savannah MOON Web Series | |
27 Guns | Alice Kaboyo | Natasha Museveni ye yali Dayilekita w'ayo | |
2017 | Reflections | Ebony | Filimu y'obutundu eri mu kutegekebwa nga y'adayilekitingibwa Nana Kagga Macpherson |
2016 | Sense8 | Mother | Filimu y'obutundu TV nga The Wachowskis ye Dayilekita |
2013 | Kona | Jakki | Kenyan telenovela [25] |
2011 | State Research Bureau | Faith Katushabe | Ng'omu ku bazannyi |
Yogera | Hope/ G | double lead | |
2010 | Be the Judge | Lucy Mango | Akazanno k'obutundu akalagibwa ku TV za Kenya |
2008-10 | Changes | Nanziri Mayanja | Filimu y'obutundu ezanyibwa ku Kenyan DSTV sizoni 1 & 2 Ng'omu ku bazannyi |
2006 | The Last King of Scotland | Joy | Ng'omu ku bazannyi |
Empaka z'eyavuganyamu n' Awaadi zeyafuna
[kyusa | edit source]Awaadi | ||||
---|---|---|---|---|
Omwaka | Awaadi | Ettuluba | Emirimu | Ebyavaamu |
2021 | Uganda Film Festival Awards | Omuzannyi asinze mu mizannyo gya TV | Prestige | |
2013 | RTV Awards | Omuweereza wa Lediyo omupya asinze | Radiocity FM | |
2013 | Nile Diaspora's International Film Festival (NDIFF) | Omuzannyi nantawunyikamu | Honoree Award | Y'asiimibwa ne Awaadi ya Industry Maverick Award |
2013 | Radio & Television Academy Awards (RTVAA) Uganda | Omuzannyo ogusinze mw'egyo egizannyibwa mu ttuntu mu lulimi olungereza | The Jam on Radiocity 97Fm | |
2013 | Buzz Teeniez Awards | Teeniez Role Model | ||
2012 | Super Talent Awards | Omuzannyi asinga ekitone | ||
2012 | Pearl International Film Festival Awards (PIFFA) Uganda | Omuzannyi asinze mu bazannyi abalala abatatambulirako muzannyo | State Research Bureau | |
2011 | Kalasha Film & Television Awards, Kenya | Omuzannyi asinze mu buzannyo bwa TV | Be the Judge |
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20170712194554/https://guru8.net/2017/05/uugandan-actress-cleopatra-koheirwe-stars-in-a-netflix-series/
- ↑ http://www.showbizuganda.com/cleopatra-koheirwe-stars-in-a-netflix-series/
- ↑ https://web.archive.org/web/20170827172409/http://chimpreports.com/entertainment/4399-meet-cleopatra-koheirwe-ugandas-most-talented-actress-writer-and-singer/
- ↑ https://web.archive.org/web/20170827174114/https://jump.ug/lifestyle-n-entertainment/cleopatra-koheirwe-actress-extraordinaire-jump-uganda
- ↑ http://www.doberre.com/behind-scenes-part-1-ugandan-tv-series-reflections-kick-off-filming
- ↑ https://chimpreports.com/radio-personality-cleopatra-lands-juicy-gig-at-startimes-uganda/
- ↑ http://www.howwebiz.ug/news/celebrity/23754/cleopatra-koheirwe-joins-startimes-uganda-as-pr-manager
- ↑ https://web.archive.org/web/20190710161137/https://www.secondopinion-pl.com/radio-city-queen-named-startimes-pr-manager/
- ↑ http://nairobiwire.com/2014/01/obssessions-girl-gets-baby.html
- ↑ http://www.satisfashionug.com/cleopatra-koheirwe-and-diana-kahunde-for-hellen-lukoma/
- ↑ https://web.archive.org/web/20171006025537/http://www.musicuganda.com/Cleo.html
- ↑ http://bigeye.ug/quitting-radio-radio-citys-cleopatra/
- ↑ http://bigeye.ug/quitting-radio-radio-citys-cleopatra/?yop_poll_tr_id=%5Byop_poll+id%3D&yop-poll-nonce-4_yp5ac3b89e20a3b=0570ffaff1
- ↑ http://www.ugandaonline.net/news/view/14228/tusker_project_fame_kampala_auditions_set
- ↑ http://bigeye.ug/cleopatra-koheirwe-unveils-her-prince-handsome/
- ↑ http://www.satisfashionug.com/cleopatra-to-keep-her-style-casual-smart-at-the-tpf-kampala-auditions/
- ↑ http://bigeye.ug/photo-cleopatra-koheirwes-daughter-makes-one/
- ↑ https://web.archive.org/web/20170712194554/https://guru8.net/2017/05/uugandan-actress-cleopatra-koheirwe-stars-in-a-netflix-series/
- ↑ https://reachahanduganda.wordpress.com/2012/04/17/dmentor-of-the-week-3/
- ↑ https://www.howwe.biz/CleopatraKoheirwe/biography
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-09-16. Retrieved 2024-04-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://bigeye.ug/cleopatra-reveals-that-she-is-pregnant/
- ↑ https://www.sde.co.ke/article/2000113898/top-radio-presenter-celebrates-her-bundle-of-joy
- ↑ http://www.showbizuganda.com/cleopatra-lwanda-welcome-baby-girl/
- ↑ https://web.archive.org/web/20160304073508/http://oops.ug/2014/03/12/cleopatra-kona-tv-series-best-thing-happened-career/
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Cleopatra Koheirwe at IMDb
- Cleopatra Koheirwe on Facebook