Concy Aciro
Concy Aciro Munnayuganda, munnabyabufuzi.
Nga wa myaka kkumi,Concy Aciro yawambibwa amagye ga Lord's Resistance Army mu Bukiikakkono bwa Uganda okutendekebwa ng'omulwanyi. Yasanga obuzibu obuwerako oluvanhyuma lw'okutolokayo. Aciro yatikkirwa okuva mu Yunivasite ya the International Development Department ey'e Birmingham University mu misomo gy'okukendeza obwavu n'enkulakulana mu 2007. Aciro yali omu kubayizi ya Yunivasite ya University of Birmingham mu 2008.[1][2][3]
Yatikirwa okuva mu University of Birmingham. Yafuuka Omubaka okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti mu Paalamenti ya Uganda. Aciro y'enyigira kwogerezeganya okultawo emirembe saako. Y'etaba mu kwogerezeganya okw'okuleetawo emirembe okwali wakati wa Gavumenti n'amagye g'abayeekera aga Lord's Resistance Army okumalawo olutalo olw'ali mu Bukiikakkono bwa Uganda. Aciro yakwasibwa obuvunanyizibwa okutandikawo liigi y'okusamba omupiira okuyamba okukwasaganya era n'okuzza abaana abaali bayingizibwa mu magye n'okuzimba obumu mu nkambi z'ababundabunda. Y'akwasaganya ebikozesebwa mu mupiira okuva Kilaabu z'emupiira ez'eBulaaya. Aciro yali mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Amuru mu Paalamenti ya Uganda.[4] Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi kya Forum for Democratic Change, ekyali mu kuwakanya Pulezidenti Yoweri Museveni.[5]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20090326082937/http://www.download.bham.ac.uk/idd/pdfs/annual_report_08.pdf
- ↑ https://web.archive.org/web/20141222022332/http://www.birmingham.ac.uk/schools/government-society/departments/international-development/alumni/profiles/postgraduate/2011-12/aciro-concy.aspx
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-05-03. Retrieved 2023-03-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20141222021900/http://www.acholitimes.com/index.php/acholi-news/2044-government-now-willing-to-engage-landowners-directly-on-proposed-madhivani-sugar-works-project
- ↑ https://books.google.com/books?id=S80iBQAAQBAJ&pg=PA265