Jump to content

Denis Ssebuggwawo Wasswa omusajja omulala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Denis Ssebuggwawo (1870-25 Ogwokutaano,1886) mujulizi wa Uganda owa Ekereziya Katolika era Omutuukirivu. Yazaalibwa Kigoloba mu Ssaza ly'eBulemeezi. Kitaawe yali ayitibwa Kajansi ate nnyina yali Nsonga ow'e Musoga . [1] Nga wayise akaseera katono ng’azaaliddwa, jjajjaawe yattibwa era kitaawe n’asengula abantu n’abatwala mu kibanja ky’amaka gaabwe e Bunono mu Ssaza ly'eBusiro. [1] Ssebuggwawo yali wa Kika kya Musu.

Ssebuggwawo noomulongo we Kato baafuuka Babuulizi ba ddiini era baali balungamizibwa Joseph Mukasa Balikuddembe Omutuukirivu.[1] Yabatizibwa nga 16 Ogwekkuminoogumu 1885, era nga eyamubatiza yali Père Simon Lourdel, M.Afr., amanyiddwa nga Faaza Mapera, era naalonda erinnya lya Denis nga Erinnya lye ery'eddiini.

Denis Ssebugwawo Monument with the symbol of his faith and the instrument of his martydom
Plaque designated the donors and other responsible parties

Yali mukuumi wa Kabaka Muteesa I owa Buganda era omukuumi wa Kabaka Mwanga II owa Buganda. Yatulugunyizibwa era naasogebwa effumu Ssekabaka Mwanga II, olw’okuyigiriza enzikiriza eri Mwafu, mutabani w'omukulembeze omukulu, bwe yali tannaba ku mukwasa omutirimbuzi Omukulu Mpinga Kaloke akawungeezi ka 25 Ogwokutaano, 1886. [1] [2] Ku makya ga 26 Ogwokutaano, 1886, Mpinga yalagira basajja be babiri okwali Matembe ne Mulyowa okutemaatema omubiri gwe mu bitundutundu. [2] Ssebuggwawo yasooka kutemwako mutwe nga tebannaba ku mutemaatema mu bitundutundu e Munyonyo . [2] Ajjukirwa ng'omujulizi eyasooka mu Bajulizi ba Uganda .

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 http://www.munyonyo-shrine.ug/martyrs/st-denis-ssebugwawo/
  2. 2.0 2.1 2.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named urbana

Ebiyungo eby'ebweru

[kyusa | edit source]