Denis Obua (omukubi w'omupiira)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Denis Obua yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 13 mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 1947, n'afa mu mwezi ogw'okutaano ng'enaku z'omwezi 4 mu mwaka gwa 2010, nga yali munayuganda eyali azannyira ekibiina ekifuga omupiira gwa Uganda, wamu n'okubeera nga yakidukanyako, yazannya nga ku wiingi ya kono mu ttiimu ya Uganda wakati w'omwaka gwa 1968 ne 1977, ate oluvannyuma n'akola n'omukulembezze oba pulezidenti w'ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'om,upiira mu Uganda oba kiyite Federation of Uganda Football Associations (FUFA) wamu n'okubeera nga yeyali ssentebe w'akakiiko akatwala omuzannyo g'omupiira mu buvanjuba wamu ne mu masekati ga Afrika kebayita Council for East and Central Africa Football Associations (CECAFA).

Ttiimu z'azannyiddemu[kyusa | edit source]

Mu kiraabuClub career[kyusa | edit source]

Denis Otim Obua yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 13 mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 1947 mu kyalo kya Akol mu disitulikiti y'e Amolatar mu Uganda. Yasomera ku Boroboro Junior School ne Manjasi High School, ery'e Tororo, nga mu mwaka gwa 1967, ekitone kye kyazulibwa era kiraabu ya Coffee United FC neemutwala. Omwaka ogwaddako yeegata kuPolice FC, ng'eno yakolera ngayo emirumu ebiri okwali ogw'okuzannya omupiira wamu n'okubeera omusirikale wa poliisi. Mu mwakwa gwa 1977, Obua yeyali asinze okulengera akatimba mu liigi, nga yateeba ggoolo 24, wabula nga kiraabu ya Police FC yasalibwako, neddayomu kibinja kyawnsi kunkomerero lya sizoni ya 1978, ekyamuletera okwegata ku Maroon FC ey'e Luzira[1][2]

Obua yazannyira kiraabu ya Maroons sizoni emu yokka. Kuba mu mwaka gwa 1979 mu mwezi ogw'okuna, nakyemalira wa Uganda, Idi Amin, yagibwa muntebe, nga mukaseera akaddako akaataali katebenkevu, abazannyi abasinga okuva mu kiraabu ya Simba FC, ttiimu ebiseera ebyo eyali ejjude abazannyi abaali bakola mu magye, bonna baakwatibwa. Okwewala entuuko y'emu, Obua n'abazannyi abawerako abalala, badukira mu ggwanga lya Kenya, gyebatandika okuzannyira Luo Union. Yakomawo mu Uganda mu mwaka gwa 1980 n'addamu okwegata ku Police FC, wabula nga yelemererwa okufuna omutindo gwe era n'awumula. Mu mnwaka gwa 1983, yakomawo okuva mu kuwumula, neyeegata ku Villa SC, abaali baakawangula ekikopo kya ne liigi ya Uganda eyababinywera mu myaka egyali gisembyeyo.[1][3]

Obua yazannyira Villa mu mipiira gyombi egy'omwetoloolo gw'empaka ezaaliwo mu mwaka gwa 1983 ezetabwamu kiraabu empanguzi okuva kulukalo lwa Afrika oba ziyite 'African Cup of Champions Clubs', wabula ng'omupiira ogusooka ogw'oluzannya kwa 'quarter-finals', yafuna obuvune mu mbeera eyaviirako ebiuseera bye eby'okuzannya omupiira okubeera nga byakomekerera. Yali mu baala erimu mu bitundu by'e Kamwokya bweyalumbibwa abasajja abaali balina emundu, abaatandika okufukumula amasasi mu baali bazze okwesanyusa oba bakasitoma. Obua yakubwa esasi mu lubuto, wadde nga yatwaliba mu ggwanga lya Bugirimaani ey'omubugwanjuba 'West Germany, teyasobola kuddamu kuzannya.[3]

Ku mutendera gw'egwanga[kyusa | edit source]

Denis Obua yayitibwa ku ttiimu y'eggwanga mu mwaka gwa 1967, era oluvannyuma neyeenywereza mu kifo ky'oludda lwa wiingi eya kkono. Mu mwaka ggwa 1968, yalondebwa okukiikirira Obuvanjuba bwa Afrika mu mizannyo gyebaali bagenda okuzannya nga battunka ne kiraabu okuva mu Bungereza eya West Bromwich Albion. Nga bazannya Zanzibar mu mizannyo gy'omwaka gwa 1969 egya East Africa Challenge Cup, yateeba ggoolo nnya nga Uganda ewangula 7–1,nga y'omu kubaali ku ttiimu ya Uganda eyawangula ng'ebikopo ebyetabwamu amawanga okuva mu buvanjuba bwa Afrika wamu ne mu masekati oba ky'oyinza okuyita CECAFA Cup-.[1]

Yakiikirira Uganda mu mpaka ezeebatwamu amawanga g'okulukalo lwa Afrika oba AFCON wa 1968, 1974 wamu ne w'omwaka gwa 1976, naateeba n'e ggoolo emu mu mpaka zino ku ggoolo ebiri Uganda zeyafuna ng'empaka zinateera okukomekerezebwa, wabula nga yasilibwa okuva ku ttiimu mu mpaka za AFCON wa 1978 Uganda bweyatuuka ku luzannya olw'akamalirizo oba luyite fayinolo.[1][3]

Denis Obua atwalibwa okubeera omu kubaannyi abaali basinga okuzannya nga bayita mu namba 11 oba ku wiingi eya kono mu Uganda.[4][5] [6]

Ng'omukulembezze[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1984, Obua yatandika omulimu omupya ng'omutendesi, wabula nga yali wakiseera, ne kiraabu ye enkadde gyebayita, Police FC.Mu mwaka gwa 1995, yafuuka omutendesi omujuvu. Wansi w'obukulembezze bwe ,kiraabu eno yasobola okusumusibwa n'ekomawo mu liigi yababinywera oluvannyuma lw'emyaka 19 nga teriiwo. Ku mutendera gw'eggwanga, Obua yatendekako ttiimu ya Uganda ey'abavubuka mu mizannyo egyetabwamu amawanga g'okusemazinga wa Afrika gonna mu mwaka gwa 1991, oba giyite 'All-Africa Games, ate mu mwaka gwa 1995 yadukanyako ttiimu ya Uganda ey'okubiri oba giyite 'Uganda 'B' team' eyatuuka ku luannya olw'akamalirizo mu mpaka z'omwaka gwa 1995 ezetabwamu amawanga g'omubuvanjuba n'ogumasekati ga Afrika oba z'oyinza okuyita CECAFA Cup.[1] Mu mwaka gwa 1998, yaweebwa omulimu gw'okutendeka ttiimu y'eggwanga, naye n'akigaana. Wabula mu mwezi ogw'okumineebiri mu mwka ogwo, yeesimbawo era n'awangula eky'obwa puleidenti wa FUFA. Mu mwaka gwa 2001,yalondebwa ku kisanja ekirala, nga mu mwaka gwa 2003 yasobola okufuuka ssentebe w'ekibiina ky'akakiiko akadukanya omupiira mu buvanjuba wamu ne mmasekati ga Afrika oba kayite Council for East and Central Africa Football Associations (CECAFA).[3]

Okutandika n'omwaka gwa 2004 nga gukomekereza, Obua yeenyigira mu kutabanguko obwali mukudukanya ekibiina kya FUFA. Ng'enaku z'omwezi 30, mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu mwaka gwa 2004, yalangirira mu kakiiko akakulu ng'ekisanja kyako bwekyali kiweddeko , ekyavirako obutakaanya n'eyadira Obua mu bigere ku ky'obwa pulezidenti bwa FUFA , Twaha Kakaire.[7] Obua yalangiriza ng'okulonda okupya bwekwali kugenda okubeerawo mu mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2005, wabula ng'ebula enaku mbala okulonda kuno kubeerewo, eyali minisita w'eby'emizannyo mu Uganda yawera ekibiina kino ekya FUFA, nga bagamba bakyanoonyereza ku byali bikikwatako.[8] Waayita wiiki biri, Obua n'alangirira nga bweyali agenda okulekulira nga pulezidenti wa FUFA .[9] Ekibiina ky'abawagizi b'omupiira okuva mu Uganda kyateeka Obua ku niinga nga balumiriza Obua n'eyali saabawandiidi w'ekibiina , nga webaali babuzizaawo ssente webaali bakyali mu ofiiisi. Obua yali agenze mu ggwanga lya Kenya ku mirimu gya CECAFA , okumulumiriza kuno bwekwavaayo, nga bweyakomawo mu Kampala, yakwatibwa olw'okulemererwa okugenda mu kkooti.[10] n'amala wiiki bbiri ng'ali mu kkomera.[11] Mu kaseera katono, Obua yali omu kubakungu ba FUFA e 17 abaamenyebwa kaliiso liios wa gavumenti 'Inspector General of Government' olw'okubeera nga baali bakozesezza buli ensiimbi ezaali zaabaweebwa; e 17 baalagirwa okukomawo ssente zino mu FUFA oba bakangavulwe.[12]

Obua yasigala akola nga ssentebe w'akakiiko kya CECAFA okutuuka ekisanja kye bwekyagwako mu mwaka gwa 2007; yaweebwa eky'okubeera ssentebe w'alukungaana lwa CECAFA mu mwaka gwa 2007 nga yasigala nga memba ow'ekitiibwa okutuusa bweyafa.[13]

Famire[kyusa | edit source]

Denis Obua yali abaana 18 nga taata, era omu kubatabani bbe David yaliko omusambi wa ttiimu y'eggwanga, nga yazannyirako ne kiraabu ya Hearts mu liigi ya Scotland eyababiywera oba giyite Scottish Premier League. Mutabani we omulala, Eric, yazannyirako SC Villa mu liigi yababinywera eya Uganda emannyikiddwa nga Ugandan Super League, ate ow'okusatu gwebayita Kevin, azannyira esomero lye erya, St Mary's Secondary School erisingaanibwa e Kitende.[14] Muwala we, Sarah Desire Birungi, ye kapiteeni wa kiraabu emannyikiddwa nga National Insurance Corporation ey'okubaka mu liigi ya netball eya Uganda.[2][15]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&task=view&id=8437&Itemid=80
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&task=view&id=8521&Itemid=80
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&task=view&id=8437&Itemid=80
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&task=view&id=6660&Itemid=80
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&task=view&id=8436&Itemid=80
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&task=view&id=8435&Itemid=80
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)http://news.bbc.co.uk/sport1/hi/football/africa/4059679.stm
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)http://news.bbc.co.uk/sport1/hi/football/africa/4059679.stm
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)http://news.bbc.co.uk/sport1/hi/football/africa/4276737.stm
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)http://news.bbc.co.uk/sport1/hi/football/africa/4397367.stm
  11. {{cite web}}: Empty citation (help)http://news.bbc.co.uk/sport1/hi/football/africa/4450035.stm
  12. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20120912161847/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/136576
  13. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20110723040455/http://www.cecafa.net/component/content/article/23
  14. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.monitor.co.ug/Sports/Soccer/-/690266/911894/-/14qvbebz/-/index.html
  15. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20091103105407/http://www.newvision.co.ug/D/8/30/699791