Jump to content

Denis Obua (politician)

Bisangiddwa ku Wikipedia


Denis Hamson Obua

Denis Hamson Obua (yazaalibwa nga 6 Ogwokubiri 1980), Munnayuganda era Munnabyabufuzi, ye Minisita omubeezi ow'ebyemizannyo mu Kabineeti ya Uganda ng'abadde mu kifo kino okuva nga, 14 Ogwekkumineebiri, 2019.[1] Era ye ow'essaza lya Ajuri County, mu Disitulikiti y'e Alebtong, mu Paalamenti ey'e 11 (2021- 2025).[2]

Obuvo bwe n'eby'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Alebtong nga 6 Gwokubiri 1980. Yasomera mu ssomero lya Inomo Primary School, nga tanneegatta ku Lango College, mu Munisipaali y'e Lira, gye yatuulira S4 ne S6 n'afunayo satifikeeti okuli eyaUganda Certificate of Education (S4) mu 1997 n'eya Uganda Advanced Certificate of Education (S6) mu 1999.[2]

Alina Dipulooma mu mateeka eya era alina ne satifikeeti mu byamateeka eby'obukulembeze eya Certificate in Administrative Law, nga zombi yazisomera mu ttendekero ly'amateeka erya Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Alina Diguli eya Bachelor of Arts in Social Work and Social Administration gye yasomera mu Uganda Christian University, e Mukono. Diguli ye eyookubiri eya Master of Public Administration yagisomera era n'emutikkirwa mu ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2016.[2]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Okuva mu 2000 okutuuka mu 2003, Denis yaweebwa omulimu gw'obwakalaani wa zi kontulakiti mu kkampuni yaBritish American Tobacco. Mu myaka ebiri egyaddirira yaweereza ng'ow'amateeka mu kkampuni ya Atim and Company Advocates. Oluvannyuma yapangisibwa nga akulira ebyamateeka mu ofiisi y'Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, n'aweereza mukifo ekyo okuva mu 2005 okutuusa mu 2006.[2]

Mu 2006, yalondebwa mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana (2006 - 2011), okukiikirira essaza lya Ajuri County, mu Disitulikiti y'e Alebtong. Abadde alondebwa emirundi egy'omuddiringanwa mu kifo ekyo omuli ekisanja kya 2011 - 2016, 2016 - 2021, era kati y'ali mu kifo ekyo.[2]

Mu nkyukakyuka ezaakolebwa nga 14 Ogwekkumineebiri 2019, Denis Obua yalondebwa okubeera Minisita. Yadda mu bigere bya Charles Bakkabulindi, eyasuulibwa okuva mu Kabineeti. Oluvannyuma lw'okukakasibwa Paalamenti, n'alayizibwa nga Minisita omubeezi ow'ebyemizannyo nga,13 Ogwoluberyeberye 2020.[3]

Famire ye

[kyusa | edit source]

Denis Hamson Obua mufumbo.[2]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijulizo

[kyusa | edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-shuffles-Cabinet-drops-Muloni-Nadduli-Ssekandi/688334-5386130-139sq4lz/index.html
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-08-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1513304/ministers-office

Ebijuliziddwamu eby'ebweru

[kyusa | edit source]