Conservation Through Public Health

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Conservation Through Public Health (CTPH) kitongole ekitakola magoba ekisangibwa mu Uganda ne mu US ekikola ku nsonga z'okukuuma amazike n'ebisolo by'omunsiko ebirala okuva mu bantu okwewala okubalwaza eddwadde; okukendeeza obulwadde mu bantu n'emu bisolo by'awaka ebiri mu bitundu eby'etoloddwa ebibira; okwongera ku nkozesa ey'akizaala gumba ey'ekinnansi; n'okukozesa emikutu gy'empuliziganya okukulakulanya embeera z'abantu n'okusomesa abantu ku butonde bw'ensi.[1] Ky'atandikibwawo Gladys Kalema-Zikusoka, Lawrence Zikusoka, ne Stephen Rubanga mu 2002. Kirina essira ery'enjawulo ku mazike agali mu matigga mountain gorilla era balina enteekateeka mu Kuumiro ly'ebisolo erya Bwindi ne Queen Elizabeth National Park mu Uganda, wamu n'okukolera awamu mu makungaaniro g'ebisolo n'okwetoloola okutuuka mu Congo ne Rwanda.

Ekigendererwa eky'ewala[kyusa | edit source]

Lawrence Zikusoka ne Gladys Kalema-Zikusoka aba CTPH, ku Offiisi z'ekitebe ky'abwe mu Kampala.

Ekigendererwa ky'ekitongole kya Conservation Through Public Health's kiri kukuuma mazike ng'abyita mu kusobozesa abantu, ebisolo by'omunsiko n'ebyawaka okubeerawo nga bayita mu kukyusa eby'obulamu by'abantu okwetoloola ebifo byonna ebikuumibwa mu Africa.[1]

Obukulembeze[kyusa | edit source]

Dr.Gladys Kalema-Zikusoka ye mutandiisi era CEO wa CTPH. Lawrence Zikusoka mutandiisi era Dayilekita w'amawulire, eby'empuliziganya, ne tekinologiya. Stephen Rubanga y'emutandiisi ow'okusatu era omukugu akulembera abasawo b'ebisolo.[2]

Pulojekiti z'ebakoze n'ebyebatuuseeko[kyusa | edit source]

Pulojekiti esaatu enkulu eza CTPH ziri 1. okwekenenya eby'obulamu by'ebisolo by'omunsiko, nga mulimu okwekennenya amazike obutakwatibwa ndwadde eziva ku bantu n'obujjanjabi obusoboka; 2. okutereeza mu by'obulamu by'abantu n'enkola y'ekizaala gumba mu bitundu eby'etoloddwa amazike okukuuma amazike okuva eri endwadde n'okuganyurwa kw'ebitundu; ne 3. Okumanyisa abantu, eby'enjigiriza ne pulojekiti z'eby'empuliziganya mu bitundu eby'ali wansi mu by'enkulakulana ekitongole kya CTPH w'ekigenderera okuganyuza abantu b'omubitundu ebyo.[1] Emirimu gy'ekitongole kino gy'ogeddwako mu alipoota ya PBS,[3] ku USAID,[4] era n'ebilagibwa ku Woodrow Wilson Center. 

CTPH efunye awaadi ez'enjawulo olw'ebyo by'ekituseeko, omuli, Stockholm Challenge Award, 2006;[5] era omuwangizi wa Awaadi ya, World Summit Award, okuleetawo eby'empuliziganya mu bitundu bye Bwindi, 2007;[6] ne Skal Foundation Kampala Chapter 611 okutumbula emirimu egikuuma obutonde mu Uganda, 2007.[7] Omutandisi w'ekitongole kya CTPH CEO Gladys Kalema-Zikusoka ayitiddwa mu Awaadi eziwerako olw'ebyo byatuseeko wamu ne CTPH.[8]

Awaadi z'afunye[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.