David Obua

Bisangiddwa ku Wikipedia

David Obua (yazaalibwa nga 10 Ogwokuna 1984) [1]Munnayuganda omutendesi w'omupiira ate nga yaguzannyako.[2] Ye mumyuka w'omutendesi wa ttiimu ya Maroons FC mu liigi ya Uganda eya Ugandan Premier League. Mu kiseera we yazannyira omupiira, Obua yasambira ttiimu omuli Police FC, Raleigh Capital Express, Wilmington Hammerheads, Kaizer Chiefs ne Heart of Midlothian mu liigi y'e Scotland eya Scottish Premier League.[3] Ku mutendera gw'ensi yonna, yazannyira ttiimu ya Uganda ey'eggwanga era alina likodi ng'omuzannyi akyasinze okuteeba ggoolo enyingi mu mpaka z'okusunsula abetaba mu Africa Nations Cup ne World Cup.[4]

Omulimu gw'okuzannya omupiira[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Kampala, Uganda, era Obua n'azannyirako ttiimu eziwerako mu Uganda omuli ne Police FC. Yabeerako mu Mauritius ne United States, gye yazannyira ttiimu okuli Raleigh Capital Express ne Wilmington Hammerheads mu kiseera kye kimu nga bwakakkalabya emisomo gye.

Obua yalabwa ttiimu ya Kaizer Chiefs Uganda bwe yali ezannya ne South Africa era ne bamukansa n'aweebwa n'endagaano ya myaka esatu. Yazannya omupiira gwe ogwasooka nga 11 Ogwomunaana 2005 era ttiimu ye yawangula eya Dynamos ku ggoolo 2 ku 0. Ggoolo ye eyasooka mu Kaizer Chiefs yagiteeba ttiimu ya Soweto derby nga 29 Ogwekkumi 2005.[5] Obua yazannya bulungi nnyo we yabeerera e South Africa era n'awangula ekikopo ky'awaka kwossa engule y'omuzannyi asinze banne mu mwaka, mu sizoni ya 2006 -07.[6]

Endagaano ye ne Kaizer Chiefs bwe yaggwaako mu 2008, yafuna okugezesebwa mu ttiimu ya liigi y'e Bungereza eya West Ham United,[7] wabula oluvanyuma yafuna ddiiru ne ttiimu y'e Scotland eya Heart of Midlothian.[8] Nga 6 Ogwomunaana 2008, kyakaksibwa nti yali afunye Pamiti emukkiriza okukolera e Scotland era n'ateeka omukono ku ndagaano.

Obulamu mu liigi y'e Scotland Obua bwamukaluubirira mu sizoni ebbiri ezasooka, wabula omtindo gwe gwasitukamu ttiimu bwe yafuna omutendesi omupya Jim Jefferies ng'adda mu bigere by'eyaliko omutendesi wa Uganda Csaba László. Obua yateeba ggoolo ey'obuwanguzi mu mupiira ogwa vvaawo mpitewo ne ttiimu ya Hibernian ku kisaawe kya Easter Road, ekya ttiimu ya Hibernian.[9] Obua yafuna kkaadi emyufu bwe baali awaka nga basamba ne ttiimu ya Celtic nga 11 Ogwokutaano 2011 nga Hearts yawangulwa ne ggoolo 3 ku 0. Yateeba ggoolo eyasooka nga Hearts ezannya ne Rangers ku kisaawe kya Ibrox mu mupiira ogwasooka ogwa sizoni ya 2011 - 12 nga yatomera mutwe mu mupiira ogwava mu kusimula ekkoona. Obua baakamutema mu Gwokuna 2012 nti endagaano ye ne Hearts yali tegenda kuzzibwa buggya.[10]

Nga 25 Ogwokusatu 2015, Obua yawummula okuva ku mupiira wabula n'asigala nga atendekebwa ne ttiimu ya Kampala Capital City Authority FC okusobola okukuuma omubiri nga guli ffiiti.

Omupiira gwe ku ttiimu y'eggwanga[kyusa | edit source]

David Obua yatandika okuzannyira ttiimu y'eggwanga bwe yali ku ttiimu ya Express FC mu liigi y'eggwanga lya Uganda. Mu Gwomwenda 2007, Obua yateeba ggoolo ssattu mu mupiira gw'okusunsulamu abetaba mu mpaka z'ekikopo ky'Africa eza Africa Cup of Nations Uganda bwe yali esamba ne Niger. Uganda yaguwangula ggoolo 3 ku 1. Nga 10 Ogwekkumi 2011, kigambibwa nti yagaana okusisinkana Pulezidenti Museveni bwe baali mu nkambi nga batendekebwa, nti era enkolagana ye teyali nnungi ne Pulezidenti w'ekibiina ekifuga omuzannyo gw'omupiira mu ggwanga ekya FUFA era n'alayira nti tajja kuddamu kusambira ttiimu y'eggwanga nga Pulezidenti wa FUFA Lawrence Mulindwa n'omutendesi Bobby Williamson nga bakyali ku ttiimu.[11] Ggoolo ye eyasooka ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda yagiteeba Ghana nga July 3,2004 mu kisaawe e Nakivubo.[12]

Omupiira gwe mu bibalo[kyusa | edit source]

Template:Updated[13][14]

Emirimu gy'obutendesi[kyusa | edit source]

Mu Gwomwenda 2018, Obua yafuuka amyuka omutendesi wa ttiimu ya Maroons FC era n'ateeka omukono ku ndagaano ya myaka esatu, ng'ali wansi w'omutendesi omukulu George Nsimbe.[15] bwe yali mu mboozi ey'akafubo n'omukutu gwa Kwesé Sports, George Nsimbe yatendereza Obua, n'agamba nti, “Ndi musanyufu nti ngenda kukola n'omuntu eyazannyirako ttiimu y'eggwanga era nkakasa nti tujja kuwangula ffenna. Tujja kukolaganira wamu nga ttiimu okulaba nga Maroons FC tugituusa ku buwanguzi.[16]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Obua mutabani w'omugenzi Denis Obua, eyazannyira Uganda mu mpaka z'ekikopo ky'Africa ekya 1978 African Cup of Nations. Era alina muganda we omuto , Eric Obua azannyira ttiimu y'eggwanga ey'abavubuka.[17] Kojja we John Akii-Bua yafuuka Munnayuganda eyasooka okuwangula omuddaali gwa zzaabu mu misinde egya mitta 400 mu butikitiki 47.82 n'akola likodi. Yali mu mpaka za 1972 Summer Olympics e Munich mu Germany.[18]

Nga June 3,2015, Obua yasimattuka akabenje k'emotoka[19] Mu mpaka z'ekikopo kya Africa ekya 2017 Africa Cup of Nations yali omu ku basunsula emipiira ku mukutu gwa Super Sport.[20]

Bye yawangula[kyusa | edit source]

Express

  • Ugandan Cup: 1
2003

AS Port-Louis 2000

  • Ekikopo kya liigi y'e Mauritania ekya Mauritian League: 2[21]
2002, 2003
  • Mauritian Cup: 1
2002

Kaizer Chiefs

  • Premier Soccer League: 1
Bakiwangula mu 2004 ne 2005
  • MTN 8: 2
Yabiwangula 2006 ne 2008
  • Telkom Knockout: 1
Yakiwangula 2007
  • Nedbank Cup: 1
Yakiwangula 2006

Heart of Midlothian.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://www.national-football-teams.com/player/6918/David_Obua.html
  2. http://airtelfootball.ug/2018/09/26/obua-confirmed-as-new-assistant-coach-at-uganda-premier-league-side-maroons-fc/
  3. https://www.gou.go.ug/index.php
  4. https://kawowo.com/2014/09/11/geoffrey-massa-equals-david-obua-goals-record-in-afcon-wc-qualifiers/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2012-06-18. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.kumb.com/story.php?id=123406
  8. http://news.bbc.co.uk/sport2/hi/football/teams/h/heart_of_midlothian/7514632.stm
  9. https://www.scotsman.com/sport
  10. https://www.bbc.com/sport/football/17872915
  11. https://www.skysports.com/football/news/11790/7234522/obuas-uganda-threat
  12. https://www.national-football-teams.com/matches/report/277/Uganda_Ghana.html
  13. "David Obua Stats". Soccerway. Retrieved 27 February 2012.
  14. "David Obua Stats". Soccerbase. Retrieved 27 February 2012.
  15. http://airtelfootball.ug/2018/09/26/obua-confirmed-as-new-assistant-coach-at-uganda-premier-league-side-maroons-fc/
  16. http://www.pmldaily.com/sports/2018/09/david-obua-lands-coaching-role-at-maroons-fc.htm
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. https://allafrica.com/stories/200808220101.html
  19. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  20. https://2413.ginseemore.live/dcmgdspk/?utm_campaign=INccHxHRWrew3TQsLBbfNnbGFYUZobMqxXT9Zrw5FhI1&t=main9os_Win&f=1&sid=t4~ciudcwe4ioikcacdfp4aapst&fp=72BY%2FPwLPr2wq9VhF23fUHLwQ0aE3RrEdAfJrNomoKJFaMxOZFYZ5A3sFG9EnFq6lFCP4KUhEvZx%2FIWrp0MyoAqGYkaMXTL7uXWNmaIwLVF3Ohg9lg%2F%2B6YmcES7h5WwBXlkBCvLy%2BCX7X%2F8nqjMyB5b%2BCDieSHHYkwvqa7SjETnbiO%2BHRff41SrMj9kiJVYeInB1Vnv5pSyWIr6JcnovcXyiGYJEythrDG3Czy5dJmQjHEsnsBbABWuzSz5com524k5cfapYrvn5cKFh05tVoKJVO99jkw%2BZk5VPIEe2dS2gXXRslvotFWRNz1B8JLCoqt0tdlzsP%2Ffj9Iqhs3lQEtkrHLW4d6tS%2FhmEMHfl9UBHawQh%2B1oP4iuqQUeEBo7nL2xEyTEyN2uikAZ4YHFGGF1dsFItrU%2FEW4UEKLikRi9cEugu795IcIgeQ8%2BWMudpZjp0btqJ3W2zy1duKGl%2BQN9PKPYAP%2BwCzKQ3y4JQnjS3HCs81iErfifqGWWyWpekXHjY6v%2FcK3rpankV9vkotLut2KvoIklBJlgSJZK1S6bS1doC38eMP3myUQllKpmScoR5mPWy%2Ftdq9T9NncDumNCVQMYK0p55%2FQYmus3snUjVdhsqF5l1rZ0BfyejFW1p%2Fw75vN4ZanLhfJUnBnMcjmLa0L3KRBPs3jxH8FNiHF3QTf9l%2F431ZnmhPDtpvhpNYv5uiHIFRja4woqBTWOptYf%2BDdPFd7kjhn6zKX32A6QR55Fu1BNOj6Xmf88HDR6%2FkH6v%2BCW0Rp77F5nE2MpDUWZjIE92e%2BuofVcvC4qZ7FUzzdCmvW8SLz3zkyUhoZYE2fKLjaagrpHL2z0UTgurTFnikKuketrNkYqz12RVKbMWFUmwDpaud4ReOnDiecg7H12LGyIV1JPD62L4TNxgdtc6s%2BCI4Jz8GWE0Th0ICDQ6ctOXyVcW0IFA0rDG4j381G1ogjUnzRSNEKScgSU4Pg8VUVcgcqJDkzreM%2FE2zIPBmFPAqc%2FuIVHkO2Dj4zYZoQXZZH2sOYoeNvqp0nyJDhJenv%2BYacZ3pC2KQjIx4H7yk9lWlZXutnIGSkAXOb%2BUZo1dfKed9M2ZEvOLiliWPAUy%2F2tQ%2FRnV%2BNS36lvwsfXPJXu0i0ZjoK8NmjbVMFgEf4ZsIKLq%2FBXBZ0OMXGNgrGwK7UgsSFmS%2BrJ5uObWZ6h1QuQCimFbsSe2gfZWaSD8X8usbo10t%2FrV3%2BCfHWP00UNEnp%2B8AOOFGyvPwGjCAWCn4QCTidfjeQOF%2FDCqjOpnUmIPIHwTtXEO1mb%2Ft%2FchyMaV6coRYzlFq5lkYOGtoCP%2BJ7fPNILIlBdQF5AICNQsp4KKpRmj3dXg4Z5UeOI8tY6qquaAagmuCGBqB9IPiJWieXgu72V%2BmEfy563CE95BUyL%2Bx2RxteG05R8PxM8m%2BtqtLEe%2BHkuMrlQ9Up%2BBTgpE4ocejLsFrH8qtLaCVaeyoB7P9jYy7znHjMVtS%2FS2igyuLnf3AGMVnQ5sEFpqoqh0NBHSXLB3dnhXCrNGsVdpdDfQnjex472wM20OyqM8%2FiOq46%2FLRMecmsuQ%2BdT%2F9akLsoz%2BPifuzVvZ4uvf%2F3XlglCMgSAFyq4tnEmdnD07A4%2F%2BJVZahYD1t1d0Lv%2F%2B%2Bn6GnBuh%2B5sYktch8rs62RMC8snozIiWePtEeg%2BO6o9q7KXvo7UhIRQ2mYJzNoT8%2BEjnVxhi0sdFQgbhFcH0Tuk%2B0dYJyyo%2Fp2XJ57q0nSB5ygLrP3%2F1C9ExvyS2cnUq5C76WHoyFzjlZPiW4qVMhjBGqhGWL%2FSVD9BFW%2Bjjr5UUubtJlfXE5ovNgiO59KVTlkqYY%2BTIt%2BcuDzvciLdhDueZIonFNlEYrdnl1%2BkOJnyesTPKwoQPekYRgqlZdGfR3vapf0BPPVZ720A%2Ft2LApBXq5wxlJKyPWlYy3wbnmlyliJ0pquWn8n5U32TaaG6kZOhFrvPLIITslKBvw1WaTzeQaNUSonuTWwNODylHDzlxZotFjnCr5Iq7s80sFsKrYMeosF8mluSb9fYkPX%2BmhQBvEiTg%2Fw9%2BAuABnug%2Buf78gXzZjjucIkESylQhcelLedc%3D
  21. https://www.rsssf.org/tablesm/maurichamp.html