Denis Zakaria

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Denis Lemi Zakaria Lako Lado (yazaalibwa nga 20 Ogwekkuminoogumu 1996) muzannyi wa mupiira gw'ebigere okuva mu ggwanga lya Switzerland azannya ng'akwatirira amakkati mu ttiimu ya Chelsea, ng'ali ku bwazike okuva mu ttiimu ya Juventus era azannyira ttiimu y'eggwanga ly'e eya Switzerland.

Olugendo lwe mu mupiira gw'ensimbi[kyusa | edit source]

Servette[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okuzaalibwa kitaawe munnansi w'eggwanga lya South Sudan ne nnyina Omukongo mu kibuga Geneva, Switzerland, [1]Zakaria yasooka kuzannyira ttiimu y'omunda mu ggwanga eyitibwa Servette.[2]

Young Boys[kyusa | edit source]

Zakaria yeegatta ku ttiimu ya Young Boys mu Gwomukaaga gwa 2015 ku nsimbi ezitamanyiddwa muwendo, n'ateeka omukono ku ndagaano ya myaka ena.[3] Omupiira gwe ogwasooka mu Swiss Super League yaguzannya nga 18 Ogwomusanvu 2015 nga ttiimu ye ettunka ne FC Zürich mu mupiira ogwaggweera mu maliri aga 1-1 era nga yayingira mu kifo kya Alexander Gerndt oluvannyuma lw'eddakiika 79.[4]

Borussia Mönchengladbach[kyusa | edit source]

Mu Gwomukaaga 2017, Zakaria yassa omukono ku ndagaano ya myaka etaano ku ttiimu Borussia Mönchengladbach. Yagulibwa okudda mu kifo kya Mahmoud Dahoud eyava mu ttiimu eno okweyunga ku ttiimu ya Borussia Dortmund. Kigambibwa nti obukadde €10 bwe bwaweebwa ttiimu ya Young Boys mu kugula Zakaria. [5] Zakaria yateeba omugatte gwa ggoolo 11 mu mipiira 125 gye yazannyira ttiimu ya Borussia Mönchengladbach.

Juventus[kyusa | edit source]

Nga 31 Ogwolubereberye 2022, olwo ng'endagaano ye esigaddeko emyezi mukaaga, Zakaria yeeyunga ku ttiimu eguzannyira mu liigi ya Serie A emanyiddwa nga Juventus ku ndagaano ya myaka ena n'ekitundu [2][6], ku bukadde €4.5. Nga 6 Ogwokubiri, Zakaria yateeba ggoolo mu mupiira gwe ogusooka mu ddakiika 61, n'ayamba ttiimu ye okukuba Hellas Verona 2-0.[7]

Obweyazike ku ttiimu ya Chelsea[kyusa | edit source]

Nga 1 Ogwomwenda 2022, Zakaria yaweerezebwa ku ttiimu ya Chelsea eguzannyira mu liigi ya Bungereza eya babinywera okutuuka ku nkomerero ya sizoni ya 2022-23 ng'asobola nga mulimu akawaayiro akasobozesa Chelsea okumugulira ddala ku nkomerero ya sizoni.[8]

Olugendo lwe ku ttiimu y'eggwanga[kyusa | edit source]

Zakaria yazannyira ttiimu z'eggwanga lya Switzerland ez'abavubuka ez'enjawulo. Yali asobola okukiikirira Switzerland, South Sudan oba Congo ku ddaala erya waggulu olw'ensonga nti yazaalibwa mu ggwanga lya Switzerland nga kitaawe munnansi wa South Sudan ate nga nnyina Mukongo.[9]

Zakaria yasooka okuzannyira ttiimu y'eggwanga lya Switzerland mu mupiira gw'omukwano nga bakubwa ttiimu ya Belgium ku ggoolo 2-1 nga 28 Ogwokutaano 2016.[10] Yali ku lukalala lw'abazannyi abeetaba mu mpaka z'ekikopo ky'amawanga ga Bulaaya eky'omwaka gwa 2016.[10] Zakaria yali ku lukalala lw'abazannyi 23 abaalondebwa okuzannyira ttiimu yaabwe mu mpaka z'Ekikopo ky'Ensi Yonna mu mwaka gwa 2018.

Mu Gwokutaano 2019, Zakaria yazannya mu mpaka ez'akamalirizo z'ekikopo ky'amawanga ga Bulaaya ez'omwaka gwa 2019, ttiimu ye eryoke emalire mu kifo eky'okuna.[11] Yalondebwa mu lukalala lw'abazannyi 26 abagenda okukiikirira eggwanga lya Switzerland mu mpaka z'ekikopo ky'amawanga ga Bulaaya.[12] Nga 2 Ogwomusanvu 2021, yeeteeba ggoolo mu mupiira gwa Switzerland ogw'oluzannya oluddirira oluddirira olw'akamalirizo nga bazannya eggwanga lya Spain, gwe baamaliriza nga bakubiddwa mu bunnya.[13]

Enzannya ye[kyusa | edit source]

Enneeyisa ye n'enzannya ye ereetedde Zakaria ageraageranyizibwa ku Patrick Vieira eyaliko omuzannyi w'eggwanga lya Bufransa awamu ne Paul Pogba.[14] Zakaria ayogerwako ng'omuzannyi omulungi ennyo mu kunyweza amakkati olw'obwangu, amaanyi, emisinde n'enzannya ekeeyereza bazannyi banne.[15] Mu ngeri endala era amanyiddwa olw'okuba omugabi w'omupiira omukkakkamu era n'okukola ennumba z'omu maaso okva mu makkati.[16] Newankubadde nga mukubi wa makkati ayamba ku bazibizi okusinga, asobola n'okuzannya ng'omuwuwuttanyi ow'omu makkati, ng'akwatirira omupiira, oba okuzannya ng'alumba ate n'akomawo okuzibira, ate era nga yali azannyeeko ng'omuzibizi owa wakati.[17]

Ebikwata ku lugendo lwe[kyusa | edit source]

Ttiimu[kyusa | edit source]

Template:Updated[18]

Emipiira ne ggoolo z'ateebye mu ttiimu, sizoni n'ekikopo
Ttiimu Sizoni Liigi National cup Continental Ebirala Omugatte
Division Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo
Servette 2014-15 Swiss Challenge League 6 2 0 0 6 2
Young Boys 201516 Swiss Super League 27 1 3 0 3 0 33 1
201617 Swiss Super League 23 1 4 0 7 0 34 1
Omugatte 50 2 7 0 10 0 67 2
Borussia Mönchengladbach 2017 18 Bundesliga 30 2 3 0 33 2
201819 Bundesliga 31 4 1 0 32 4
201920 Bundesliga 23 2 2 0 6 0 31 2
2020 21 Bundesliga 25 1 2 0 5 0 32 1
2021 22 Bundesliga 16 2 2 0 18 2
Omugatte 125 11 10 0 11 0 146 11
Juventus 2021 22 Serie A 9 1 3 0 1 0 13 1
202223 Serie A 2 0 2 0
Omugatte 11 1 3 0 1 0 15 1
Omugatte ogw'awamu 191 16 20 0 22 0 0 0 234 16

Ttiimu y'eggwanga[kyusa | edit source]

Emipiira ne ggoolo z'ateebye ku ttiimu y'eggwanga n'omwaka
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Emipiira Ggoolo
Switzerland 2016 3 0
2017 6 0
2018 9 1
2019 10 2
2020 0 0
2021 12 0
Omugatte 40 3
Olukalala lusooka ne lulaga amagoolo g'ateebedde Switzerland, ne kuddako okulaga obubonero obujja oluvannyuma lwa ggoolo ya Zakaria.
Olukalala lwa ggoolo Denis Zakaria z'ateebedde ttiimu y'eggwanga
No. Ennaku z'omwezi Ekifo Cap Omulabe Ebyavaamu Ekivuddemu Empaka Ref.
1 8 Ogwomwenda 2018 Kybunpark, St. Gallen, Switzerland 13  Iceland 2-0 6-0 2018-19 UEFA Nations League A
2 23 Ogwokusatu 2019 Boris Paichadze Dinamo Arena, Tbilisi, Georgia 19  Georgia 2-0 2-0 UEFA Euro 2020 qualification
3 8 Ogwomwenda 2019 Ekisaawe kya Tourbillon, Sion, Switzerland 24  Gibraltar 1-0 4-0

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

 1. Wuillemin, Dominic (3 October 2015). "Zackig". Berner Zeitung (in Ludaaki). Retrieved 9 June 2017.
 2. 2.0 2.1 "OFFICIAL | Zakaria joins Juventus!". Juventus.com (in Lungereza). 31 January 2022. Retrieved 31 January 2022.
 3. "U19-Nationalspieler Zakaria zu den Young Boys". Berner Zeitung (in Ludaaki). 26 June 2015. Retrieved 9 June 2017.
 4. "FC Zürich vs. BSC Young Boys - 18 July 2015 - Soccerway". soccerway.com. Retrieved 29 August 2015.
 5. "Bis 2022: Zakaria unterschreibt in Gladbach". kicker Online (in Ludaaki). 9 June 2017. Retrieved 9 June 2017.
 6. Template:Cite press release
 7. "Vlahovic and Zakaria score on Juventus debuts in Verona win". CNA (in Lungereza). Retrieved 2022-02-06.
 8. "Zakaria goes on loan to Chelsea from Juventus".
 9. "Zackig". Berner Zeitung.
 10. 10.0 10.1 "Switzerland include three teenagers in final squad for Euro 2016". ESPN FC. 30 May 2016. Retrieved 9 June 2017.
 11. "Pickford the hero in England shootout win". BBC Sport.
 12. The Athletic Staff. "Switzerland's full 26-man Euro 2020 squad". The Athletic. Retrieved 2 July 2021.
 13. "Watch video: Zakaria's own goal gifts Spain early lead in Euro 2020 QF against Switzerland". Free Press Journal. Retrieved 2 July 2021.
 14. "Denis Xhaka-ria the new heartbeat of the Borussia Mönchengladbach midfield". bundesliga.com. Retrieved 5 September 2022.
 15. "Denis Zakaria: Borussia Mönchengladbach's midfield monster". bundesliga.com. Retrieved 5 September 2022.
 16. "Denis Zakaria: Who is Borussia Mönchengladbach and Switzerland's midfield marvel?". bundesliga.com. Retrieved 5 September 2022.
 17. "Denis Zakaria - the biography". chelseafc.com. 2 September 2022. Retrieved 2 September 2022.
 18. "Denis Zakaria". SofaScore. Retrieved 10 October 2019.

Obulandira obulala[kyusa | edit source]

 • Denis Zakaria ku National-Football-Teams.com
 • Denis Zakaria ku Soccerway