Credonia Mwerinde
Credonia Mwerinde (yazaalibwa mu 1952) ye yali akulira eddiini eyatuumibwa Movement for the Restoration of the Ten Commandments of God, ekibiina ky'abakkiriza eky'eyawula ku nzikiriza ya Roman Catholic Church mu Uganda. Nga tannaba kutandikawo kisinde kino, yali atunda dduuka, musogozi w'amubisi,[1] era omutunzi w'akaboozi k'ekikulu.[2] Mwerinde era yali mmemba w'ekibiina ky'abakkiririza mu Virgin Mary. Ye ne ba mmemba abalala babiri baatukirira Joseph Kibweteere mu 1989, n'ebamugamba nti Bikira Maria yali amulagidde okubawasa.[3] Kibweteere y'akkiriza, nti y'alabikirwa Biikira Maria okumpi n'amaka ge emyaka etaano emabega. Mwerinde ne Kibweteere baatandiikawo ekisinde mu 1989.[3]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Mwerinde yali omu ku basatu abakulembera ekibiina ky'abakkiriza bano omwali Kibweteere, ne Dominic Kataribaabo, Omusumba eyali yagobebwa okuva mu Keleziya. Wabula Paul Ikazire, yali omukulembeze w'eddiini eno ng'oluvannyuma yaddayo mu Keleziya, yamunyonyola ng'owamaanyi mu kisinde ekyo. Yagamba nti, "Enkiiko z'akubirizibwanga Sister Credonia, ng'eyali akulembera ekibiina. Kibwetere yalinga munnaddiini waabwe okusobola okwolesa obuyinza okuva eri abagoberezi abalala okukwasaganya enzikiriza yaabwe."[4] Mwerinde ye yali ensibuko y'ebyali biteberezebwa okubaawo mu kusaanyawo ensi yonna era n'okulangirira nti okununulibwa kwali kusangibwa mu bubaka bwa Bikira Maria.
Ekisinde kyakulira ku sipiidi y'awaggulu era nga abantu baali bateeberezebwa okubeera wakati wa 5,000 ne 6,000.Abapaatiri Abakatoliki abaali bamanyifu era ab'amaanyi n'abanaani babegattako era ne bakola nga abasomesa b'enzikiriza. Okusanyizibwawo kw'ensi kwali kuteeberezabwa okubaawo mu myaka lukumi oluvannyuma lw'okuzalibwa kwa Kristo. Oluvanyuma lw'enzikiriza eno okugobebwa mu Rwashamaire, yaddizibwa mu kifo kya kitaawe wa Mwerinde mu Disitulikiti y'e Kanungu. Nga omwaka 2000 gunateera okutuuka, ba mmeba b'enzikiriza eno baatunda eby'obugagga byabwe amagoba ne bagazza eri obukulembeze bw'ekibiina.
Ensi bw'etaakomekkerera nga 1 Ogusooka, w'abalukawo akasambatuko mu kisinde. Ba memba batandika okubuuza ebibuuzo era ne batandika okubanja okuddizibwa ssente n'ebintu byabwe. Abanonyerza ba Poliisi bakkiriza nti obukulembeze bw'ekibiina kino naddala Mwerinde, bwatandika okusaanyawo abagoberezi baabwe ng'abatandikira ku kusaanyawo essinzizo ly'abwe erya Kanangu nga 17 Ogwokusatu 2000 mu muliro ogw'atta abantu 530 abaali munda. Emirambo kikumi gyasangibwa mu bifo by'ekibiina okwetoloola Obukiikaddyobwobugwanjuba bwa Uganda. Ekikkirizibwa nga okutemulwa kw'ekibiina kyonna, poliisi oluvannyuma yakirangirira nti kyali kinoonyerezaako ng'obutemu.[4]
Okubulawo kwe n'ebyava mw'ekyo kye yakola
[kyusa | kolera mu edit source]Mwerinde asuubirizibwa okuba nga yasimatuka nabbambula w'omuliro eyakwata essinzizo. Ab'obuyinza mu Uganda bakkiriza nti yava mu lugya lw'enzikiriza eno e Kanangu mu saawa z'okumakya nga 17 Ogwokusatu. Mu Gwokuna 2000, poliisi yafulumya walanti y'ensi yonna okumukwata nga yekuusa ku butemu bw'ekibiina kye kyonna.
Mu Gwomwenda 2011, Mwerinde n'abalabi b'ebiseera ebyomumaaso abatebereza ennaku z'omwezi enkyamu ez'enkomerero y'ensi baweebwa ekirabo ekya Ig Nobel Prize "olw'okusomesa ensi okubeera abegendereza nga bakola ebibalo".[5][6]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.nytimes.com/2000/04/02/world/uganda-cult-s-mystique-finally-turned-deadly.html
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs namedPREACH - 1 2 https://www.nytimes.com/2000/03/27/world/fateful-meeting-led-to-founding-of-cult-in-uganda.html
- 1 2 The power behind the cult The Telegraph April 2, 2000
- ↑ http://www.boston.com/news/local/massachusetts/articles/2011/09/29/winners_of_the_2011_ig_nobel_awards/?rss_id=Boston.com+--+Massachusetts+news
- ↑ https://www.reuters.com/article/us-nobel-spoof/wasabi-alarm-beetle-sex-win-ig-nobel-spoof-prizes-idUSTRE78S6VP20110930
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | kolera mu edit source]- "Religion That Kills", ABC News, 14 February 2001 News story about the phenomenon of cults in Uganda
- Seven Years Since the Kanungu Massacre
- Movement for the Restoration of the Ten Commandments of God.
- BBC Report
- Religious Tolerance.org on the Movement Archived 2007-06-09 at the Wayback Machine
Template:Movement for the Restoration of the Ten Commandments of God