Jump to content

Damalie Nagitta-Musoke

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Esther Damalie Nagitta-Musoke munabyanjigiriza omunayuganda eyawerezaako ng'akulira era eyali adukanya esomero ly'amateeka ku setendekero ly'e Makerere ku yunivasite, mu Uganda, okumala emyaka 5, okuviira ddala mu mwaka gwa 2012 okutuusa mu mwaka gw 2017.Yadira okukenkufu Ben Twinomugisha eyali akola mu kifo kino, wabula nga ne Nagitta, Dr. Christopher Mbaziira yeeyamudira mu bigere oluvannyuma lw'okuvaawo.[1] Akola ng'omu ku bawagira ekibeera kivudde mukusalawo kwa kooti y'amateeka mu Uganda She is also an Advocate of the Courts of Judicature in Uganda, ng'era munywanyi mu busenge bw'abanamateeka obwa kampuni ya Mubiru-Musoke, Musisi & Co. Advocates.[2]

Eby'enjigiriza

[kyusa | edit source]

Naggita-Musoke yafuna diguli mu by'amateeka okuva ku setendekero ly'e Makerere yunivasite n'ebitiibwa, nga diguli ye ey'okubiri mu mateeka baagimutikira kutendekero lya yunivasite y'e Nottingham. Yafuna diguli ye ey'okusatu okuva mu somero eriyigiriza amateeka erya yunivaste y'omu Winsconsin, ng'eno gyeyakolera ekiwandiiko ekiwanvu ku by'amateeka agafuga eddembe ly'abantu nadala abalina obulemu mu mibiri mu bifo by'ebyalo mu Uganda.[3] Alina ne satifikeeti mu by'eddembe ly'abantu eri abakazi gyeyafunira kutendekero erisomesa ku by'emirembe erya European University Centre for peace studies, nga lisingaanibwa mu kibuga Stadtschlaining, mu ggwanga lya Austria, n'atikirwa diguli mu by'okwenyigira mu by'amateeka, gyeyatikirwa okuva kutendekero eriyigiriza eby'amateeka mu Kampala, ng'eno yeeyali edirira gyeyali yasooka okufuna.[4]

Ebimukwatako mu by'enjigiriza

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1993, Nagitta-Musoke yeegata ku somero ly'amateeka ery'okutendeko lya yunivasite y'e Makerere, mu kitongole ky'amateeka n'amagezi oba ensibuko y'amateeka. Asomesa, era alina n'okwagala mu by'amateeka ng'ensi yonna agavuga eddembe ly'abantu, eteeka ly'ensi erifuga eby'amaguzi, nadala ku by'enfuna, n'eby'okwerinda, n'amateeka gw'obukakafu, ne bizineensiu oba ekitongole ekiwereza ku lwa bizineensi endala.[4] Okuwandiika kwe kubadde nnyo mu bintu ebikwatagana ku by'eddembe ly'abantu, nadala edembe ly'abakazi mu bitundu ebyatataganyizibwa n'abantu abaliko obulemu nga bali mu bifo eby'obulabe. Naggitta-Musoke abadde omukenkufu abadde akyala mu kifo gyensi yonna gyebayigiririza eby'amateeka mutendekero lya yunivasite y'e Wisconsin, mu Madison.[2] Okuva mu mwaka gwa 2012, abadde akulira esomero eriyigiriza eby'amateeka ku setendekero ly'e Makerere ku yunivasite. Esaawa y'omu kubali ku kakiiko akavunaanyizibwa ku bifulumizibwa akakwasaganya eby'amateeka,n'okumannya ensibuko yaago mu katabo k'obumubanjuba bwa Afrika ku by'eddembe, n'emirembe gy'abantu.[5]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Bimu kubyafulumiza

[kyusa | edit source]
  • (34–65). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  • (268–273). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  • (256–282). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  •  
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20140103033110/http://law.mak.ac.ug/article/new-dean-school-law
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help)http://africa.wisc.edu/?page_id=4444
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171222053141/http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=30042:-implementation-gap-denying-pwds-education&catid=85:education
  4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150405150051/http://www.law.mak.ac.ug/users/dnaggita
  5. {{cite journal}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20140216175812/http://amor.cms.hu-berlin.de/~engleeri/ats/17EAfrJPeace%26HumRts264.htm