Jump to content

Denis Onyango

Bisangiddwa ku Wikipedia
Onyango (2023)

Denis Onyango (eyazaalibwa nga 15 Ogwokutaano 1985)[1] munnayuganda omuzannyi w'omupiira gw'ebigere azannya ng'omukwasi wa ggoolo ku ttiimu ya Mamelodi Sundowns ezannyira mu South African Premier Soccer League. ne ku tiimu ye ggwanga Yuganda

Oluvannyuma lw'okutandika omupiira mu ggwanga lye ery'obuzaaliranwa, Onyango yagenda mu South African Premier Soccer League ne Supersport United, Mpumalanga Black Aces, ne Mamelodi Sundowns. Ng'ali mu Mamelodi Sundowns, yawangula ekikopo kya CAF Champions League mu 2016 era ne yeetaba mu kikopo kya FIFA Club World Cup ekya 2016. Yalondebwa okuba omuzannyi Omufirika aguzannyira mu Afirika asinze mu mwaka gwa 2016. Mu ngeri endala era yalondebwa mu kifo kya kkumi mu bakwasi ba ggoolo abasinga mu nsi yonna mu 2016 mu lukalala olutegekebwa aba International Federation of Football History & Statistics.[2]

Yakiikirira Uganda mu mpaka za Afrika eza 2017 ne 2019, era yalikapiteeni okutuusa lwe yawummula mu 2021.[3] Oluvannyuma lw'emyaka ena mu kuwummula, Onyango yakomawo mu ttiimu y'eggwanga mu August wa 2015 nga Uganda yeetegekera emipiira gy'okusunsulamu abalizannya ekikopo ky'ensi yonna ekya FIFA 2026 ne Mozambique ne Somalia.[4][5]

Olugendo lw'omupiira

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw'okuzaalibwa mu Kampala, Uganda, Onyango omupiira yagutandikira mu SC Villa mu Kampala era oluvannyuma ne yeegatta ku St. George SA mu Ethiopia.

SuperSport United ne Mpumalanga Black Aces

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2006, Onyango yeegatta ku ttiimu ya South African Premier Soccer League eya Supersport United.

Nga 8 Ogwomusanvu, 2010, yateebwa ttiimu ya SuperSport United.

Nga 26 Ogwomusanvu, Mpumalanga Black Aces yakansa Onyango ku bwereere.[6]

Mamelodi Sundowns

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2011, Onyango yeegatta ku ttiimu ya South African Premier Soccer League eyitibwa Mamelodi Sundowns.[7]

Nga 2 Ogwomunaana 2013, yeegatta ku ttiimu ya Bidvest Wits ku bweyazike.[8]

Mu Gwomusanvu 2014 Mamelodi Sundowns yassa mu nkola akawaayiro k'okwongezaayo endagaano ya Onyango n'ebbanga lya mwaka gumu.[9]

Onyango yawangula engule y'omukuumi wa ggoolo asinze mu PSL (omuzannyi asinze mu lligi ya South Africa ey'oku ntikko) mu sizoni ya 2015-16 era n'amala emipiira 14 nga tateebwamu Sundowns eryoke efune obubobero 71 obwamenya likodi.[10]

Ekibiina kya Uganda Sports Press Associations kyalonda Onyango nga munnabyamizannyo asinze mu Gwekkumi gwa 2016 mu Uganda.[11]

Nga 5 Ogwolubereberye 2017, yalondebwa okuba omuzannyi Omufirika aguzannyira mu Afirika asinze mu mwaka gwa 2016 mu kugaba ebirabo bya CAF Awards okwategekebwa e Nigeria.[12] Yakomekkerera n'obululu 252, bw'ogeraageranya n'obululu 228 obwa Khama Billiat eyamalira mu kifo eky'okubiri.[13]

Ttiimu y'eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Onyango yazannyira ttiimu ya Uganda ey'eggwanga omupiira gwe ogusooka nga 18 Ogwomukaaga 2005 nga battunka ne Cape Verde mu mupiira gw'empaka z'okusunsulamu abaneetaba mu Kikopo ky'ensi yonna. Okuva olwo Onyango yafuuka muzannyi atandika ku ttiimu ya Cranes.

Onyango yayamba Cranes okutuuka mu mpaka z'ekikopo kya Afirika eza 2017 bwe yateebebwamu ggoolo bbiri zokka mu mipiira mukaaga gye baazannya mu kibinja kyabwe. Yazannya omupiira gwe ogusooka mu kikopo kya Africa Cup of Nations mu mpaka za 31 ezaali mu Gabon ezaaliyo okuva nga 14 Ogwolubereberye 2017 okutuuka nga 5 Ogwokubiri 2017.

Yafuuka omuduumizi wa ttiimu y'eggwanga mu Gwokuna 2017. Nga 12 Ogwokuna 2021, Onyango yalangirira nga bw'awumudde omupiira gw'eggwanga, oluvannyuma lwa Uganda okulemererwa okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2021.

Onyango amanyiddwa nnyo mu kuggyamu peneti n'enzannya ye mu mbeera y'omuzannyi omu-ku-omu. Mulungi mu buli kintu, takyukakyuka era mukkakkamu nga Mark Anderson, eyaliko omutendesi w'abakwasi ba ggoolo ku Sundowns, bw'annyonnyola.

Ebibalo bye eby'omupiira

[kyusa | kolera mu edit source]

Ttiimu y'eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Updated[14]

Ttiimu y'eggwanga lya Uganda
Omwaka Emipiira Ggoolo
2005 2 0
2006 2 0
2007 4 0
2008 6 0
2009 1 0
2010 3 0
2011 6 0
2012 6 0
2013 3 0
2014 10 0
2015 6 0
2016 5 0
2017 8 0
2018 7 0
2019 6 0
Omugatte 75 0

Super Sport United

  • Premier Soccer League: 2007-08, 2008-09, 2009-10

Mamelodi Sundowns

  • Premier Soccer League: 201516, 201718, 201819, 201920, 202021, 202122
  • Nedbank Cup: 2014[15]
  • Telkom Knockout: 2015[15]
  • CAF Champions League: 2016
  • CAF Super Cup: 2017

By'awangudde ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Omuzannyi Omufirika azannyira mu Afirika ow'omwaka: 2016

Ebijuliziddwa/Ensibuko

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "36. Denis Onyango | Mamelodi Sundowns". Archived from the original on 10 December 2017. Retrieved 3 March 2017.
  2. Reporter, Phakaaathi. "Onyango named in top-10 list of best goalkeepers in the world". The Citizen. Archived from the original on 19 July 2017. Retrieved 7 January 2017.
  3. Mwine, Julian (10 September 2016). "Interview: Uganda Cranes goalkeeper on qualifying for AFCON and the future". www.ntv.co.ug. Archived from the original on 10 March 2018. Retrieved 6 April 2018.
  4. Onyango ends retirement, back for Uganda Cranes". Monitor. 27 August 2025. Retrieved 27 August 2025
  5. Muyita, Joel (27 August 2025). "Onyango returns from retirement, part of Uganda Cranes to face Mozambique, Somalia". Kawowo Sports. Retrieved 27 August 2025.
  6. "Denis Onyango signs with Mpumalanga Black Aces". Kick Off. Archived from the original on 22 May 2018. Retrieved 21 May 2018
  7. Mamelodi Sundowns exercise Denis Onyango contract option". Kick Off. Archived from the original on 6 July 2018. Retrieved 21 May 2018.
  8. Onyango loaned out to Wits - BigEye.UG". bigeye.ug. 5 August 2013. Retrieved 21 May 2018.
  9. Mamelodi Sundowns exercise Denis Onyango contract option". Kick Off. Archived from the original on 6 July 2018. Retrieved 21 May 2018.
  10. Denis Onyango voted South Africa's best". www.newvision.co.ug. Archived from the original on 1 April 2019. Retrieved 21 May 2018.
  11. USPA votes goalie Onyango as October's best sports personality". Kawowo Sports. 7 November 2016. Archived from the original on 22 May 2018. Retrieved 21 May 2018.
  12. Isabirye, David (6 January 2017). "Onyango, Uganda Cranes clinch CAF Awards". Kawowo Sports. Archived from the original on 6 January 2017. Retrieved 6 January 2017.
  13. Glo CAF Awards 2016: Mahrez crowned African Player of the Year – IgbereTV News". igberetvnews.com. Archived from the original on 3 September 2018. Retrieved 7 January 2017.
  14. Template:NFT player
  15. 1 2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Soccerway

Obulandira obulala

[kyusa | kolera mu edit source]