Crystal Newman

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Crystal Newman (yazaalibwa Angela Newman mu Nairobi) Munnayuganda, muweereza wa ku telefayina ne ladiyo. Newman yaweereza pulogulaamu ya The Drive ne Hit Selector ku 88.2 Sanyu FM, esangibwa mu Kampala, Uganda.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Newman yawummula emirimu gye egy'oku ladiyo oluvanyuma lw'emyaka 18 mu Gwomunaana 2018.[2] Yatwalibwa ng'omu ku bali balina amaloboozi agamanyikiddwa mu Uganda.[3]

Mu Gwomunaana–Ogwomwenda 2018, Newman ye yali omuteesiteesi w'ebikujjuko bya Uganda Festival 2018 mu Washington DC.[4]

Newman yaweereza sizoni esooka n'eyokubiri mu pulogulaamu ya ttivi eya NSSF Friends with Benefits ng'ali wamu ne Gaetano Kagwa mu 2015 ne 2017.[5][6]

Obulamu bwe obw'omunda[kyusa | edit source]

Bazadde ba Newman baali Sande Newman, Munnayuganda omubonzi w'ennyonyi ne Alex Newman, eyali Kaminsona w'abakozi b'ekibiina ky'amawanga amagatte eky'ababundabunda ekya United Nations High Commissioner for Refugees.[7] Yali omu ku bawala abana mu famuira yaabwe.[8]

Newman yatikkirwa Diguli mu mawulire eya Bachelor of Science in mass communications ku Ssettendekero wa Makerere University.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]