David Sejusa
General David Sejusa yazaalibwa nga 13 Ogwekuminoogumu mu 1954[1] Ono era amanyiddwa nga David Tinyefuza munamateeka munna Uganda, munamaggye eyaganyukira ku ddaala lya genero mu mwaka 2022.[2] Sejusa yawereza eggwanga lye mu buvunannyizibwa obwenjawulo okuli okuba omukwanaganya w'ensonga zonna ezikwatagana n'obukesi (2005-2013), okuba omuwabuzi wa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni avunaanyizibwa ku nsoga z'ekijaasi 2013, mmemba wakakiiko ak'okuntiko ak'eggye lya UPDF,[3] omubaka wa paalamenti akiikirira amaggye g'eggwanga aga Uganda People's Defence Force. Yafunamu obutakaanye ne Museveni n'atandikawo ekibiina kya Freedom and Unity Front bweyali mubuwangaguse mu ggwanga lya Bugereza oluvannyuma lw'okubeera nga baali bamulumiriza olw'okubeera nga yali ayagala kutandikawo olutalo mu ggwanga nga lwagala kugyako gavumenti eyali mubuyinza[4] ng'eno yali alina enteekateeka ez'okumamulako gavumenti ya Museveni.[5]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Tinyefuza yasomerako ku Nyakasura High School. Alina Diguli mu By'okubeera nga yakuguka mu by'amateeka wamu ne Diguli ey'okubiri mu by'Amateeka okuva kutendekero ly'e Makerere University. Yasomerako ne kutendekero eribangula banamateeka eriyitibwa Law Development Centre gyeyafunira dipulooma mu by'okwenyigira mu by'amateeka, gyeyalekulira okugenda ku by'okutendekebwa mu by'abanamaggye e Tanzania. Yaliko omukulembezze w'abayizi kutendekero ly'e Makerere University. Yafuna empapula eziraga nga bweyakuguka mu by'okuduumira amaggye gawagulu okuva kutendekero ly'amaggye eriyitibwa Uganda Senior Command and Staff College erisinganibwa e Kimaka mu Jinja mu Uganda. Alina ne satifikeeti mu by'okumannya ebya tekinologiya gyeyafuna okuva mutendekero erimu mu Canada. Yasomerako ne kutendekero eribangula abasirikale ba poliisi mu Tanzania wamu ne koosi y'abalina obukugu mu kuduumira.[6]
Yawasa Juliet Tinyefuza.[6]
Okukyusa erinya
[kyusa | edit source]Nga 17 Ogwokubiri mu 2012, David Tinyefuza mubutongole yakyusa erinya lye nebatandika okumuyita David Sejusa. Yagamba nti Sejusa linya lya famire ng'era lino lisinganibwa kuzimu kumpapula zze ez'obuyigirize, wabula nga yali yalesonyiwa mu biseera byeyali musomero ng'akyali ku ddaala lya sekondale, wabula nga yali akyasobola okuddamu okulikozesa nga buli omu bwegwali ewaabwe nga webaali bamuyita. Yayongerako: "Tewali kinkyusa kuddamu kweyita linya lyange eryaddala. Bantu nga mwe benkola nabo abatamannyi nti lino lyali linya lyange, wabula ng'akululiridde mu myaka bebaali batera okumpita bwebatyo. Wabula nga okuva n'olunaku lwolwaleero okumpita nga Gen. David Sejusa."
Erinya Sejusa liri mu Luganda ng'era kino bakivunula nti sirina kyenyiza kwejusa. Nga kino kitegeeza ekintu kyekimu mu Banyankole okwefanannyiriza Tinyefuza, nga kino kyeyagamba nti kyekyamuvirako okubeera nga yali afunye endabika empya.
Emirimu gye mu maggye
[kyusa | edit source]Mukusooka okutuuka mu 1981, David Tinyefuza yalu musirikale wa poliisi n'ekitongole kya Uganda Police Force nga yali akola nga omumyuka w'eyali akulira poliisi. Mu 1981, yafuuka omulwanyi mu lutalo lwa Uganda olwali munsiko wakati w'amaggye g'ekibiina kya Uganda National Liberation Army (UNLA) agaali aga Militon Obote, n'aga National Resistance Army (NRA) agaali aga Yoweri Museveni, okuva mu 1981 okutuuka mu 1986. Okumala emyaka 10, oluvannyuma lw'amaggye ga NRA okubeera nga gaali gawangudde mu 1986, yakolako nga omu kubaali ku kakiiko k'ekibiina kya National Resistance Army Council (NRAC) wamu n'akakiiko akakulu aka National Executive Committee (NEC). Wakati wa 1989 ne 1992, yawerezaako nga Minisita Omubeezi Ow'eby'okwerinda. Mu 1993, yaweebwa omulimu gw'okubeera Omuwabuzi wa Pulezidenti ku by'Eddembe n'Eby'okwerindahegyeyawereza okutuuka mu 1997 Yaweebwa eky'okubeera eyali akulira Abawabuzi ba Pulezidenti, n'okukwanaganya Eby'obwanbega mu 2005, ekifo kyeyalimu okutuusa mu 2013.[5][6]
Nga 31 Ogwomunaana mu 2022, Sejusa ne ba genero abalal 34 baawumuzibwa okuva mu maggye g'eggwanga aga UPDF
Eby'obufuzi
[kyusa | edit source]Ekibiina kyatandikibwaawo mu 2013 [7] nga okulangirira okutongole kwakolebwa oluvannyuma mu Londona , ekibuga kya Bungereza, ng'eno eyali genero, David Sejusa gyeyali mu buwangaguse. Sejusa yagamba ku Pulezidenti Yoweri Museveni nti: "Abadde n'obudde obumala. Asobola okulekulira n'agenda. netutandika enteekateeka empya ey'okudaabulula eggwanga n'okuliwonya. Ng'era tuli mu kweteekateeka, tuli mu kutandika eteeka lya semateeka nga lino yalyonoona." Sejusa yeegaana okubeera nga yali ayagala kyakubeera pulezidenti era n'agamba nti, byakumala budde nabiseera okwesimba ku Museveni okusinziira kunteekateeka eriwo. Eyezi ebiri egyasooka, Museveni yategeeza Sejusa agezeeko okumugya muntebe y'obwa pulezidenti, wabula n'ayongererako nti buli akozesa obutabanguko agya kuyimirizibwa. "Sejusa bw'abeera ayagala okukozesa amaanyi, mumuleke ajje." Sejusa yadda ebibuuzo by'okubeera oba yali ayagala okukozesa amaanyi okuleetawo enkyuka kyuka n'agamba: "Siky'amannyi nti twagala okukikola. Naye bw'asigala ng'ayagala okuleeta obutabanguko n'okumalako emirembe eri abantu, ffe tugya kuba twetaasa."
Oluvannyuma lw'okumenyeka kw'enteekateela mu Gwokutaano 2013 eyali ku mutabani wa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni, Muhoozi Kainerugaba, nga bamulumiriza okubeera nga baali bamunyigira ku liiso, ng'ra nga yeeyali agenda okudfira kitaawe mu bigere nga pulezidenti, ekintu Kainerugaba kyeyegaana,Yatandikawo ekibiina kya Freedom and Unity Front.[8] Sejusa mu kusooka yali yakuba omulanga eri Bannayuganda okwezimba n'amannyi kubasobozese okumamulako Museveni. Yayongerako, mu wiiki eyagoberera bweyali ayolekera nga Omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira amaggye, nti "tewali alina kukiteeka mundowooza zze nti Museveni bagya kumugya mu buyinza nga bakozesa kulonda."[9]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.africa-confidential.com/profile/id/3473/David_Sejusa
- ↑ https://nilepost.co.ug/news/142109/inside-sejusas-26-year-quest-to-retire-from-the-army
- ↑ https://web.archive.org/web/20140810145836/http://www.kigalipost.com/?Uganda-charges-four-in-alleged
- ↑ https://web.archive.org/web/20140810145836/http://www.kigalipost.com/?Uganda-charges-four-in-alleged
- ↑ 5.0 5.1 http://www.afroamerica.net/AfricaGL/2013/09/30/ugandan-general-david-sejusa-tinyefuza-prepares-rebellion-from-kigali-rwanda//index.html
- ↑ 6.0 6.1 6.2 http://www.parliament.go.ug/index.php?option=com_wrapper&Itemid=37
- ↑ http://www.voanews.com/content/sejusa-says-museveni-subverting-east-african-community/1793733.html
- ↑ http://www.aljazeera.com/news/africa/2013/12/dissident-ugandan-general-launches-new-party-20131214173437430904.html
- ↑ http://www.sudantribune.com/spip.php?article48897