Kokeyini

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Cocaine)

Kokeyini Cocaine[[1]] kiragalalagala eky'amaanyi ekikyusaamu ku ntegeera n'amaanyi g'oyo aba akikozesezza okumala akaseera. Cocaine ono basinga kumunuusa bunuusa, okumumira nga bw'onaamira empeke, ssaako okumwekuba mu misuwa nga bakozesa akayiso. Era kyandiviiramu omuntu okukyusa mu ndaba y'ebintu, n'abiraba mu ngeri ya kifuulannenge, wamu n'okukyamuukirira.

Mu bubonero obulabwako mulimu omutima okutujjira okumukumu, okutuuyana wamu n'okugejja emmunye z'amaaso. Era singa omuntu akozesa eddagala lino mu bungi kyandiviirako emisinde gy'entambula y'omusaayi okweyongera oba ebbugumu ly'omubiri okweyongerera ddala.

Cocaine ono atandikirawo okukukwata era alwa ku mutwe gw'omuntu okumala ebbanga lya ddakiika eziri wakati w'ettaano n'ekyenda (5-90). Omuntu akozesa cocaine kyangu kya kumuviiramu ettamiiro, n'aba ng'amuyoya buli kiseera era ne kimubeerera kizibu okumuvaako. Okukozesa cocaine kyandiviirako omuntu okufuna ebirwadde ng'eky'omusaayi okulemererwa okutuuka ku bwongo (stroke), okufa kw'obutaffaali bw'omubiri, okulwala amawuggwe eri abo abafuuweeta omufuuweete, okufuna ebirwadde by'omusaayi ssaako okufa okw'ekikutuko okujjawo olw'okusirika kw'omutima okw'embagirawo.

Omuntu buli lw'atwala ekiseera ekiwanvu ng'akozesa cocaine, ayongera okukyuka mu mbeera ze eza bulijjo, era n'okuwulira ng'omubiri gwe munafunafu buli kiseera.

Cocaine akolebwa mu bikoola by'ekimera ekiyitibwa 'Coca plant' ekirimibwa ennyo mu ggwanga lya South Afrika, era likwata kyakubiri mu bidagaladagala ebisinga okukukusibwa n'okukozesebwa nga tebiri mu mateeka. Kyokka era kigambibwa nti cocaine akozesebwa abantu abali wakati w'obukadde ekkumi n'obuna n'abiri mwakamu mu nsi yonna.

Naye ekitongole ekifuga enkozesa y'ebiragalalagala kyayisa etteeka era n'ekiragira amawanga gonna okuvunaana abo abakozesa cocaine okwemalako agalowoozo oba okwesanyusaamu n'ebirala.